Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 118:1-2

118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale Isirayiri ayogere nti,
    “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”

Zabbuli 118:19-29

19 (A)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
    nnyingire, neebaze Mukama.
20 (B)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
    abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (C)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
    n’ofuuka obulokozi bwange.

22 (D)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
    era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
    tusanyuke tulujagulizeeko.

25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
    Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

26 (E)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
    Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (F)Mukama ye Katonda,
    y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
    kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.

28 (G)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
    ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.

29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Matayo 21:1-11

Yesu ayingira n’Ekitiibwa mu Yerusaalemi

21 (A)Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali basemberera Yerusaalemi nga batuuse kumpi n’ekibuga Besufaage ku lusozi lwa Zeyituuni, Yesu n’atuma babiri ku bayigirizwa be. N’abagamba nti, “Mugende mu kibuga ekiri mu maaso, bwe munaaba mwakakiyingira mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa awo wamu n’omwana gwayo. Muzisumulule muzireete wano. Naye omuntu yenna bw’anaabaako ky’abagamba, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’azeetaaga,’ amangwago ajja kuziweereza.”

Kino kyabaawo okutuukiriza ebigambo nnabbi bye yayogera nti,

(B)“Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti,
    ‘Laba Kabaka wammwe ajja gye muli
nga muwombeefu,
    nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.’ ”

Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira. Ne baleeta endogoyi n’omwana gwayo, ne baaliirako eminagiro gyabwe ku ndogoyi, n’agyebagala. (C)Abantu bangi ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo n’abalala ne batema amatabi g’emiti ne bagaalira mu luguudo. (D)Ebibiina ebyamukulembera, n’ebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti,

“Ozaana Omwana wa Dawudi!”

“Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.”

“Ozaana waggulu ennyo!”

10 Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi, ne wabaawo oluyoogaano mu kibuga kyonna nga beebuuza nti, “Ono ye ani?”

11 (E)Abaali mu kibiina ne baddamu nti, “Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya.”

Isaaya 50:4-9

(A)Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi
    oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye.
Anzukusa buli nkya,
    buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.
(B)Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwange
    ne siba mujeemu.
    Sizzeeyo mabega.
(C)N’awaayo omugongo gwange eri abankuba,
    n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu.
Saakweka maaso gange eri abo abansekerera
    n’eri abo abanfujjira amalusu.
(D)Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba
    kyennaava siswazibwa.
Noolwekyo kyenvudde n’egumya
    era mmanyi nti siriswazibwa.
(E)Kubanga oyo ampolereza ali kumpi.
    Ani alinnumiriza omusango?
    Twolekagane obwenyi.
Ani annumiriza?
    Ajje annumbe.
(F)Mukama Ayinzabyonna y’anyamba.
    Ani alinsalira omusango?
Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo;
    ennyenje ziribalya.

Zabbuli 31:9-16

(A)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;
    amaaso gange gakooye olw’ennaku;
    omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
10 (B)Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange
    ne giggwaawo olw’okusinda.
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,
    n’amagumba ganafuye.
11 (C)Abalabe bange bonna bansekerera,
    banneetamiddwa.
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,
    n’abandaba mu kkubo banziruka.
12 (D)Nneerabiddwa ng’eyafa edda;
    nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
13 (E)Buli ludda mpulirayo obwama
    nga bangeya;
bye banteesaako
    nga basala olukwe okunzita.

14 (F)Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama;
    nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”
15 (G)Entuuko zange ziri mu mikono gyo;
    ondokole mu mikono gy’abalabe bange
    n’abangigganya.
16 (H)Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
    ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.

Abafiripi 2:5-11

(A)Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,

(B)ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda,
    Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,
(C)wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,
    era n’azaalibwa ng’omuntu,
    era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,
(D)ne yeetoowaza,
    n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,
    ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.

(E)Katonda kyeyava amugulumiza,
    n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
10 (F)buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,
    era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,
11 (G)era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,
    Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Matayo 26:14-27:66

14 (A)Awo Yuda Isukalyoti omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri n’agenda eri bakabona abakulu. 15 (B)N’ababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. 16 Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda n’anoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe.

Ekyekiro kya Mukama Waffe

17 (C)Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ez’Embaga ey’Emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Embaga y’Okuyitako tukugiteekereteekere wa?”

18 (D)Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mu kibuga ewa ‘Gundi,’ mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kituuse, era Embaga ey’Okuyitako njagala kugiriira mu maka go awamu n’abayigirizwa bange.’ ” 19 Abayigirizwa ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira ne bateekateeka Okuyitako.

20 Akawungeezi ako Yesu bwe yali ng’atudde 21 (E)ku mmere n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, nga balya n’abagamba nti, “Omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”

22 Bwe baakiwulira emitima ne gibeewanika, buli omu n’abuuza nti, “Ye nze?”

23 (F)Yesu n’addamu nti, “Akozezza nange mu kibya, y’oyo. 24 (G)Mutegeere nti Omwana w’Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, naye zimusanze omuntu oyo agenda okulya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalirwa ddala.”

25 (H)Yuda anaamulyamu olukwe n’amubuuza nti, “Ddala ddala, ye nze Labbi?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”

26 (I)Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.”

27 Bw’atyo n’asitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, n’abawa ng’agamba nti, “Munywe ku kino mwenna, 28 (J)kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi. 29 (K)Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.”

30 (L)Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

Yesu Ategeeza Peetero nga bw’Anaamwegaana

31 (M)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ekiro kya leero mwenna mujja kunjabulira.

“Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba
    n’endiga z’omu kisibo kye ne zisaasaana.’

32 (N)Naye bwe ndimala okuzuukizibwa ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.” 33 Peetero n’amuddamu nti, “Abalala bonna bwe banaakwabulira, nze sijja kukwabulira.”

34 (O)Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Mu kiro kino kyennyini enkoko eneeba tennakookolima, onooneegaana emirundi esatu.” 35 (P)Peetero n’amugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo.

Gesusemane

36 Awo Yesu n’agenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane n’abagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.” 37 (Q)N’atwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, n’atandika, okuwulira ennaku nnyingi n’okweraliikirira ennyo. 38 (R)N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.”

39 (S)N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”

40 (T)N’addayo eri abayigirizwa be n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Peetero, naawe tosobodde kutunula nange n’essaawa emu? 41 (U)Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”

42 N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”

43 N’akomawo nate gye bali n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gazitowa nga gajjudde otulo. 44 N’abaleka n’agenda asaba ebigambo bye bimu nga biri.

45 (V)Ate n’akomawo awali abayigirizwa n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala, muwummule. Kyokka mumanye ng’ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi. 46 Muzuukuke! Musituke tugende! Laba, omuntu agenda okundyamu olukwe wuuli ajja!”

Yesu Akwatibwa

47 Laba Yesu yali akyayogera Yuda omu ku kkumi n’ababiri, n’atuuka ng’alina ekibiina ky’abantu abaali babagalidde ebitala n’emiggo nga batumiddwa bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya. 48 Eyali agenda okumulyamu olukwe yali abategeezezza akabonero nti omuntu gw’anaalamusa nga y’oyo gwe baali beetaaga, nga bamukwata. 49 (W)Amangwago n’ajja eri Yesu n’amulamusa nti, “Mirembe, Labbi,” n’amugwa mu kifuba.

50 (X)Yesu kwe kumugamba nti. “Munnange, kola ky’ojjiridde.”[a] Awo abalala ne bakwata Yesu.

51 (Y)Omuntu omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’asalako okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.

52 (Z)Naye Yesu n’amulagira nti, “Ekitala kyo kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Kubanga abo abakozesa ebitala nabo bagenda kuttibwa na kitala. 53 (AA)Tomanyi nti nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira? 54 (AB)Naye singa nkola bwe ntyo, olwo Ebyawandiikibwa, ebyogera ku bino ebiriwo kaakano, binatuukirira bitya?”

55 (AC)Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata. 56 (AD)Naye kino kibaddewo okutuukiriza ebigambo bya bannabbi ebiri mu Byawandiikibwa.” Olwo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.

Yesu mu maaso g’Olukiiko

57 (AE)Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde. 58 (AF)Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo. 59 (AG)Bakabona abakulu n’Abasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obw’obulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo eky’okufa. 60 (AH)Kyokka ne bafunayo batono ab’obujulirwa obw’obulimba. N’evumbukayo babiri 61 (AI)abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’ ”

62 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?” 63 (AJ)Naye Yesu n’asirika busirisi.

Ate Kabona Asinga Obukulu, n’amuddira ng’amugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”

64 (AK)Yesu n’addamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’akomawo ku bire eby’eggulu.” 65 (AL)Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera! 66 (AM)Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!”

67 (AN)Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi, 68 (AO)nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye y’aluwa?”

Peetero Yeegaana Yesu

69 Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala n’ajja awali Peetero n’amugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, ow’e Ggaliraaya.”

70 Naye Peetero ne yeegaana mu maaso ga buli omu ng’agamba nti, “Ky’oyogerako sikimanyi.”

71 Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi n’oluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu ow’e Nazaaleesi.”

72 Peetero era n’akyegaana, nga kw’atadde n’okulayira nga bw’agamba nti, “Nze oyo n’okumumanya simumanyi.”

73 Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja w’ali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olw’enjogera yo.”

74 Peetero n’atandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ng’agamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko n’ekookolima.

75 (AP)Awo Peetero n’ajjukira ebigambo bya Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima onoonneegaana emirundi esatu.” N’afuluma ebweru ng’akaaba nnyo amaziga.

Yuda Yeetuga

27 (AQ)Awo obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n’abakulembeze b’Abayudaaya ne beeyongera okukuŋŋaana ne bateeseza wamu balabe ekkubo lye banaayitamu okutta Yesu. (AR)Ne bamusiba, ne bamuweereza ewa Piraato eyali gavana Omuruumi.

(AS)Awo Yuda, eyali amuliddemu olukwe, bwe yalaba nga Yesu bamusalidde omusango gwa kufa, n’azzaayo ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza eri bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya, (AT)ng’agamba nti, “Nnyonoonye, kubanga ndiddemu olukwe omusaayi ogutalina musango.” Naye ne bamuddamu nti, “kyo kitukwatako kitya? Ezo nsoga zo.”

(AU)Kyeyava addira ensimbi eza ffeeza n’aziyiwa mu Yeekaalu n’afuluma n’agenda yeetuga! Bakabona abakulu ne balondalondawo ensimbi eza ffeeza, ne bagamba nti, “Kya muzizo okuzissa mu ggwanika lya yeekaalu kubanga muwendo gwa musaayi.” Bwe baamala okukikubaganyaako ebirowoozo, ne basalawo okuzigulamu ennimiro ababumbi mwe baggyanga ebbumba. Ne bateesa ennimiro eyo okugifuula ekifo eky’okuziikangamu abagwira. (AV)Kyebaava batuuma ennimiro eyo, “Ennimiro y’Omusaayi” n’okutuusa leero. (AW)Kino ne kituukiriza nnabbi Yeremiya bye yayogera nti, “Baddira ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, nga gwe muwendo abaana ba Isirayiri gwe baamulamula, 10 (AX)ne bagulamu ennimiro eyali ey’ababumbi, nga Mukama bwe yalagira.”

Yesu mu maaso ga Piraato

11 (AY)Awo Yesu bwe yayimirira mu maaso ga gavana, Omuruumi, gavana n’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde.”

12 (AZ)Naye bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bwe baaleeta ensonga zaabwe ze baasinziirako okumuwawaabira, Yesu teyabaanukula. 13 (BA)Piraato kwe ku mubuuza nti, “Ebyo byonna bye bakwogerako tobiwulira?” 14 (BB)Naye Yesu n’ataddamu kigambo na kimu, era gavana ne kimwewuunyisa nnyo.

15 (BC)Gavana yalina empisa ey’okusumulula omusibe omu mu kiseera eky’Embaga y’Okuyitako, ng’omusibe oyo abantu be baamweronderanga. 16 Mu kkomera mwalimu kkondo lukulwe ng’erinnya lye ye Balaba. 17 (BD)Awo Piraato n’abuuza ekibiina ekyali kikuŋŋaanye nti, “Mwagala mbasumululire ani, Balaba oba Yesu, ayitibwa Kristo?” 18 Kubanga yamanya ng’abakulembeze b’Abayudaaya bamuwaddeyo lwa buggya.

19 (BE)Piraato yali akyali wakati mu musango ogwo, mukazi we n’amutumira n’obubaka buno nti, “Toba na nsonga na musajja oyo omutuukirivu kubanga natawaanyizibbwa n’ekirooto eky’omuntu oyo.”

20 (BF)Naye bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne basendasenda ebibiina basabeyo Balaba y’aba ateebwa, naye Yesu attibwe.

21 Gavana bwe yaddamu okubabuuza nti, “Ku bano bombi mbateereko aluwa?” Ekibiina kyonna ne kiddamu nti, “Balaba!”

22 (BG)Piraato n’ababuuza nti, “Kale Yesu, ayitibwa Kristo, mukole ntya?” buli omu n’addamu nti, “Akomererwe!”

23 Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki, kiki ky’asobezza?” Naye bo ne beeyongera kuleekaanira waggulu nti, “Akomererwe!”

24 (BH)Awo Piraato bwe yalaba ng’ensoga talina gy’aziraza, ate ng’ebibiina byagala kusasamala, n’atumya amazzi, n’anaaba engalo ze mu maaso g’ekibiina nga bw’agamba nti, “Nze siriiko musango gwonna olw’omusaayi gw’omuntu ono omulungi. Obuvunaanyizibwa bwonna buli ku mmwe!”

25 (BI)Abantu bonna ne baanukula nti, “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe!”

26 (BJ)Awo Piraato n’asumulula Balaba n’abamuwa. Naye bwe yamala okukuba Yesu embooko n’amuwaayo bamukomerere. 27 (BK)Naye abaserikale baasooka kumutwala mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo ne bakuŋŋaanira eyo, ne bayita bannaabwe bonna. 28 (BL)Awo ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza ekyambalo ekimyufu, 29 (BM)ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!” 30 (BN)Ne bamuwandira amalusu, ne bamusikako olumuli ne balumukubya ku mutwe. 31 (BO)Eby’okumuduulira bwe byaggwa, ne bamwambulamu ekyambalo ekimyufu, ne bamwambaza ekyambalo kye ekya bulijjo, ne balyoka bamufulumya okumutwala okumukomerera.

Okukomererwa kwa Yesu

32 (BP)Bwe baali nga bagenda gye banaamukomerera, ne basisinkana omusajja omukuleene, erinnya lye nga ye Simooni, ne bamulagira lwa maanyi yeetikke omusaalaba gwa Yesu. 33 (BQ)Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu nti, “Akasozi k’Ekiwanga,” 34 (BR)ne bawa Yesu wayini atabuddwamu omususa, naye bwe yakombako n’amugaana. 35 (BS)Bwe baamala okumukomerera, abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. 36 (BT)Bwe batyo ne batuula awo nga bamukuuma. 37 Ne bawanika ekipande waggulu w’omutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti,

“Ono ye Yesu, Kabaka w’Abayudaaya.”

38 (BU)Waaliwo n’abanyazi babiri abaakomererwa naye omu ku ddyo, n’omulala ku kkono. 39 (BV)Awo abantu abaali bayitawo, ne bamuvuma nga bamunyeenyeza emitwe 40 (BW)nga bwe bagamba nti, “Wagamba okumenya Yeekaalu, ate ogizimbe mu nnaku ssatu! Weerokole okke wansi okuva ku musaalaba, obanga ggwe Mwana wa Katonda.”

41 Bakabona abakulu n’abawandiisi, n’abakulembeze abalala ne bamuduulira, nga bagamba nti, 42 (BX)“Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bw’ali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza! 43 (BY)Yeesiga Katonda, kale amuggye ku musaalaba obanga Katonda amwagala. Yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ” 44 N’abanyazi ababiri abaakomererwa awamu naye nabo ne bamuvuma.

Okufa kwa Yesu

45 (BZ)Okuviira ddala ku ssaawa mukaaga mu ttuntu okutuusiza ddala essaawa mwenda ez’olweggulo ensi yonna yabikkibwa ekizikiza. 46 (CA)Ku ssaawa nga mwenda Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Eri, Eri lama sabakusaani,” ekitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”

47 Naye abamu ku baali bayimiridde awo bwe baakiwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”

48 (CB)Amangwago omu n’adduka n’addira ekyangwe n’akinnyika mu mwenge omukaatuufu n’akiteeka ku muti, n’akimuwa anuuneko. 49 Naye abalala ne bagamba nti, “Mumuleke. Ka tulabe obanga Eriya anajja n’amulokola.”

50 (CC)Awo Yesu ne yeeyongera okwogerera waggulu n’eddoboozi eddene, n’awaayo omwoyo gwe.

51 (CD)Era laba! Eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n’ekankana, n’enjazi ne zaatika. 52 Entaana ne zibikkuka era abantu ba Katonda bangi abaali bafudde ne bazuukira, 53 (CE)era Yesu bwe yamala okuzuukira ne bava mu ntaana gye baali baziikiddwa ne bayingira mu kibuga ekitukuvu ne balabibwa abantu bangi.

54 (CF)Omuserikale omukulu w’ekibinja ky’abaserikale ekikumi, n’abaserikale abaali bakuuma Yesu, bwe baalaba okukankana kw’ensi ng’okwa musisi, n’ebirala ebyabaawo, ne batya nnyo. Ne bagamba nti, “Ddala ddala ono abadde Mwana wa Katonda.”

55 (CG)Waaliwo n’abakazi bangi abaayitanga ne Yesu abaava naye e Ggaliraaya nga bamuweereza, baali beesuddeko akabanga, nga balaba ebigenda mu maaso. 56 (CH)Mu bo mmwe mwali Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina wa Yakobo ne Yusufu, ne nnyina w’abaana ba Zebbedaayo.

Okuziika Yesu

57 Obudde bwe bwawungeera, ne wajja omusajja omugagga ng’ava Alimasaya, erinnya lye Yusufu eyali omu ku bagoberezi ba Yesu. 58 N’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. Piraato n’alagira bagumuwe. 59 Yusufu n’atwala omulambo n’aguzinga mu lugoye olulungi olwa linena, 60 (CI)n’agugalamiza mu ntaana ye empya gye yatema mu lwazi, n’addira ejjinja eddene n’aliyiringisiza mu mulyango gw’entaana n’aggalawo, ne yeetambulira. 61 Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu munne, bombi baali batudde awo kumpi n’entaana.

Abakuumi ku Ntaana

62 Enkeera, ng’olunaku olusooka mu nnaku z’Embaga y’Okuyitako luweddeko, bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne bagenda eri Piraato, 63 (CJ)ne bamugamba nti, “Oweekitiibwa, omulimba oli tujjukira ng’akyali mulamu yagamba nti, ‘Nga wayiseewo ennaku ssatu ndizuukira.’ 64 Noolwekyo tukusaba olagire entaana ye ekuumibwe, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kumubbamu, ne balyoka bategeeza abantu nti azuukidde! Singa ekyo kiba bwe kityo, ekyo kye kijja okuba ekibi ennyo okusinga n’ekyasooka.”

65 (CK)Piraato n’abaddamu nti, “Mukozese abaserikale bammwe be mulina mugende mugikuume.” 66 (CL)Bwe batyo ne bateeka akabonero ak’envumbo ku jjinja eryaggala omulyango gw’entaana, ne bateekawo n’abakuumi.

Matayo 27:11-54

Yesu mu maaso ga Piraato

11 (A)Awo Yesu bwe yayimirira mu maaso ga gavana, Omuruumi, gavana n’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde.”

12 (B)Naye bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bwe baaleeta ensonga zaabwe ze baasinziirako okumuwawaabira, Yesu teyabaanukula. 13 (C)Piraato kwe ku mubuuza nti, “Ebyo byonna bye bakwogerako tobiwulira?” 14 (D)Naye Yesu n’ataddamu kigambo na kimu, era gavana ne kimwewuunyisa nnyo.

15 (E)Gavana yalina empisa ey’okusumulula omusibe omu mu kiseera eky’Embaga y’Okuyitako, ng’omusibe oyo abantu be baamweronderanga. 16 Mu kkomera mwalimu kkondo lukulwe ng’erinnya lye ye Balaba. 17 (F)Awo Piraato n’abuuza ekibiina ekyali kikuŋŋaanye nti, “Mwagala mbasumululire ani, Balaba oba Yesu, ayitibwa Kristo?” 18 Kubanga yamanya ng’abakulembeze b’Abayudaaya bamuwaddeyo lwa buggya.

19 (G)Piraato yali akyali wakati mu musango ogwo, mukazi we n’amutumira n’obubaka buno nti, “Toba na nsonga na musajja oyo omutuukirivu kubanga natawaanyizibbwa n’ekirooto eky’omuntu oyo.”

20 (H)Naye bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne basendasenda ebibiina basabeyo Balaba y’aba ateebwa, naye Yesu attibwe.

21 Gavana bwe yaddamu okubabuuza nti, “Ku bano bombi mbateereko aluwa?” Ekibiina kyonna ne kiddamu nti, “Balaba!”

22 (I)Piraato n’ababuuza nti, “Kale Yesu, ayitibwa Kristo, mukole ntya?” buli omu n’addamu nti, “Akomererwe!”

23 Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki, kiki ky’asobezza?” Naye bo ne beeyongera kuleekaanira waggulu nti, “Akomererwe!”

24 (J)Awo Piraato bwe yalaba ng’ensoga talina gy’aziraza, ate ng’ebibiina byagala kusasamala, n’atumya amazzi, n’anaaba engalo ze mu maaso g’ekibiina nga bw’agamba nti, “Nze siriiko musango gwonna olw’omusaayi gw’omuntu ono omulungi. Obuvunaanyizibwa bwonna buli ku mmwe!”

25 (K)Abantu bonna ne baanukula nti, “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe!”

26 (L)Awo Piraato n’asumulula Balaba n’abamuwa. Naye bwe yamala okukuba Yesu embooko n’amuwaayo bamukomerere. 27 (M)Naye abaserikale baasooka kumutwala mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo ne bakuŋŋaanira eyo, ne bayita bannaabwe bonna. 28 (N)Awo ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza ekyambalo ekimyufu, 29 (O)ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!” 30 (P)Ne bamuwandira amalusu, ne bamusikako olumuli ne balumukubya ku mutwe. 31 (Q)Eby’okumuduulira bwe byaggwa, ne bamwambulamu ekyambalo ekimyufu, ne bamwambaza ekyambalo kye ekya bulijjo, ne balyoka bamufulumya okumutwala okumukomerera.

Okukomererwa kwa Yesu

32 (R)Bwe baali nga bagenda gye banaamukomerera, ne basisinkana omusajja omukuleene, erinnya lye nga ye Simooni, ne bamulagira lwa maanyi yeetikke omusaalaba gwa Yesu. 33 (S)Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu nti, “Akasozi k’Ekiwanga,” 34 (T)ne bawa Yesu wayini atabuddwamu omususa, naye bwe yakombako n’amugaana. 35 (U)Bwe baamala okumukomerera, abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. 36 (V)Bwe batyo ne batuula awo nga bamukuuma. 37 Ne bawanika ekipande waggulu w’omutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti,

“Ono ye Yesu, Kabaka w’Abayudaaya.”

38 (W)Waaliwo n’abanyazi babiri abaakomererwa naye omu ku ddyo, n’omulala ku kkono. 39 (X)Awo abantu abaali bayitawo, ne bamuvuma nga bamunyeenyeza emitwe 40 (Y)nga bwe bagamba nti, “Wagamba okumenya Yeekaalu, ate ogizimbe mu nnaku ssatu! Weerokole okke wansi okuva ku musaalaba, obanga ggwe Mwana wa Katonda.”

41 Bakabona abakulu n’abawandiisi, n’abakulembeze abalala ne bamuduulira, nga bagamba nti, 42 (Z)“Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bw’ali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza! 43 (AA)Yeesiga Katonda, kale amuggye ku musaalaba obanga Katonda amwagala. Yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ” 44 N’abanyazi ababiri abaakomererwa awamu naye nabo ne bamuvuma.

Okufa kwa Yesu

45 (AB)Okuviira ddala ku ssaawa mukaaga mu ttuntu okutuusiza ddala essaawa mwenda ez’olweggulo ensi yonna yabikkibwa ekizikiza. 46 (AC)Ku ssaawa nga mwenda Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Eri, Eri lama sabakusaani,” ekitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”

47 Naye abamu ku baali bayimiridde awo bwe baakiwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”

48 (AD)Amangwago omu n’adduka n’addira ekyangwe n’akinnyika mu mwenge omukaatuufu n’akiteeka ku muti, n’akimuwa anuuneko. 49 Naye abalala ne bagamba nti, “Mumuleke. Ka tulabe obanga Eriya anajja n’amulokola.”

50 (AE)Awo Yesu ne yeeyongera okwogerera waggulu n’eddoboozi eddene, n’awaayo omwoyo gwe.

51 (AF)Era laba! Eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n’ekankana, n’enjazi ne zaatika. 52 Entaana ne zibikkuka era abantu ba Katonda bangi abaali bafudde ne bazuukira, 53 (AG)era Yesu bwe yamala okuzuukira ne bava mu ntaana gye baali baziikiddwa ne bayingira mu kibuga ekitukuvu ne balabibwa abantu bangi.

54 (AH)Omuserikale omukulu w’ekibinja ky’abaserikale ekikumi, n’abaserikale abaali bakuuma Yesu, bwe baalaba okukankana kw’ensi ng’okwa musisi, n’ebirala ebyabaawo, ne batya nnyo. Ne bagamba nti, “Ddala ddala ono abadde Mwana wa Katonda.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.