Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.
83 (A)Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
2 (B)Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
3 (C)Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
4 (D)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”
Kamani Asalirwa ogw’Okufa
7 (A)Awo Kabaka ne Kamani ne bagenda ku mbaga ya Nnabagereka Eseza gye yateekateeka. 2 (B)Ku lunaku olwokubiri bwe baali banywa wayini Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Nnabagereka Eseza osaba ki? Onookiweebwa. Kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka, kinaakuweebwa.”
3 (C)Awo Eseza n’addamu nti, “Obanga ŋŋanze mu maaso go, ayi Kabaka, era Oweekitiibwa bw’onoosiima, kino kye nsaba, mpeebwe obulamu bwange. Ate era n’abantu bange bawonye obulamu bwabwe. Kino kye nneegayirira. 4 (D)Nze n’abantu bange tutuundiddwa eri okuzikirizibwa, okuttibwa n’okubula. Wakiri singa tutuundiddwa okuba abaddu n’abakazi abaweereza, nandisirise ne sikuteganya newaakubadde nga omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bwe yandifiiriddwa.”
5 Awo Kabaka Akaswero n’abuuza Nnabagereka Eseza nti, “Ani era ali ludda wa oyo ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw’atyo?” 6 Awo Eseza n’addamu nti, “Omulabe waffe, atukyawa, ye Kamani ono omubi.” Kamani n’atya nnyo mu maaso ga Kabaka ne Nnabagereka.
7 (E)Awo Kabaka n’agolokoka ng’aliko ekiruyi, n’aleka wayini we, n’alaga ebweru mu nnimiro ey’omu lubiri. Kamani bwe yalaba nga Kabaka amaliridde okumubonereza, n’asigala emabega okusaba obulamu bwe eri Nnabagereka Eseza.
8 (F)Kabaka n’akomawo okuva mu nnimiro ey’omu lubiri n’ayingira mu kifo eky’embaga, n’asanga Kamani ng’agudde ku ntebe ey’olugalamiriro Eseza kwe yali.
Kabaka ne yeekanga nnyo era n’akangula eddoboozi ng’agamba nti, “N’okukwata ayagala kukwatira Nnabagereka mu maaso gange wano mu nnyumba?”
Kabaka bwe yali nga yakamala okwogera ekigambo ekyo, ne babikka ku maaso[a] ga Kamani. 9 (G)Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali baweereza Kabaka n’ayogera nti, “Waliwo akalabba kumpi ne nnyumba ya Kamani obuwanvu bwako mita amakumi abiri mu ssatu ke yazimba okuttirako Moluddekaayi eyayogera n’awonya obulamu bwa Kabaka.” Kabaka n’agamba nti, “Mumuwanike okwo.”
10 (H)Awo ne bawanika Kamani ku kalabba ke yali azimbidde Moluddekaayi, olwo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.
45 (A)“Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu ab’omu maka ge, n’okubawa emmere mu kiseera ekituufu? 46 (B)Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo. 47 (C)Ddala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebintu bye byonna. 48 Naye obanga omuddu omubi bw’agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’ 49 (D)n’adda ku baddu banne, n’abakuba, n’alya, n’anywa n’abatamiivu, okutuusa lw’alidda. 50 Mukama w’omuddu oyo n’akomawo ku lunaku lw’atamusuubidde ne mu kiseera ky’atamanyi, 51 (E)alimubonereza, era omugabo gwe guliba okubeera awamu n’abannanfuusi, eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.