Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
8 (A)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9 (B)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10 (C)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (D)Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (E)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
Okuyitibwa kwa Yeremiya
4 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, ng’agamba nti,
5 (A)“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;
nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.
Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”
6 (B)Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.” 7 Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga. 8 (C)Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bw’ayogera Mukama Katonda.
9 (D)Awo Mukama Katonda n’agolola omukono gwe, n’akwata ku mimwa gyange, n’aŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo by’onooyogeranga. 10 (E)Leero nkutaddewo okuba n’obuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula n’okumenya, okuzikiriza n’okuwamba; okuzimba n’okusimba.”
Ekkanisa mu Antiyokiya
19 (A)Awo abo abakkiriza abadduka okuva mu Yerusaalemi mu kuyigganyizibwa okwaddirira okuttibwa kwa Suteefano, ne basaasaana ne batuuka ne mu bifo nga Foyiniiki, ne Kupulo, ne Antiyokiya, ne babunya Enjiri, naye nga babuulira Bayudaaya bokka. 20 (B)Naye, abamu ku bakkiriza abaagenda mu Antiyokiya nga bava e Kupulo n’e Kuleene ne babuulira Abayonaani ku Mukama waffe Yesu. 21 (C)Awo omukono gwa Mukama ne gubeera wamu nabo, Abaamawanga bangi ne bakkiriza ne bakyuka okudda eri Mukama.
22 (D)Awo ab’omu Kkanisa y’omu Yerusaalemi bwe baawulira ebyo, ne batuma Balunabba mu Antiyokiya ayambe abakkiriza. 23 (E)Bwe yatuuka n’alaba eby’ekitalo Katonda bye yali akola mu bantu, n’ajjula essanyu, n’akubiriza abakkiriza banywerere ku Mukama n’emitima gyabwe gyonna. 24 (F)Balunabba yali muntu wa kisa ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’okukkiriza, abantu bangi ne basenga Mukama.
25 (G)Oluvannyuma lw’ebyo Balunabba n’alaga e Taluso okunoonya Sawulo, 26 (H)bwe yamulaba n’amuleeta mu Antiyokiya. Bombi ne babeera mu Antiyokiya okumala omwaka mulamba nga bakolera wamu n’Ekkanisa yaayo, ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Wano mu Antiyokiya abayigirizwa we baasookera okuyitibwa Abakristaayo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.