Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okuyitibwa kwa Musa
3 (A)Awo olwatuuka, Musa bwe yali ng’alunda ekisibo ky’endiga za mukoddomi we Yesero, kabona w’e Midiyaani, n’atwala ekisibo ku ludda olw’ebugwanjuba olw’eddungu; n’atuuka ku lusozi lwa Katonda oluyitibwa Kolebu[a]. 2 (B)Malayika wa Mukama n’amulabikira ng’asinziira mu muliro ogwaka, mu makkati g’ekisaka. Musa n’atunuulira ekisaka, n’alaba nga kyaka naye nga tekisiriira. 3 Musa n’ayogera mu mwoyo gwe nti, “Leka nneetoolooleko neetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, eky’ekitalo, ekireetedde ekisaka obutasiriira.”
4 Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda n’amuyita ng’asinziira mu kisaka wakati nti, “Musa, Musa!” Musa n’ayitaba nti, “Nze nzuuno.” 5 (C)Katonda n’amugamba nti, “Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu.” 6 (D)Ne yeeyongera n’amugamba nti, “Nze Katonda wa kitaawo, era nze Katonda wa Ibulayimu, nze Katonda wa Isaaka, era nze Katonda wa Yakobo.”
Musa bwe yawulira ebyo n’akweka amaaso ge, kubanga yatya okutunuulira Katonda.
7 (E)Awo Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona kw’abantu bange abali mu Misiri. Mpulidde ebiwoobe byabwe olw’abo ababatuntuza ng’abaddu; era ntegedde okubonaabona kwabwe. 8 (F)Kyenvudde nzika, mbawonye effugabbi ery’Abamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki; kaakano mwe muli Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi. 9 (G)Kale mpulidde okukaaba kw’abaana ba Isirayiri, era ndabye ng’Abamisiri bwe bababonyaabonya. 10 (H)Noolwekyo, jjangu nkutume ewa Falaawo, oggyeyo abantu bange abaana ba Isirayiri mu Misiri.”
11 (I)Naye Musa n’agamba Katonda nti, “Nange nze ani agenda ewa Falaawo nziggyeyo abaana ba Isirayiri mu Misiri?” 12 (J)Katonda n’amuddamu nti, “Ddala, nnaabeeranga naawe. Era kino kye kikakasa nti nze nkutumye: Bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulisinziza Katonda ku lusozi luno.” 13 Awo Musa n’abuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?”
14 (K)Katonda n’agamba Musa nti, “Ndi nga bwe Ndi,” n’ayongera nti, “Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Ndi y’antumye gye muli.’ ”
15 (L)Katonda n’ayongera n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, y’antumye gye muli.’
“Eryo lye linnya lyange ery’olubeerera,
era lye linnya lye nnajjuukirirwangako
mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.
105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
2 (B)Mumuyimbire, mumutendereze;
muyimbe ku byamagero bye.
3 Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
4 (C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
mumunoonyenga ennaku zonna.
23 (A)Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
24 (B)Mukama n’ayaza nnyo abantu be;
ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
25 (C)n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,
ne basalira abaweereza be enkwe.
26 (D)Yatuma abaweereza be Musa
ne Alooni, be yalonda.
45 (A)balyoke bakwatenga amateeka ge,
era bagonderenga ebiragiro bye.
Mumutendereze Mukama.
Okwagala
9 (A)Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi, 10 (B)nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa, 11 (C)mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama, 12 (D)nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba. 13 (E)Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.
14 (F)Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga. 15 (G)Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba. 16 (H)Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.
17 (I)Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna. 18 Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana n’abantu bonna; 19 abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama. 20 “Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.” 21 Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.
21 (A)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.
22 Peetero n’amuzza ebbali n’atandika okumunenya ng’amugamba nti, “Katonda akulage ekisa Mukama waffe. Bino tebirikutuukako.”
23 (B)Naye Yesu n’akyukira Peetero n’amugamba nti, “Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu.”
24 (C)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw’ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere. 25 (D)Kubanga buli agezaako okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, oyo alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibuwonya. 26 Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olw’obulamu bwe? 27 (E)Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali.
28 “Ddala ddala mbagamba nti ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja n’obwakabaka bwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.