Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
34 (A)Awo Peetero n’agamba nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu, 35 (B)wabula ayaniriza abantu bonna ab’omu mawanga gonna kasita baba nga bamutya era nga bakola by’asiima. 36 (C)Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ng’ababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna. 37 Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya mwonna okusookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw’okubatizibwa Yokaana kwe yabuulira. 38 (D)Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu n’amaanyi, eyatambula ng’agenda akola ebirungi, ng’awonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.
39 (E)“Ffe bajulirwa ab’ebyo byonna bye yakola mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi, gye yattirwa ku musaalaba. 40 (F)Oyo Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu era n’amulaga eri abantu. 41 (G)Teyalabibwa bantu bonna, wabula abajulirwa Katonda be yali amaze okulonda, be baffe abaalya naye, ne tunywa naye ng’amaze okuzuukira mu bafu. 42 (H)N’atutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu y’oyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi w’abantu bonna, abalamu n’abafu. 43 (I)Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”
31 (A)“Mu kiseera ekijja, ndiba Katonda w’ebika byonna ebya Isirayiri, era balibeera bantu bange,” bw’ayogera Mukama.
2 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Abantu abawona ekitala
baliraba ekisa mu ddungu.
Ndijja n’empa Isirayiri ekiwummulo.”
3 (C)Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti,
“Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo,
kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.
4 (D)Ndikuzimba nate, era olizimbibwa,
ggwe Omuwala Isirayiri.
Era oliddamu okuyonjebwa okwate ebitaasa byo
ofulume ozine n’abo abasanyuka.
5 (E)Oliddamu okusimba emizabbibu ku lusozi Samaliya,
abalimi baligisimba balye ebibala byakwo.
6 (F)Walibeerawo olunaku
abakuumi lwe balikoowoola ku busozi bwa Efulayimu nti,
‘Mujje, tugende ku Sayuuni,
eri Mukama Katonda waffe.’ ”
14 (A)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
afuuse obulokozi bwange.
15 (B)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
“Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (C)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (D)Mukama ambonerezza nnyo,
naye tandese kufa.
19 (E)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
nnyingire, neebaze Mukama.
20 (F)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (G)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
n’ofuuka obulokozi bwange.
22 (H)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
tusanyuke tulujagulizeeko.
Ebiragiro ku Butukuvu
3 Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 2 (A)Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, 3 (B)kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. 4 (C)Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.
34 (A)Awo Peetero n’agamba nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu, 35 (B)wabula ayaniriza abantu bonna ab’omu mawanga gonna kasita baba nga bamutya era nga bakola by’asiima. 36 (C)Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ng’ababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna. 37 Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya mwonna okusookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw’okubatizibwa Yokaana kwe yabuulira. 38 (D)Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu n’amaanyi, eyatambula ng’agenda akola ebirungi, ng’awonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.
39 (E)“Ffe bajulirwa ab’ebyo byonna bye yakola mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi, gye yattirwa ku musaalaba. 40 (F)Oyo Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu era n’amulaga eri abantu. 41 (G)Teyalabibwa bantu bonna, wabula abajulirwa Katonda be yali amaze okulonda, be baffe abaalya naye, ne tunywa naye ng’amaze okuzuukira mu bafu. 42 (H)N’atutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu y’oyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi w’abantu bonna, abalamu n’abafu. 43 (I)Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”
Okuzuukira kwa Yesu
20 (A)Mu makya g’olunaku olusooka mu wiiki, Maliyamu Magudaleene n’ajja ku ntaana, ng’obudde tebunnalaba bulungi, n’alaba ejjinja nga liggiddwa ku ntaana. 2 (B)N’adduka n’agenda eri Simooni Peetero n’eri omuyigirizwa omulala Yesu gwe yayagalanga ennyo n’abagamba nti, “Mukama waffe bamuggyeemu mu ntaana, era simanyi gye bamutadde!”
3 (C)Awo Peetero n’omuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana. 4 Bombi ne bagenda nga badduka, omuyigirizwa oli omulala n’ayisa Peetero n’amusooka ku ntaana. 5 (D)N’akutama n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo, kyokka n’atayingira mu ntaana. 6 Awo ne Simooni Peetero n’atuuka, n’ayingira mu ntaana, n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo. 7 (E)N’alaba n’ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa era nga kiteekebbwa ku bbali. 8 (F)N’omuyigirizwa oli omulala, eyasooka okutuuka ku ntaana n’ayingira. N’alaba era n’akkiriza. 9 (G)Kubanga okutuusiza ddala mu kiseera ekyo baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Kimugwanira okuzuukira mu bafu. 10 Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.
Yesu Alabikira Maliyamu Magudaleene
11 (H)Maliyamu Magudaleene yali ayimiridde wabweru w’entaana ng’akaaba. N’akutama. N’alingiza mu ntaana nga bw’akaaba, 12 (I)n’alaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye enjeru nga batudde; omu emitwetwe n’omulala emirannamiro w’ekifo omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa.
13 (J)Bamalayika ne bamubuuza nti, “Omukyala, okaabira ki?”
N’abaddamu nti, “Kubanga baggyeemu Mukama wange, era simanyi gye bamutadde!” 14 (K)Bwe yamala okwogera ebyo, n’akyuka n’alaba Yesu ng’ayimiridde, kyokka n’atamanya nti ye Yesu.
15 (L)Yesu n’amubuuza nti, “Omukyala okaabira ki? Onoonya ani?”
Maliyamu n’alowooza nti, Ye nannyini nnimiro n’amugamba nti, “Ssebo, obanga gw’omuggyeemu, mbuulira gy’omutadde ŋŋende mmuggyeyo.”
16 (M)Yesu n’amugamba nti, “Maliyamu!”
Maliyamu n’akyukira Yesu n’amugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni,” ekitegeeza nti, “Omuyigiriza.”
17 (N)Yesu n’amugamba nti, “Tonkwatako kubanga sinnagenda eri Kitange. Naye genda eri baganda bange obagambe nti, ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, Katonda wange era Katonda wammwe.”
18 (O)Maliyamu Magudaleene n’agenda n’abuulira abayigirizwa nga bw’alabye Mukama waffe, era n’abategeeza by’amugambye.
Yesu Azuukira
28 (A)Oluvannyuma lwa Ssabbiiti ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, ng’obudde bukya, Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu oli omulala ne balaga ku ntaana.
2 (B)Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ng’okwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu n’ayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gw’entaana, n’alituulako. 3 (C)Amaaso ge gaali gamasamasa ng’okumyansa kw’eraddu, n’ekyambalo kye nga kyeru ekitukula be tukutuku. 4 Abakuumi bwe baamulaba, ne bakankana nga batidde nnyo ne bagwa wansi ne baba ng’abafudde.
5 (D)Awo malayika n’agamba abakazi nti, “Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa, 6 (E)wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa. 7 (F)Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”
8 Abakazi abo ne badduka embiro nnyingi nga bava ku ntaana kyokka nga batidde nnyo, naye ate nga bajjudde essanyu. Ne bayanguwa mangu okugenda okubuulira abayigirizwa be. 9 (G)Bwe baali bagenda, amangwago Yesu n’ayimirira mu maaso gaabwe! N’abalamusa nti, “Mirembe?” Ne bagwa wansi ne bavuunama mu maaso ge, ne bamukwata ku bigere ne bamusinza. 10 (H)Awo Yesu n’abagamba nti, “Temutya, mugende mugambe abooluganda bagende mangu e Ggaliraaya, gye balindabira.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.