Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi.
32 (A)Alina omukisa oyo
asonyiyiddwa ebyonoono bye
ekibi ne kiggyibwawo.
2 (B)Alina omukisa omuntu oyo
Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
3 (C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
ne nkogga,
kubanga nasindanga olunaku lwonna.
4 (D)Wambonerezanga
emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5 (E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
“Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
6 (F)Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
7 (G)Oli kifo kyange mwe nneekweka,
ononkuumanga ne situukwako kabi
era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.
8 (H)Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
9 (I)Temubeeranga ng’embalaasi
oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 (J)Ababi balaba ennaku nnyingi;
naye abeesiga Mukama bakuumirwa
mu kwagala kwe okutaggwaawo.
11 (K)Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.
Ebipande eby’Amayinja Ebyokubiri
34 (A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Teekateeka ebipande bibiri eby’amayinja nga biri ebyasooka, nange nnaabiwandiikako ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka bye wamenya. 2 (B)Weetegeke mu makya, ojje mu makya ago olinnye waggulu ku lusozi Sinaayi, olyoke onneeyanjulire eyo ku ntikko y’olusozi. 3 (C)Tewasaana kubaawo muntu ajja naawe, era ku lusozi wonna wonna tewasaana kulabikawo muntu n’omu; era n’amagana n’ebisibo by’endiga tebisaana kuliira mu maaso ga lusozi.”
4 Bw’atyo Musa n’atema mu mayinja ebipande bibiri nga bifaanana nga biri ebyasooka; n’akeera mu makya n’alinnya ku lusozi Sinaayi, nga Mukama bwe yamulagira, ng’asitudde n’ebipande eby’amayinja byombi mu mikono gye. 5 (D)Awo Mukama n’akkira mu kire, n’ayimirira awo ne Musa, n’alangirira erinnya lye, MUKAMA. 6 (E)Mukama n’ayita mu maaso ga Musa n’agamba nti, “Nze Mukama, Mukama Katonda alina ekisa n’okusaasira okungi, atasunguwala mangu, ajjudde obwesigwa n’okwagala okutaggwaawo. 7 (F)Akuuma okwagala eri enkumi n’enkumi asonyiwa ebisobyo byabwe, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe. Talema kubonereza oyo asingiddwa omusango. Abonereza abaana n’abazzukulu olw’ebisobyo bya bakadde baabwe n’ebya bajjajjaabwe, okutuukira ddala ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.”
8 Amangwago Musa n’avuunama wansi, n’asinza. 9 (G)N’agamba nti, “Obanga kaakano nkusanyusizza, Ayi Mukama, jjangu, Mukama, ogende naffe. Newaakubadde ng’abantu bano balina ensingo nkakanyavu, naye tusonyiwe ebyonoono byaffe n’ebibi byaffe, otukkirize tubeere abantu bo ab’obusika bwo.”
27 (A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Wandiika ebigambo ebyo; kubanga nkoze endagaano naawe era ne Isirayiri ng’ebigambo ebyo bwe bigamba.” 28 (B)Musa n’abeera eyo ne Mukama, n’amalayo emisana amakumi ana n’ebiro amakumi ana, nga talya mmere wadde okunywa amazzi. N’awandiika ku bipande ebigambo eby’Endagaano, ge Mateeka Ekkumi.
Olugero lw’Endiga Eyabula
10 (A)“Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 11 Kubanga Omwana w’Omuntu yajja okulokola ekyabula[a].
12 “Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze? 13 Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. 14 Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ng’omu ku bato bano ng’azikirira.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.