Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.
81 (A)Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;
muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!
2 (B)Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa
n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.
3 Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,
era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.
4 Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,
lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.
5 (C)Yaliteekera Yusufu,
Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;
gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.
6 (D)“Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;
n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.
7 (E)Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,
nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;
ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.
8 (F)Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.
Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!
9 (G)Temubeeranga na katonda mulala,
wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.
10 (H)Nze Mukama Katonda wo,
eyakuggya mu nsi y’e Misiri.
Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.
11 (I)“Naye abantu bange tebampuliriza;
Isirayiri teyaŋŋondera.
12 (J)Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,
okugoberera ebyo bye baagala.
13 (K)“Singa abantu bange bampuliriza;
singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,
14 (L)mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,
ne mbawangula.
15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;
ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.
16 (M)Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,
ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”
Olugendo lwa Yakobo
29 (A)Awo Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n’atuuka mu nsi y’abantu b’ebuvanjuba. 2 Bwe yatunula n’alaba oluzzi mu nnimiro, ng’ebisibo bisatu eby’endiga zigalamidde awo ku lwo, kubanga awo we zaanywesezebwanga. Ejjinja eryasaanikiranga ku mumwa gw’oluzzi olwo lyali ddene, 3 era ebisibo bwe byakuŋŋaananga, abasumba ne balyoka baliyiringisa okuliggya ku mumwa gw’oluzzi ne banywesa endiga; bwe zaamalanga ne balizzaako.
4 (B)Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.”
5 Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.”
6 N’abuuza nti, “Ali bulungi?” Ne baddamu nti, “Ali bulungi, era laba Laakeeri muwala we wuuli ajja n’endiga!”
7 N’abagamba nti, “Mulabe, obudde bukyali bwa ttuntu, ekiseera tekinnatuuka okukuŋŋaanya ensolo awamu, muzinywese mulyoke mugende muzirunde.”
8 Bo kwe kumuddamu nti, “Ekyo tetusobola kukikola ng’ebisibo byonna tebinnakuŋŋaanyizibwa, nga n’ejjinja terinaggyibwa ku mumwa gw’oluzzi, olwo ne tunywesa endiga.”
Yakobo Asisinkana Laakeeri
9 (C)Yakobo bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n’atuuka n’endiga za kitaawe. Kubanga ye yali azirunda. 10 (D)Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n’endiga za Labbaani, n’agenda n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi n’anywesa endiga za Labbaani. 11 (E)Yakobo n’alyoka agwa Laakeeri mu kifuba, n’ayimusa eddoboozi n’akaaba. 12 (F)Yakobo n’alyoka ategeeza Laakeeri nti, waluganda ne kitaawe, era ye mutabani wa Lebbeeka. Laakeeri kwe kudduka n’ategeeza kitaawe.
13 (G)Awo Labbaani bwe yawulira ebya Yakobo, mutabani wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amulamusa bulungi, n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’ategeeza Labbaani byonna ebyaliwo. 14 (H)Labbaani n’agamba nti, “Mazima oli ggumba lyange, era nnyama ya mubiri gwange! N’abeera naye omwezi mulamba.”
Okulabula ku Bakatonda Abalala
10 (A)Abooluganda, musaana mutegeere nga bajjajjaffe bonna baakulemberwa ekire, era bonna ne bayita mu nnyanja, 2 bwe batyo bonna ne bakulemberwa Musa ne babatizibwa mu kire ne mu nnyanja. 3 Bonna baalyanga emmere y’emu ey’omwoyo, 4 (B)era bonna baanywanga ekyokunywa kye kimu eky’omwoyo, kubanga bonna baanywanga mu lwazi olw’omwoyo olwabagobereranga era olwazi olwo yali Kristo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.