Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 16

Ya Dawudi.

16 (A)Onkuume, Ayi Katonda,
    kubanga ggwe buddukiro bwange.

(B)Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange,
    ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.”
(C)Abatukuvu abali mu nsi be njagala
    era mu bo mwe nsanyukira.
(D)Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala
    yeeyongera.
Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi,[a]
    wadde okusinza bakatonda baabwe.

(E)Mukama, ggwe mugabo gwange,
    era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange.
(F)Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa,
    ddala ddala omugabo omulungi.

(G)Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya
    ne mu kiro ayigiriza omutima gwange.
(H)Nkulembeza Mukama buli kiseera,
    era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
    siinyeenyezebwenga.

(I)Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza;
    era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
10 (J)Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe,
    wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda.
11 (K)Olindaga ekkubo ery’obulamu;
    w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu,
    era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.

Oluyimba 5:9-6:3

Abemikwano

(A)Owange, kiki muganzi wo ky’alina
    kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi?
Kiki muganzi wo kyasinza abalala
    n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?

Omwagalwa

10 (B)Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu,
    atabula ne mu bantu omutwalo.
11 Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo;
    n’enviiri ze zirimu amayengo,
    era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
12 (C)Amaaso ge gali ng’amayiba
    ku mabbali g’emigga egy’amazzi,
agaanaazibwa n’amata,
    ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.
13 (D)Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo,
    obuleeta akaloosa akalungi.
Emimwa gye giri ng’amalanga
    agakulukuta mooli.
14 (E)Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu
    egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo.
Omubiri gwe guli ng’amasanga
    amayooyote agatoneddwa ne safiro.
15 (F)Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira
    ezisimbibwa mu zaabu ennungi.
Mu ndabika afaanana Lebanooni
    omulungi ng’emivule gyayo.
16 (G)Enjogera ye mpomerevu,
    weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.
Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange;
    mmwe abawala ba Yerusaalemi.

Abemikwano

(H)Muganzi wo alaze wa,
    ggwe akira abakyala bonna obulungi?
Muganzi wo yakutte lya wa
    tumukunoonyezeeko?

Omwagalwa

(I)Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye,
    mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa,
okulabirira ennimiro ye
    n’okunoga amalanga.
(J)Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe;
    anoonyeza mu malanga.

1 Abakkolinso 15:1-11

Kristo Yazuukira

15 (A)Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu. (B)Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere. (C)Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olw’ebibi byaffe, ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, (D)era nti yaziikibwa, n’azuukizibwa ku lunaku olwokusatu ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, (E)era nti yalabibwa Keefa n’oluvannyuma ekkumi n’ababiri. Era yalabibwa abooluganda abasukka ebikumi ebitaano omulundi gumu era abamu ku abo bakyali balamu newaakubadde ng’abalala baafa. (F)Olwo n’alyoka alabikira Yakobo, n’oluvannyuma n’alabikira n’abatume bonna. (G)Oluvannyuma lwa bonna n’alyoka alabikira nange, ng’omwana azaalibbwa nga musowole.

(H)Kubanga nze nsembayo mu batume, Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya Ekkanisa ya Katonda. 10 (I)Naye olw’ekisa kya Katonda ndi nga bwe ndi kaakano, era ekisa Katonda kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Kubanga nakola nnyo okusinga abalala bonna, naye si nze nakola wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola. 11 Oba nze oba bo, be baakola ennyo ekyo si kikulu, ekikulu kye kino nti twababuulira Enjiri era nammwe ne mugikkiriza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.