Add parallel Print Page Options

53 (A)Ani akkiriza ebigambo byaffe,
    era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
(B)Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu
    era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu.
Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali;
    tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.
(C)Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike.
    Tetwayagala na kumutunulako,
ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo,
    bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.

(D)Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe,
    obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.
Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe
    kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
(E)Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe.
    Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe.
Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe.
    Ebiwundu bye, bye bituwonya.
Ffenna twawaba ng’endiga;
    buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye;
Mukama n’amuteekako
    obutali butuukirivu bwaffe ffenna.

(F)Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa
    naye talina kye yanyega,
yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa,
    era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika,
    bw’atyo bwe yasirika.
(G)Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa.
    Ani amanyi ku bye zadde lye?
Yaggyibwa mu nsi y’abalamu,
    ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.
(H)Ne bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi,
    n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe,
newaakubadde nga teyazza musango
    wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.

10 (I)Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta,
    era n’okumuleetera okubonaabona.
Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde,
    era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
11 (J)Oluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe,
    bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera.
Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu;
    era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12 (K)Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi,
    era aligabira bangi omunyago
kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa,
    n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi.
Era yeetikka ebibi by’abangi
    era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.

26 (A)N’oluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu ab’omufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga n’awatukuvu, n’enkomerero ye erijja ng’amataba, n’entalo era n’okuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero.

Read full chapter

12 (A)Yesu n’abagamba nti, “Weewaawo Eriya y’ateekwa okusooka okujja alongoose ebintu byonna. Lwaki kyawandiikibwa ku Mwana w’Omuntu nti ateekwa okubonaabona ennyo n’okunyoomebwa?

Read full chapter

25 Yesu n’abagamba nti, “Nga muli bantu basirusiru! Mmwe ab’emitima eminafu egirwawo okukkiriza bannabbi bye baategeeza! 26 (A)Tekyagwanira Kristo okubonaabona mu bintu byonna n’oluvannyuma alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” 27 (B)N’atandikira ku Musa n’ayitaayita mu bannabbi bonna ng’agenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.

Read full chapter

46 N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa dda nnyo nti Kristo kimugwanira okubonaabona, n’okufa era ku lunaku olwokusatu azuukire mu bafu.

Read full chapter

(A)Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu.

Read full chapter

(A)N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.”

Read full chapter

22 (A)Katonda kyavudde ankuuma okutuusa leero ndyoke nyimirire nga ndi mujulirwa eri ab’ekitiibwa era n’aba bulijjo, nga sirina kirala kye njogera, wabula ebyo bannabbi ne Musa bye baategeeza nga bigenda okujja

Read full chapter

23 (A)nti Kristo kimugwanira okubonaabona, era abeere omubereberye mu kuzuukira kw’abafu, alyoke aleetere abantu bano n’Abamawanga omusana.”

Read full chapter