Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
נ Nuuni
105 (A)Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
era kye kimulisa ekkubo lyange.
106 (B)Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza
nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
107 Nnumizibwa nnyo;
nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108 (C)Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;
era onjigirize amateeka go.
109 (D)Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,
naye seerabira mateeka go.
110 (E)Abakola ebibi banteze omutego,
naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;
weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
112 (F)Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo
ennaku zonna ez’obulamu bwange.
32 (A)Tega okutu ggwe eggulu, nange nnaayogera,
wulira ebigambo by’omu kamwa kange.
2 (B)Okuyigiriza kwange ka kutonnye ng’enkuba,
n’ebigambo byange bigwe ng’omusulo,
bigwe ng’obufuuyirize ku muddo,
ng’oluwandagirize ku bisimbe ebito.
3 (C)Kubanga ndirangirira erinnya lya Mukama;
mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe!
4 (D)Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu,
n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya.
Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa,
omwenkanya era omutereevu mu byonna.
5 (E)Beeyisizza ng’abagwenyufu gy’ali,
baswavu era tebakyali baana be,
wabula omulembe omukyamu era ogw’amawaggali.
6 (F)Bwe mutyo bwe musasula Mukama Katonda,
mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi?
Si ye kitaawo eyakutonda,
n’akussaawo n’akunyweza?
7 (G)Jjukira ebiseera eby’edda,
fumiitiriza ku myaka egyayita edda.
Buuza kitaawo ajja kukubuulira
ne bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza.
8 (H)Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaago
abantu bonna bwe yabayawulayawulamu,
yategeka ensalo z’amawanga
ng’omuwendo gw’abaana ba Isirayiri bwe gwali.
9 (I)Omugabo gwa Mukama Katonda be bantu be,
Yakobo bwe busika bwe bwe yagabana.
10 (J)Yamuyisanga mu ddungu,
mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta.
Yamuzibiranga, n’amulabiriranga,
n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.
Pawulo Omuweereza w’Abaamawanga
14 (A)Era matidde baganda bange, nze kennyini, nga nammwe bennyini mujjudde obulungi, nga mujjudde okutegeera kwonna, era nga muyinza okubuuliriragana. 15 (B)Naye mu bitundu ebimu eby’ebbaluwa eno nabawandiikira n’obuvumu nga mbajjukiza olw’ekisa ekyampebwa okuva eri Katonda, 16 (C)kubanga nze ndi muweereza wa Kristo Yesu eri Abaamawanga, nga nkola obuweereza obutukuvu nga mbulira Enjiri ya Katonda, ekiweebwayo ky’Abaamawanga kiryoke kikkirizibwe, nga kitukuzibbwa Mwoyo Mutukuvu.
17 (D)Noolwekyo neenyumiririza mu Kristo olw’omulimu gwa Katonda; 18 (E)kubanga siryaŋŋanga kwogera bintu Kristo by’atakolera mu nze Abaamawanga balyoke babeere abawulize mu kigambo ne mu bikolwa, 19 (F)ne mu maanyi ag’obubonero n’eby’amagero, ne mu maanyi ag’Omwoyo wa Katonda. Bwe ntyo okuva e Yerusaalemi n’okwetooloola okutuuka mu Iruliko[a], mbulidde Enjiri ya Kristo mu bujjuvu. 20 (G)Nduubirira okubuulira Enjiri mu bifo etayatulwanga linnya lya Kristo, nneme okuzimba ku musingi gw’omuntu omulala, 21 (H)nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Abo abatategeezebwanga bimufaako baliraba,
n’abo abatawulirangako balitegeera.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.