Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 105:1-11

105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
    amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
(B)Mumuyimbire, mumutendereze;
    muyimbe ku byamagero bye.
Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
    emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
(C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
    mumunoonyenga ennaku zonna.

(D)Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
    ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
(E)mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
    mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
Ye Mukama Katonda waffe;
    ye alamula mu nsi yonna.

(F)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
    kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
(G)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
    era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 (H)Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,
    n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 (I)“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
    okuba omugabo gwo.”

Zabbuli 105:45

45 (A)balyoke bakwatenga amateeka ge,
    era bagonderenga ebiragiro bye.

Mumutendereze Mukama.

Olubereberye 29:9-14

Yakobo Asisinkana Laakeeri

(A)Yakobo bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n’atuuka n’endiga za kitaawe. Kubanga ye yali azirunda. 10 (B)Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n’endiga za Labbaani, n’agenda n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi n’anywesa endiga za Labbaani. 11 (C)Yakobo n’alyoka agwa Laakeeri mu kifuba, n’ayimusa eddoboozi n’akaaba. 12 (D)Yakobo n’alyoka ategeeza Laakeeri nti, waluganda ne kitaawe, era ye mutabani wa Lebbeeka. Laakeeri kwe kudduka n’ategeeza kitaawe.

13 (E)Awo Labbaani bwe yawulira ebya Yakobo, mutabani wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amulamusa bulungi, n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’ategeeza Labbaani byonna ebyaliwo. 14 (F)Labbaani n’agamba nti, “Mazima oli ggumba lyange, era nnyama ya mubiri gwange! N’abeera naye omwezi mulamba.”

Ebikolwa by’Abatume 7:44-53

44 (A)“Bajjajjaffe baatambula mu ddungu nga beetisse Eweema ey’Endagaano, eyakolebwa nga Katonda bwe yalagirira Musa ng’efaanana nga bwe yagimulaga. 45 (B)Bajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi y’abamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema n’ebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi. 46 (C)Dawudi n’asiimibwa Katonda, era n’asaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba. 47 Naye Sulemaani ye yagizimba.

48 (D)“Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bw’agamba nti,

49 (E)“ ‘Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka.
    N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange.
Mukama n’agamba nti,
    Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki?
    Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
50 (F)Omukono gwange si gwe gwakola ebyo byonna!’

51 (G)“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli. 52 (H)Nnabbi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta n’abo abaalangirira okujja kw’Omutuukirivu, gwe mwalyamu olukwe ne mumutta. 53 (I)Mmwe mwaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika naye ne mutagagondera.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.