Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Endagaano ya Katonda ne Dawudi.
89 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
2 (B)Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
3 Nakola endagaano n’omulonde wange;
nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
4 (C)“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”
19 Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo
omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi;
ngulumizizza omuvubuka
okuva mu bantu abaabulijjo.
20 (A)Nalaba Dawudi, omuweereza wange;
ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.
21 (B)Nnaamukulemberanga,
n’omukono gwange gunaamunywezanga.
22 (C)Tewaliba mulabe we alimuwangula,
so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga.
23 (D)Abalabe be n’abamukyawa ndibamerengula,
n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta.
24 (E)Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,
ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.
25 (F)Alifuga okuva ku migga
okutuuka ku nnyanja ennene.[a]
26 (G)Anankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange,
ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange.
12 (A)Awo Dawudi n’ategeezebwa nti, “Ennyumba ya Obededomu n’ebintu bye byonna biweereddwa omukisa olw’essanduuko ya Katonda.” Dawudi n’agenda n’aggyayo essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n’agireeta mu kibuga kya Dawudi ng’ajaguza. 13 (B)Abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baatambula ebigere mukaaga n’awaayo ente ennume n’ennyana ensava nga ssaddaaka. 14 (C)Dawudi ng’ayambadde olugoye olwa linena, n’azinira mu maaso ga Mukama n’amaanyi ge gonna. 15 (D)Dawudi n’ennyumba ya Isirayiri yonna ne baleeta essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu, era nga bafuuwa n’amakondeere.
16 (E)Awo essanduuko ya Mukama bwe yali ng’ereetebwa mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo, ng’ali mu ddirisa, n’alengera kabaka Dawudi ng’abuuka, ng’azinira mu maaso ga Mukama, n’amunyooma. 17 (F)Ne baleeta essanduuko ya Mukama ne bagiteeka mu kifo kyayo mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, Dawudi n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, mu maaso ga Mukama. 18 (G)Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow’eggye, 19 (H)buli muntu n’amugabula omugaati, n’ekiyungula ky’ennyama, n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, abasajja n’abakyala. N’oluvannyuma abantu bonna ne baddayo ewaabwe.
5 (A)Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti,
“Ggwe oli Mwana wange,
Leero nkuzadde?”
Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali
naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”
6 (B)Era nate bw’aleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti,
“Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”
7 (C)Era ayogera ku bamalayika nti,
“Afuula bamalayika be ng’empewo,
n’afuula n’abaweereza be ng’ennimi z’omuliro.”
8 Naye ku Mwana ayogera nti,
“Entebe yo ey’Obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe;
obutuukirivu, gwe muggo ogw’obwakabaka bwo.
9 (D)Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu.
Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako
amafuta ag’omuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.”
10 Ayongera n’agamba nti,
“Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gw’ensi,
era n’eggulu mirimu gwa mukono gwo.
11 (E)Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna,
era byonna birikaddiwa ng’ekyambalo bwe kikaddiwa.
12 (F)Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako,
era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa.
Naye ggwe oba bumu,
so n’emyaka gyo tegirikoma.”
13 (G)Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti,
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo,
ne bafuuka entebe y’ebigere byo”?
14 (H)Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.