Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
2 (B)Mumuyimbire, mumutendereze;
muyimbe ku byamagero bye.
3 Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
4 (C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
mumunoonyenga ennaku zonna.
23 (A)Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
24 (B)Mukama n’ayaza nnyo abantu be;
ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
25 (C)n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,
ne basalira abaweereza be enkwe.
26 (D)Yatuma abaweereza be Musa
ne Alooni, be yalonda.
45 (A)balyoke bakwatenga amateeka ge,
era bagonderenga ebiragiro bye.
Mumutendereze Mukama.
23 (A)Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, kabaka w’e Misiri n’afa. Abaana ba Isirayiri ne basindanga era ne bakaabanga olw’obuddu bwe baalimu, n’okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda. 24 (B)Katonda n’awulira okusinda kwabwe. Katonda n’ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.
Okubeera mu Musana
5 Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa. 2 (A)Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.
3 (B)Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe. 4 Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda. 5 (C)Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. 6 (D)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.