Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ebigambo eby’Essuubi
40 (A)Mugumye, mugumye abantu bange,
bw’ayogera Katonda wammwe.
2 (B)Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti,
entalo ze ziweddewo,
n’obutali butuukirivu bwe
busasuliddwa.
Era Mukama amusasudde emirundi ebiri
olw’ebibi bye byonna.
3 (C)Eddoboozi ly’oyo ayogera
liwulikika ng’agamba nti,
“Muteeketeeke ekkubo lya Mukama mu ddungu,
mutereeze oluguudo lwe mu ddungu.
4 (D)Buli kiwonvu kirigulumizibwa,
na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa.
N’obukyamu buligololwa,
ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.
5 (E)Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa,
ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu,
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
6 (F)Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
“Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.”
Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti,
“Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.
7 (G)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako.
Mazima abantu muddo.
8 (H)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”
9 (I)Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi,
werinnyire ku lusozi oluwanvu;
ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi,
yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya.
Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
10 (J)Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi
era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo.
Laba empeera ye eri mu mukono gwe,
buli muntu afune nga bw’akoze.
11 (K)Aliisa ekisibo kye ng’omusumba,
akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe
n’abasitula mu kifuba kye,
n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.
8 (A)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9 (B)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10 (C)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (D)Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (E)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
8 (A)Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu, era n’olunaku olumu luli ng’emyaka olukumi.[a] 9 (B)Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.
10 (C)Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja nga tewali n’omu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n’ebiririko birizikirizibwa n’omuliro, era ensi n’ebintu ebigirimu birisirikka.
11 Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda, 12 (D)nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna[b] bwe buryokebwa ne buzikirizirwa n’ebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka. 13 (E)Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya n’ensi empya omuli obutuukirivu.
14 (F)Kale, abaagalwa, nga bwe mulindirira ebintu ebyo okubaawo mufubenga nnyo okuba abalongoofu abataliiko kya kunenyezebwa nga mulina emirembe. 15 (G)Kyokka mulowoozenga ku kubonyaabonyezebwa okw’obulokozi bwa Mukama waffe, nga ne muganda waffe omwagalwa Pawulo kye yabategeeza mu bbaluwa ze yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa.
Yokaana Omubatiza Alongoosa Ekkubo
1 (A)Entandikwa y’Enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.
2 (B)Kyawandiikibwa mu kitabo kya nnabbi Isaaya nti,
“Laba ntuma omubaka wange akukulembere,
ateeketeeke ekkubo lyo;
3 (C)eddoboozi ly’oyo ayogelera waggulu mu ddungu nti,
‘Muteeketeeke ekkubo lya Mukama,
mutereeze amakubo ge.’ ”
4 (D)Yokaana yajja ng’abatiriza mu ddungu, ng’abuulira okubatiza okw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi. 5 Ensi yonna ey’e Buyudaaya n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi, ne bagendanga gy’ali, n’ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. 6 (E)Yokaana yayambalanga ekyambalo eky’obwoya bw’eŋŋamira, ne yeesibanga olukoba olw’eddiba mu kiwato kye, era yalyanga nzige na mubisi gwa njuki. 7 (F)Yabuuliranga ng’agamba nti, “Waliwo omuntu omukulu era ansinga amaanyi ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula bukoba bwa ngatto ze. 8 (G)Nze mbabatiza na mazzi, naye ye alibabatiza na Mwoyo Mutukuvu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.