Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Amazzi Agaava mu Lwazi
17 (A)Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa. 2 (B)Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?”
3 (C)Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?”
4 (D)Musa n’akaabira Mukama nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.”
5 (E)Mukama n’addamu Musa nti, “Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; n’omuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ng’ogukutte mu mukono gwo, mutambule. 6 (F)Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba. 7 (G)Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?”
95 (A)Mujje tuyimbire Mukama;
tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
2 (B)Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
3 (C)Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
4 Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
n’entikko z’ensozi nazo zize.
5 (D)Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;
n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.
6 (E)Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
7 (F)Kubanga ye Katonda waffe,
naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
era tuli ndiga ze z’alabirira.
Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
8 (G)“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba[a],
ne ku lunaku luli e Maasa[b] mu ddungu;
9 (H)bajjajjammwe gye bangezesa;
newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 (I)Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
era tebamanyi makubo gange.’
11 (J)Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
Emirembe n’essanyu
5 (A)Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo, 2 (B)era olw’okukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera, era mwe twenyumiririza, nga tusuubira ekitiibwa kya Katonda. 3 (C)Tetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ng’okubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza. 4 Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, n’embala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi. 5 (D)Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.
6 (E)Bwe twali tukyali banafu wakati mu bibi, Kristo yatufiirira ffe aboonoonyi. 7 Kizibu okufiirira omuntu omutuukirivu. Oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufa ku lw’omuntu omulungi. 8 (F)Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiirira.
9 (G)Kale obanga twaweebwa obutuukirivu olw’omusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda. 10 (H)Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kw’Omwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olw’obulamu bwe? 11 So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.
5 (A)Awo n’atuuka mu kibuga ky’e Samaliya ekiyitibwa Sukali, nga kiri kumpi n’ekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu. 6 Awo we waali oluzzi lwa Yakobo. Yesu yali akooye olw’olugendo lwe yatambula, n’atuula awo ku luzzi. Obudde bwali ng’essaawa mukaaga ez’omu ttuntu.
7 Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.” 8 (B)Mu kiseera ekyo abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugulayo ku mmere. 9 (C)Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya. 10 (D)Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”
11 Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, n’oluzzi luwanvu nnyo. 12 (E)Ate n’ekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”
13 Yesu n’amuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma. 14 (F)Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”
15 (G)Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”
16 Yesu n’amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.”
17 Omukazi n’amuddamu nti, “Sirina baze!”
Yesu n’amugamba nti, “Oyogedde kituufu nti tolina balo. 18 Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gw’olina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”
19 (H)Omukazi n’agamba Yesu nti, “Ssebo, ndaba ng’oli nnabbi. 20 (I)Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”
21 (J)Yesu n’amugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi. 22 (K)Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 23 (L)Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima. 24 (M)Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.” 25 (N)Omukazi n’amugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bw’alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” 26 (O)Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”
27 (P)Awo mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okulaba ng’ayogera n’omukazi. Kyokka ne watabaawo amubuuza nsonga emwogezezza naye wadde bye babadde boogerako. 28 Awo omukazi n’aleka awo ensuwa ye n’agenda mu kibuga n’ategeeza abantu nti, 29 (Q)“Mujje mulabe omuntu antegeezezza buli kye nnali nkoze. Ayinza okuba nga ye Kristo?” 30 Ne bava mu kibuga ne bajja eri Yesu.
31 (R)Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali beegayirira Yesu alye ku mmere, nga bagamba nti, “Labbi lya ku mmere.” 32 (S)N’abaddamu nti, “Nze nnina ekyokulya mmwe kye mutamanyi.”
33 Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti, “Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya?” 34 (T)Yesu n’abaddamu nti, “Ekyokulya kyange kwe kukola eyantuma by’ayagala, era n’okutuukiriza omulimu gwe. 35 (U)Mmwe temugamba nti, ‘Ekyasigaddeyo emyezi ena amakungula gatuuke?’ Kale muyimuse amaaso gammwe, mutunuulire ennimiro! Amakungula gatuuse. 36 (V)Akungula asasulwa empeera ye era n’akuŋŋaanyiza ebibala mu bulamu obutaggwaawo, olwo asiga n’akungula balyoke basanyukire wamu. 37 (W)Bwe kityo ekigambo nti, ‘Omu asiga omulala n’akungula,’ kyekiva kiba eky’amazima. 38 Mbatumye mmwe okukungula kye mutaasiga. Abalala be baasiga naye mmwe mugobolodde.”
Abasamaliya bangi bakkiriza
39 (X)Abasamaliya bangi ab’omu kibuga abaamukkiririzaamu olw’ebyo omukazi bye yabategeeza, ng’abagamba nti, “Antegeezezza buli kye nnali nkoze!” 40 Awo Abasamaliya bwe bajja eri Yesu ne bamwegayirira yeeyongere okubeera nabo, n’abeera nabo ennaku bbiri. 41 Bangi ne bakkiriza olw’ebyo bye yabategeeza. 42 (Y)Awo ne bagamba omukazi nti, “Tumukkiriza si lwa bigambo byo byokka, naye naffe twewuliridde ebigambo bye. Ddala tutegedde nga ye Mulokozi w’ensi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.