Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 142

Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.

142 (A)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
    neegayirira Mukama ansaasire.
(B)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
    ne mmwanjulira ebinteganya byonna.

(C)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
    gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
(D)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
    sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.

(E)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
    nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
    ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”

(F)Owulire okukaaba kwange,
    kubanga njeezebwa nnyo!
Mponya abanjigganya,
    kubanga bansinza nnyo amaanyi.
(G)Nziggya mu kkomera,
    ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu balinneetooloola,
    ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.

Mikka 1:1-5

(A)Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri Mukama, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi.

(B)Muwulire mmwe abantu mwenna,
    muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu,
Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu,
    ng’alina by’abalumiriza.
(C)Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye
    ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.
(D)N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye
    era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka
ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro,
    ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.
(E)Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo,
    olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.
Ekibi kya Yakobo kye kiruwa?
    Si ye Samaliya?
Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda?
    Si Yerusaalemi?

1 Basessaloniika 4:1-8

Obulamu obusanyusa Katonda

(A)Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula n’okusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo n’okusingawo. Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa mu Mukama waffe Yesu.

(B)Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, (C)buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, (D)so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola. (E)Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa. (F)Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa. (G)Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.