Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okusaba kwa Dawudi.
17 (A)Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira,
wuliriza okukaaba kwange.
Tega okutu owulirize okukoowoola kwange,
kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
2 Nzigyako omusango;
kubanga olaba ekituufu.
3 (B)Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro.
Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu;
kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
4 Ggwe, gwe nkoowoola,
ngoberedde ebigambo by’akamwa ko,
ne neewala
ebikolwa by’abantu abakambwe.
5 (C)Nnyweredde mu makubo go,
era ebigere byange tebiigalekenga.
15 (A)Nze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu
era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.
14 (A)Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa,
addemu alonde Isirayiri
abazze ku ttaka lyabwe.
Ne bannamawanga balibeegattako
era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.
2 (B)N’amawanga mangi galibayamba
okudda mu nsi yaabwe,
n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu
abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.
Baliwamba abaali babawambye,
bafuge abo abaabakijjanyanga.
Okwebaza
10 (A)Nasanyuka nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw’ebbanga muzzeemu okundowoozaako buggya, kubanga mwali munzisaako nnyo omwoyo, naye temwalina mukisa ku kiraga. 11 (B)Soogera kino olwokubanga Ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nayiga okumalibwanga. 12 (C)Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba n’ebingi ne mu bwetaavu. 13 (D)Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.
14 (E)Kyokka mukola bulungi okulumirirwa awamu nange mu kubonaabona kwange. 15 (F)Mmwe, Abafiripi, mumanyi nti bwe nava e Makedoniya nga nakatandika okubuulira Enjiri, tewali Kkanisa n’emu eyampaayo akantu olw’ebyo bye yafuna okuggyako mmwe mwekka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.