Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 124

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

124 (A)Isirayiri agamba nti,
    singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
    abalabe baffe bwe baatulumba,
banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
    obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
    ne mukoka n’atukulukutirako;
amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
    ganditukuluggusizza.

Mukama atenderezebwe
    atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
(B)Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
    ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
    naffe tuwonye!
(C)Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Olubereberye 49:29-50:14

Okufa kwa Yakobo

29 (A)Oluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, 30 (B)mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu. 31 (C)Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya. 32 Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”

33 (D)Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.

50 (E)Awo Yusufu n’agwa mu maaso ga kitaawe n’akaaba, n’amunywegera. (F)Yusufu n’alagira abaweereza be abasawo, okukalirira omulambo gwa kitaawe. Bwe batyo abasawo ne bakalirira omulambo gwa Isirayiri; (G)baali beetaaga ennaku amakumi ana okukoleramu ekyo. Ezo ze nnaku ezakaliririrwangamu emirambo. Abamisiri ne bakungubagira Yakobo okumala ennaku nsanvu.

Awo ennaku ez’okukungubagiramu Yakobo bwe zaggwaako, Yusufu n’ayogera n’ennyumba ya Falaawo, n’agamba nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso gammwe munjogerereyo ewa Falaawo. Mumugambe nti, (H)‘Kitange yandayiza ng’agamba nti, “Nnaatera okufa; mu ntaana yange gye nesimira mu nsi ya Kanani, omwo mw’onziikanga.” Kale kaakano mbasaba mundeke ŋŋende nziike kitange; oluvannyuma nkomewo.’ ”

Falaawo n’addamu nti, “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.”

Awo Yusufu n’ayambuka wamu n’abaweereza ba Falaawo bonna, n’abakulu b’ennyumba ye, n’abakulu ba Misiri bonna, n’ab’ennyumba ya Yusufu, ne baganda be, n’ab’ennyumba ya kitaawe. Abaana bokka be baasigala mu Goseni n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe. N’agenda n’amagaali n’abeebagala embalaasi era ekibiina kyali kinene nnyo.

10 (I)Bwe baatuuka ku gguuliro lya Atadi ng’osomose Yoludaani, ne bakungubaga okukungubaga okutagambika okujjudde ennaku; Yusufu n’akungubagira kitaawe okumala ennaku musanvu. 11 Abantu ab’omu nsi, Abakanani, bwe baalaba okukungubaga mu gguuliro lya Atadi ne bagamba nti, “Okukungubaga kuno kwa ntiisa eri Abamisiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Aberumizirayimu, ekiri emitala wa Yoludaani.

12 Bwe batyo batabani ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira. 13 (J)Baamwetikka ne bamutuusa mu Kanani, ne bamuziika mu mpuku eyali mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, Ibulayimu gye yagula okuva ku Efulooni Omukiiti, aziikengamu abantu be. 14 Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe n’addayo e Misiri wamu ne baganda be ne bonna abaayambuka naye okuziika kitaawe.

2 Abakkolinso 10:12-18

12 (A)Ffe tetwaŋŋanga kwebalira wadde okwegeraageranya n’abamu ku abo abeetendereza, naye bo bwe beepimamu bokka na bokka, ne beegeraageranya bokka na bokka tebaba na kutegeera. 13 (B)Naye ffe tetujja kwenyumiriza kusukka ku kigera kyaffe, naye tujja kwenyumiriza ng’ekigera ekyo ekyatuweebwa Katonda bwe kiri, ne tusobola n’okubatuukako mmwe. 14 (C)Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera kye tulina, kubanga nammwe twabatuusaako Enjiri ya Kristo, 15 (D)nga tetwenyumiriza kusinga omulimu abalala gwe baakola, naye nga tulina essuubi nti ng’okukkiriza kwammwe bwe kugenda kweyongera, n’omulimu gwaffe gugenda gweyongera, 16 (E)era nga tubuulira Enjiri ne mu bitundu ebibali ewala, naye so si mu kitundu eky’omulala omwakolebwa edda omulimu waleme okubaawo eyeenyumiriza. 17 (F)Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe; 18 (G)kubanga eyeetenda yekka, oyo si ye asiimibwa, wabula oyo Mukama gw’atenda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.