Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
21 (A)Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!
2 (B)Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
3 (C)Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
4 (D)Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
5 (E)Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
6 (F)Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
7 Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,
kabaka tagenda kunyeenyezebwa.
8 (G)Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
9 (H)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
era alibamalirawo ddala.
10 (I)Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 (J)Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 (K)Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.
13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.
Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.
Mukama Ayogera ku Kuzikiriza Ensi
24 (A)Laba Mukama alifuula ensi amatongo,
agimalirewo ddala,
era azikirize n’obwenyi bwayo
era asaasaanye n’abagibeeramu.
2 (B)Bwe kityo bwe kiriba,
ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu,
ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja,
ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi,
ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi,
ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola,
ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.
3 (C)Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa,
n’okunyagibwa, erinyagibwa.
Mukama Katonda y’akyogedde.
4 (D)Ensi ekala n’eggwaamu obulamu,
ensi ekala n’ewuubaala,
abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.
5 (E)Ensi eyonooneddwa abantu baayo,
bajeemedde amateeka,
bamenye ebiragiro,
ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.
6 (F)Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi;
n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga.
Abatuuze b’ensi bayidde,
Era abatono be basigaddewo.
7 (G)Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala,
ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.
8 (H)Okujaguza kw’ebitaasa kusirise,
n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise,
entongooli esanyusa esirise.
9 (I)Tebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba,
n’omwenge gukaayira abagunywa.
10 Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo,
na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.
11 (J)Bakaabira envinnyo mu nguudo,
n’essanyu lyonna liweddewo,
n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.
12 Ekibuga kizikiridde
wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa.
13 (K)Bwe kityo bwe kiriba ku nsi
ne mu mawanga
ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa
oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.
14 (L)Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu,
batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.
15 (M)Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama,
mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri,
mu bizinga eby’ennyanja.
16 (N)Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi,
“Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.”
Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo.
Zinsaze.
Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe,
Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”
Obulamu obusanyusa Katonda
4 (A)Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula n’okusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo n’okusingawo. 2 Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa mu Mukama waffe Yesu.
3 (B)Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, 4 (C)buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, 5 (D)so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola. 6 (E)Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa. 7 (F)Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa. 8 (G)Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu.
9 (H)Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga. 10 (I)Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna ab’omu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga. 11 (J)Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira, 12 mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.