Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 37:1-4

Ekirooto Kya Yusufu n’Obukyayi bwa Baganda be

37 (A)Yakobo yabeeranga mu Kanani, ensi bajjajjaabe mwe baatambuliratambuliranga.

(B)Era bino bye bifa ku lulyo lwa Yakobo:

Yusufu bwe yali nga wa myaka kkumi na musanvu ng’ali ne baganda be batabani ba Biira ne Zirifa, nga balunda ekisibo ky’endiga, Yusufu n’ategeezanga Yakobo kitaabwe ebintu ebibi bye baakolanga.

(C)Bw’atyo Isirayiri n’ayagala nnyo Yusufu okusinga abaana be abalala, kubanga nga ye mwana ow’omu bukadde bwe; n’amutungira ekyambalo eky’amabala amangi. (D)Naye baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga bo ne bakyawa Yusufu, ne batayinza na kwogera naye na kisa.

Olubereberye 37:12-28

Yusufu Atundibwa Baganda be

12 Awo baganda ba Yusufu ne bagenda okumpi ne Sekemu okulunda ekisibo kya kitaabwe. 13 Isirayiri n’alyoka agamba Yusufu nti, “Nga baganda bo bwe balundira e Sekemu, jjangu nkutume gye bali.” Yusufu n’amuddamu nti, “Nzuuno ntuma.” 14 (A)N’alyoka amugamba nti, “Genda kaakano olabe obanga baganda bo n’ekisibo bali bulungi, okomewo ontegeeze.” Awo n’amutuma okuva mu kiwonvu kya Kebbulooni, n’atuuka e Sekemu.

15 Awo omusajja n’amulaba ng’atangatangira ku ttale, n’amubuuza nti, “Onoonya ki?” 16 N’amuddamu nti, “Noonya baganda bange, nkwegayiridde mbuulira gye balundira ekisibo.” 17 (B)Omusajja n’amuddamu nti, “Beeyongerayo, kubanga nabawulira nga bagamba nti, ‘Ka tugende e Dosani.’ ” Awo Yusufu n’agoberera baganda be n’abasanga e Dosani. 18 (C)Baganda be ne bamulengera ng’akyali wala, era bwe yali nga tannabasemberera ne bateesa bamutte.

19 Ne bagambagana nti, “Sekalootera wuuyo ajja. 20 (D)Kale mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya;[a] tuligamba nti, ‘Ensolo enkambwe ye yamulya; tulabe ebirooto bye bwe birituukirira.’ ”

21 (E)Naye Lewubeeni bwe yakiwulira n’agezaako okumuwonya mu mikono gyabwe n’agamba nti, “Tetumutta. 22 Tuleme kuyiwa musaayi; ka tumusuule mu bunnya buno wano mu nsiko. Temumuteekako mukono gwammwe.” Yayogera bw’atyo alyoke amuwonye mu mikono gyabwe, amuddize kitaawe.

23 Awo Yusufu bwe yatuuka ku baganda be ne bamwambulamu ekyambalo kye eky’amabala amangi kye yali ayambadde: 24 (F)ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga tebuliimu mazzi.

25 (G)Awo bwe baatuula okulya, ne bayimusa amaaso ne balengera ekibiina ky’Abayisimayiri nga bava e Gireyaadi, ng’eŋŋamira zaabwe zeettise ebyakaloosa, n’envumbo ne mooli nga bali mu lugendo babitwala e Misiri.

26 (H)Yuda kwe kugamba baganda be nti, “Kitugasa ki okutta muganda waffe n’okuyiwa omusaayi gwe? 27 (I)Tumuguze Abayisimayiri. Omukono gwaffe guleme okumubaako, kubanga muganda waffe, omubiri gwaffe gwennyini.” Baganda be ne bakkiriziganya naye.

28 (J)Abasuubuzi, Abayisimayiri bwe baabatuukako ne baggya Yusufu mu bunnya, ne bamuguza Abayisimayiri. Baamubaguza ebitundu bya ffeeza amakumi abiri; ne bamutwala e Misiri.

Zabbuli 105:1-6

105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
    amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
(B)Mumuyimbire, mumutendereze;
    muyimbe ku byamagero bye.
Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
    emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
(C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
    mumunoonyenga ennaku zonna.

(D)Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
    ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
(E)mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
    mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.

Zabbuli 105:16-22

16 (A)Yaleeta enjala mu nsi,
    emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.
17 (B)N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,
    ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,
18 (C)ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,
    obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,
19 (D)okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,
    okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.
20 (E)Kabaka n’atuma ne bamusumulula;
    omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.
21 Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,
    n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;
22 (F)okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,
    n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.

Zabbuli 105:45

45 (A)balyoke bakwatenga amateeka ge,
    era bagonderenga ebiragiro bye.

Mumutendereze Mukama.

Abaruumi 10:5-15

(A)Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.” (B)Naye okukkiriza okuva mu butuukirivu, kugamba nti, “Toyogeranga mu mutima gwo nti, ‘Ani alirinnya mu ggulu?’ (kwe kuggya Kristo mu ggulu) newaakubadde okugamba nti, ‘Ani alikka emagombe?’ (kwe kuggya Kristo mu bafu.)” (C)Abo bonna abalina okukkiriza mu Kristo bagamba nti, “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko era kiri mu mutima gwo,” kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira. (D)Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka. 10 Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka. 11 (E)Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” 12 (F)Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. 13 (G)Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka. 14 Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? 15 (H)Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.”

Matayo 14:22-33

Yesu Atambulira ku Mazzi

22 Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale eryato bagende emitala w’ennyanja, ye asigale ng’akyasiibula abantu. 23 (A)Bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ng’ali eyo yekka. 24 Eryato abayigirizwa mwe baali bwe lyatuuka ebuziba, omuyaga mungi ne gubafuluma mu maaso eryato ne lyesunda.

25 Awo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro, Yesu n’ajja gye bali ng’atambula ku nnyanja. 26 (B)Naye abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.

27 (C)Awo amangwago Yesu n’abagamba nti, “Mugume, Nze nzuuno temutya.”

28 Peetero n’amugamba nti, “Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gy’oli nga ntambulira ku mazzi.”

29 Yesu n’amuddamu nti, “Kale jjangu.” Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu.

30 Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, “Mukama wange, ndokola!”

31 (D)Amangwago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata, n’amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?”

32 Bwe baalinnya mu lyato omuyaga gwonna ne guggwaawo. 33 (E)N’abo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.