Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Asafu.
79 (A)Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga;
boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa,
ne kifuuka entuumo.
2 (B)Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde
mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga,
n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
3 (C)Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
okwetooloola Yerusaalemi,
so nga abafudde tewali muntu abaziika.
4 (D)Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso,
era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
5 (E)Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna?
Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
6 (F)Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga
agatakumanyi,
ne ku bwakabaka
obutakoowoola linnya lyo.
7 Kubanga bazikirizza Yakobo,
ne basaanyaawo ensi ye.
8 (G)Totubalira kibi kya bajjajjaffe;
tukusaba oyanguwe okutusaasira
kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
9 (H)Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,
Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe
olw’erinnya lyo.
10 (I)Lwaki abamawanga babuuza nti,
“Katonda waabwe ali ludda wa?”
Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa,
kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
11 Wuliriza okusinda kw’omusibe;
okozese omukono gwo ogw’amaanyi
owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.
12 (J)Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira,
bawalane emirundi musanvu.
13 (K)Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo,
tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna;
buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.
Obufuzi bwa Mukama eri Amawanga Gonna
4 (A)Mu nnaku ez’oluvannyuma
olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa
okusinga ensozi zonna;
lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi,
era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.
2 (B)Amawanga mangi galiragayo ne googera nti,
“Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama,
mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo.
Alituyigiriza by’ayagala
tulyoke tutambulire mu makubo ge.”
Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye,
n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
3 (C)Aliramula amawanga
atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala.
Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi,
n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
4 (D)Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe
ne mu mutiini gwe.
Tewalibaawo abatiisa
kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.
5 (E)Newaakubadde nga amawanga gonna
galigoberera bakatonda baago,
naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama
Katonda waffe emirembe n’emirembe.
Bamalayika Omusanvu n’Ebibonoobono Omusanvu
15 (A)Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu ak’amaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire. 2 (B)Awo ne ndaba ekifaanana ng’ennyanja etangalijja ng’eri ng’endabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo n’ekifaananyi kyakyo awamu n’akabonero ak’omuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa. 3 (C)Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti,
“Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo,
ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Amakubo go matukuvu era ga mazima,
ayi ggwe Kabaka w’amawanga.
4 (D)Ani ataakutye Ayi Mukama,
n’atagulumiza linnya lyo?
Ggwe wekka gwe Mutukuvu,
amawanga gonna galijja
ne gasinziza mu maaso go,
Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”
5 (E)Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba Yeekaalu ng’eggaddwawo, lye kkuŋŋaaniro ly’obujulirwa mu ggulu. 6 (F)Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu. 7 (G)Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe n’emirembe. 8 (H)Awo Yeekaalu n’ejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda n’emu maanyi ge, so tewaali muntu n’omu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.