Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 146

146 (A)Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

(B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
    nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
(C)Teweesiganga bafuzi,
    wadde abantu obuntu omutali buyambi.
(D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
    ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
(E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
    ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
(F)eyakola eggulu n’ensi
    n’ennyanja ne byonna ebirimu,
    era omwesigwa emirembe gyonna.
(G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
    n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
    (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
    Mukama ayagala abatuukirivu.
(I)Mukama alabirira bannamawanga,
    era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
    naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
    Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!

Isaaya 59:9-19

(A)Amazima gatuli wala,
    n’obutuukirivu tetubufunye.
Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko,
    we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10 (B)Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe,
    ne tukwatakwata ng’abatalina maaso;
twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi
    ne tuba ng’abafu.
11 (C)Ffenna tuwuluguma ng’eddubu
    ne tusinda nga bukaamukuukulu.
Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere,
    n’obulokozi butuliwala.
12 (D)Kubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go
    era ebibi byaffe bitulumiriza,
kubanga ebisobyo byaffe biri naffe,
    era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe;
13 (E)obujeemu n’enkwe eri Mukama
    era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe.
Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza,
    okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.
14 (F)Obwenkanya buddiridde
    n’obutuukirivu ne bubeera wala.
Amazima geesitalidde mu luguudo, n’obwesimbu tebuyinza kuyingira.
15 Tewali w’oyinza kusanga mazima,
    era oyo ava ku kibi asuulibwa.

Mukama yakiraba n’atasanyuka
    kubanga tewaali bwenkanya.
16 (G)N’alaba nga tewali muntu,
    ne yennyamira nti tewali muntu ayinza kudduukirira.
Noolwekyo kwe kusalawo okukozesa omukono gwe ye kennyini
    okuleeta obulokozi n’obutuukirivu bwe okuwangula.
17 (H)Yayambala obutuukirivu bwe ng’eky’omu kifuba,
    era n’enkuufiira ey’obulokozi ku mutwe gwe;
n’ateekako ebyambalo by’okuwoolera eggwanga
    era n’ayambala obunyiikivu ng’omunagiro.
18 Ng’ebikolwa byabwe bwe biri
    bwalisasula ekiruyi ku balabe be,
n’abamukyawa
    alibawa empeera yaabwe,
    n’abo abali ewala mu bizinga abasasule.
19 (I)Noolwekyo balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba,
    n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba,
kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi,
    omukka gwa Mukama gwe gutwala.

Ebikolwa by’Abatume 9:1-20

Okukyuka kwa Sawulo

(A)Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ng’ayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ng’abatiisatiisa okwagala okubatta, n’atuukirira Kabona Asinga Obukulu, (B)n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi. (C)Awo Sawulo bwe yali atambula ng’anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola. N’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”

Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?”

Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya! (D)Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa ky’osaanidde okukola.”

(E)Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera. Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko. N’amalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.

10 (F)Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”

N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”

11 (G)Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga 12 (H)mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”

13 (I)Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. 14 (J)Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”

15 (K)Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” 16 (L)Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.

17 (M)Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” 18 Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. 19 (N)N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.

20 (O)Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.