Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 25:19-34

Okuzaalibwa kwa Yakobo ne Esawu

19 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isaaka, mutabani wa Ibulayimu.

Ibulayimu yazaala Isaaka. 20 (A)Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli ow’e Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani.

21 (B)Isaaka n’asaba Mukama ku lwa mukazi we Lebbeeka kubanga yali mugumba, Mukama n’awulira okusaba kwe, Lebbeeka naaba olubuto. 22 (C)Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti, “Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?” Awo n’agenda ne yeebuuza ku Mukama.

23 (D)Mukama n’amuddamu nti,

“Mu lubuto lwo mulimu amawanga abiri,
    abantu ababiri b’olizaala balibeera ba njawulo,
omu alibeera w’amaanyi okusinga munne,
    era omukulu yaaliweereza omuto.”

24 Ennaku ez’okuzaala bwe zaatuuka, laba, n’azaala abalongo nga babulenzi. 25 (E)Eyasooka bwe yavaayo nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ng’ekyambalo eky’ebyoya. Kyebaava bamutuuma Esawu. 26 (F)Oluvannyuma ne muganda we n’azaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo.

Esawu Atunda eby’Obukulu Bwe

27 (G)Abalenzi ne bakula, Esawu n’aba muyizzi lukulwe, omuntu ow’oku ttale. Naye ye Yakobo yali musajja musirise ng’asigala waka. 28 (H)Isaaka n’ayagala Esawu kubanga yalyanga ku muyiggo gwe, naye Lebbeeka ye n’ayagala Yakobo.

29 Lumu Yakobo yali afumba enva, Esawu n’ajja ng’ava ku ttale; enjala ng’emuluma nnyo. 30 Esawu n’agamba Yakobo nti, “Mpa mpute ku nva ezo, kubanga enjala ejula kunzita.” Kyeyava ayitibwa Edomu.

31 Yakobo n’amuddamu nti, “Sooka onguze obukulu bwo.”

32 Esawu n’agamba nti, “Laba Ndikumpi n’okufa, obukulu bungasa ki?”

33 (I)Yakobo n’addamu nti, “Sooka ondayirire.” Awo Esawu n’amulayirira, olwo n’aguza Yakobo obukulu bwe.

34 Yakobo n’alyoka awa Esawu emmere n’enva, n’alya n’anywa, n’agolokoka n’agenda.

Bw’atyo Esawu n’anyooma obukulu bwe.

Zabbuli 119:105-112

נ Nuuni

105 (A)Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
    era kye kimulisa ekkubo lyange.
106 (B)Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza
    nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
107 Nnumizibwa nnyo;
    nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108 (C)Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;
    era onjigirize amateeka go.
109 (D)Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,
    naye seerabira mateeka go.
110 (E)Abakola ebibi banteze omutego,
    naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;
    weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
112 (F)Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo
    ennaku zonna ez’obulamu bwange.

Abaruumi 8:1-11

Obulamu Obuva mu Mwoyo

(A)Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okw’omubiri wabula ne bagoberera Omwoyo. (B)Kubanga etteeka ery’Omwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa. (C)Amateeka ga Musa kye gataayinza kukola, olw’okunafuyizibwa omubiri, Katonda yakikola mu Mwana we yennyini bwe yamutuma mu kifaananyi ky’omubiri ogw’ekibi, n’asalira ekibi omusango mu mubiri. (D)Ekyo kyabaawo, eby’obutuukirivu mu mateeka biryoke bituukirire mu ffe bwe tugondera Omwoyo, ffe abatatambulira mu mubiri naye abatambulira mu Mwoyo.

(E)Abo abalowooleza mu mubiri balowooza bintu bya mubiri, naye abalowooleza mu Mwoyo balowooza bya Mwoyo. (F)Okulowooleza mu by’omubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu n’emirembe. (G)Kubanga okulowooza eby’omubiri kya bulabe eri Katonda. Ebirowoozo eby’omubiri tebiyinza kuwulira mateeka ga Katonda. N’abo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda.

(H)Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bw’ataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo. 10 (I)Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olw’ekibi, ate ng’omwoyo gwammwe mulamu olw’obutuukirivu. 11 (J)Era obanga Omwoyo w’oyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu abeera mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo mu bafu, alifuula emibiri gyammwe egifa okuba emiramu ku bw’Omwoyo we abeera mu mmwe.

Matayo 13:1-9

Olugero lw’Omusizi

13 (A)Ku lunaku olwo Yesu n’afuluma mu nnyumba n’agenda n’atuula ku lubalama lw’ennyanja. (B)Ekibiina kinene ne kimukuŋŋaanirako. Kwe kuyingira mu lyato n’atuula omwo abantu bonna ne bayimirira ku lubalama. N’ababuulira ebintu bingi mu ngero ng’agamba nti, “Omulimi yali asiga ensigo mu nnimiro ye. Bwe yagenda ng’amansa ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. Endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi era ne zimera mangu kubanga ettaka teryali ggwanvu. Naye omusana bwe gwayaka ne ziwotoka kubanga emirandira gyazo gyali kumpi. Endala ne zigwa mu maggwa, bwe zaamera amaggwa nago ne gakula ne gazisinga amaanyi, obulimi obwali bwakamera ne bukala. (C)Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera ne zibala bulungi, ne zivaamu emirundi amakumi asatu, n’endala emirundi nkaaga n’endala emirundi kikumi. (D)Alina amatu agawulira, awulire.”

Matayo 13:18-23

18 “Noolwekyo muwulirize olugero lw’omulimi eyasiga ensigo. 19 (A)Ensigo eyagwa ku mabbali g’ekkubo efaanana ng’omuntu awulira ekigambo kya Katonda n’atakitegeera era omulabe Setaani n’ajja n’akimusikulako okuva ku mutima. 20 Ensigo eyagwa ku byaziyazi efaanana ng’omuntu awulira ekigambo, amangwago n’akyaniriza n’essanyu, 21 (B)naye olw’okuba nga talina mmizi mu ye, wa kaseera buseera, ennaku n’okuyigganyizibwa bwe bijja olw’ekigambo, amangwago n’agwa. 22 (C)N’ensigo eyagwa mu maggwa efaanana ng’omuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kw’ebintu by’ensi n’obugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala. 23 (D)Naye ensigo eyagwa ku ttaka eddungi efaanana ng’omuntu awulira ekigambo n’akitegeera, n’abalira ddala ebibala, n’abala ebibala amakumi asatu, oba nkaaga oba kikumi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.