Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
8 (A)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9 (B)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10 (C)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (D)Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (E)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
Obujeemu bwa Isirayiri
6 (A)“Mujje, tudde eri Mukama.
Atutaaguddetaagudde,
naye alituwonya;
atuleeseeko ebiwundu,
naye ebiwundu alibinyiga.
2 (B)Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku
olwokusatu alituzza buggya,
ne tubeera balamu mu maaso ge.
3 (C)Tumanye Mukama;
tunyiikire okumumanya.
Ng’enjuba bw’evaayo enkya,
bw’atyo bw’alirabika;
alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira,
era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”
4 (D)Nkukolere ki, Efulayimu?
Nkukolere ki, Yuda?
Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya,
era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.
5 (E)Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu,
ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange,
era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.
6 (F)Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,
era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
Okwebaza olw’okukkiriza kw’Abasessaloniika
2 (A)Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna era tubasabira obutayosa, 3 (B)nga tujjukira omulimu gwammwe ogw’okukkiriza, n’okufuba okw’okwagala n’okugumiikiriza okw’essuubi mu Mukama waffe Yesu Kristo mu maaso ga Katonda era Kitaffe, 4 era nga tumanyi, nga mmwe abooluganda muli mikwano gya Katonda, baayagala ennyo, be yalonda. 5 (C)Kubanga Enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo kyokka, wabula ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu bukakafu obungi, era nga bwe mumanyi nga twabeeranga wakati mu mmwe ku lwammwe. 6 (D)Nammwe mwagoberera Mukama waffe era ne mukola nga bwe twakolanga bwe mwakkiriza ekigambo wakati mu kubonaabona okungi nga mulina essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu, 7 ne mubeera ekyokulabirako eri abakkiriza bonna ab’omu Makedoniya ne Akaya. 8 (E)Kubanga ekigambo kya Mukama kibunye okuva mu mmwe, si mu Makedoniya ne mu Akaya mwokka, naye ne mu buli kifo n’okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna ne tutabaako kye tukwogerera. 9 (F)Kubanga bo bennyini batubuulira engeri gye mwatwanirizaamu, ne bwe mwakyuka okuleka bakatonda abalala ne mudda eri Katonda omulamu era ow’amazima, 10 (G)era ne bwe mulindiridde Omwana wa Katonda, okukomawo okuva mu ggulu, gwe yazuukiza okuva mu bafu, ye Yesu oyo yekka atulokola okutuwonya mu busungu bwa Katonda obugenda okujja.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.