Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 80:1-7

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.

80 (A)Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
    ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
    (B)Amaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,[a]
    ojje otulokole.

(C)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
    otutunuulize amaaso ag’ekisa,
    otulokole.

Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,
    olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
(D)Wabaliisa emmere ejjudde amaziga;
    n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
(E)Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,
    n’abalabe baffe ne batuduulira.

Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulokolebwe.

Zabbuli 80:17-19

17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
    era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
    Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.

19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulyoke tulokolebwe.

Zekkaliya 14:1-9

Yerusaalemi enunulibwa Mukama

14 (A)Olunaku lwa Mukama lujja, lwe muligabana bye mwanyaga.

(B)Ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna mu Yerusaalemi mu lutalo okukirwanyisa; ekibuga kiritwalibwa, enju zinyagibwe n’abakazi bakwatibwe. Kimu kyakubiri eky’ekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; naye abalala abalisigalawo tebaliggibwa mu kibuga.

(C)Awo Mukama alivaayo n’alwanyisa amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw’olutalo. (D)Ku lunaku olwo ebigere bye biriyimirira ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde obuvanjuba bwa Yerusaalemi, era olusozi lwa Zeyituuni lulyabuluzibwamu ebitundu bibiri okuva Ebuvanjuba okudda Ebugwanjuba era lujjemu oguwonvu oguwanvu ennyo. Ekitundu ekimu eky’olusozi kidde mu Bukiikakkono ekirala mu Bukiikaddyo. (E)Nammwe muliddukira mu kkubo ery’omu kiwonvu eky’olusozi lwange kubanga ekiwonvu kirisitulirwa waggulu era muddukanga nga bwe mwadduka musisi eyayita mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda. Awo Mukama Katonda wange alijja n’abatukuvu be bonna.

(F)Ku lunaku olwo teriba kitangaala, newaakubadde obunnyogovu wadde obutiti. (G)Naye luliba lunaku lwa njawulo, awataliba misana wadde kiro: olunaku olumanyiddwa Mukama. Obudde bwe buliwungeera walibaawo ekitangaala.

(H)Ku lunaku olwo amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi; agamu gagende mu nnyanja ey’Ebuvanjuba n’amalala mu nnyanja ey’Ebugwanjuba; mu kyeya ne mu ttoggo.

Yuda Kabaka w’Ensi ow’Oku Ntikko

(I)Mukama alibeera kabaka ow’ensi zonna: ku lunaku olwo Mukama alibeera omu yekka n’erinnya lye liribeera erinnya lyokka.

1 Basessaloniika 4

Obulamu obusanyusa Katonda

(A)Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula n’okusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo n’okusingawo. Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa mu Mukama waffe Yesu.

(B)Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, (C)buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, (D)so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola. (E)Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa. (F)Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa. (G)Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu.

(H)Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga. 10 (I)Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna ab’omu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga. 11 (J)Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira, 12 mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga.

Okujja kwa Mukama waffe

13 Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi. 14 (K)Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era n’azuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu. 15 (L)Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa. 16 (M)Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, 17 (N)naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. 18 Kale buli omu agumyenga munne n’ebigambo ebyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.