Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 27

Zabbuli ya Dawudi.

27 (A)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
    ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
    ani asobola okuntiisa?

(B)Abalabe bange n’abantu ababi bonna
    bwe banannumba nga baagala okunzita,
baneesittala
    ne bagwa.
(C)Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,
    omutima gwange teguutyenga;
olutalo ne bwe lunansitukirangako,
    nnaabanga mugumu.

(D)Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
    era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
    ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
    era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
(E)Kubanga mu biseera eby’obuzibu
    anansuzanga mu nju ye;
anankwekanga mu weema ye,
    n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.

(F)Olwo ononnyimusanga
    waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.
Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;
    nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.

(G)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
    onkwatirwe ekisa onnyanukule!
Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
    Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
(H)Tonneekweka,
    so tonyiigira muweereza wo,
    kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
    Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
    Mukama anandabiriranga.
11 (I)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
    era onkulembere mu kkubo lyo,
    kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (J)Tompaayo mu balabe bange,
    kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
    okunkambuwalira.

13 (K)Nkyakakasiza ddala
    nga ndiraba obulungi bwa Mukama
    mu nsi ey’abalamu.
14 (L)Lindirira Mukama.
    Ddamu amaanyi, ogume omwoyo.
    Weewaawo, lindirira Mukama.

Isaaya 4:2-6

Yerusaalemi Kizzibwa Obuggya

(A)Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo. (B)Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi. (C)Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi. (D)Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda. (E)Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.

Ebikolwa by’Abatume 11:1-18

Peetero Annyonnyola

11 (A)Awo abatume n’abooluganda abaali mu Buyudaaya mwonna ne bawulira nti n’Abamawanga bakkiriza ekigambo kya Katonda. (B)Naye Peetero bwe yakomawo mu Yerusaalemi, abakomole ne bamunenya, (C)nga bagamba nti, “Lwaki wakyalira Abaamawanga abatali bakomole n’oyingira ne mu nnyumba n’olya nabo?”

Awo Peetero n’abannyonnyola byonna ng’agamba (D)nti, “Bwe nnali nsaba, nga ndi mu kibuga kya Yopa, ne njolesebwa. Essuuka ennene ennyo ng’ewaniriddwa ku nsonda zaayo ennya, n’essibwa mu maaso gange ng’eva mu ggulu. Mu ssuuka eyo ne ndabamu ebisolo byonna eby’oku nsi ebirina amagulu ana, n’ebyewalula, n’ennyonyi ez’omu bbanga. Ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Peetero, situka osale, olye.’

“Nze ne nziramu nti, ‘Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.’

(E)“Naye eddoboozi ne liddamu nga liŋŋamba nti, ‘Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.’ 10 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu. Oluvannyuma essuuka n’ezzibwayo mu ggulu ne byonna ebyagirimu.

11 “Amangwago laba abasajja basatu abaatumibwa okuva e Kayisaliya ne batuuka ku nnyumba we nnali nsula! 12 (F)Mwoyo Mutukuvu n’aŋŋamba ŋŋende nabo, awatali kulwa, n’abooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tutuuka mu maka g’omusajja eyali antumidde ababaka abo. 13 N’atutegeeza nga malayika bwe yamulabikira mu nnyumba ye, n’amugamba nti, ‘Tuma ababaka e Yopa banoonye Simooni ayitibwa Peetero, 14 (G)ajje akutegeeze ggwe n’ab’omu nnyumba yo nga bwe muyinza okulokolebwa!’ 

15 (H)“Awo bwe nnali nga nakatandika okubabuulira Enjiri, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako nga naffe bwe yatukkako ku kusookera ddala! 16 (I)Awo ne nzijukira ebigambo bya Mukama waffe bwe yagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.’ 17 (J)Olw’okubanga Katonda ye yawa Abaamawanga bano ekirabo kye kimu, naffe kye yatuwa bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nange nze ani eyandiwakanyizza Katonda?”

18 (K)Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, n’Abamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gy’ali abawe obulamu obutaggwaawo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.