Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
64 (A)Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange;
okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.
2 (B)Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi,
onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana
3 (C)abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala,
ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.
4 (D)Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase;
amangwago ne bamulasa nga tebatya.
5 (E)Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi
ne bateesa okutega emitego mu kyama;
ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
6 Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti,
“Tukoze enteekateeka empitirivu.”
Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.
7 Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe;
alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
8 (F)Ebyo bye boogera biribaddira,
ne bibazikiriza,
ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.
9 (G)Olwo abantu bonna ne batya,
ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda,
ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.
10 (H)Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama,
era yeekwekenga mu ye.
Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!
Okukungubagira Falaawo
32 (A)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (B)“Omwana w’omuntu, tandika okukungubagira Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, omutegeeze nti:
“ ‘Oli ng’empologoma mu mawanga,
ng’ogusota wakati mu nnyanja,
ng’owaguza mu migga gyo,
era ng’otabangula amazzi,
n’osiikuula n’emigga.
3 (C)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ndikusuulako akatimba kange,
ne nkusindikira ekibiina ky’abantu ekinene,
era balikuvuba n’akatimba kange.
4 (D)Ndikusuula ku lukalu, ne nkuleka ku ttale,
era ebinyonyi byonna eby’omu bbanga birikukkako,
n’ensolo enkambwe zonna ez’omu nsi zirikulya
ne zikkusibwa.
5 (E)Ndisaasaanya ennyama ey’omubiri gwo ku nsozi,
era ndijjuza ebiwonvu amagumba go.
6 (F)Nditotobaza ensi n’omusaayi gwo
okutuukira ddala ku nsozi,
era ndijjuza zonna ennyama ey’omubiri gwo.
7 (G)Bwe ndikusaanyaawo,
ndibikka eggulu
ne nfuula emmunyeenye zaakwo
okubaako ekizikiza;
8 Ndibikka omusana n’ekire, era n’omwezi tegulireeta kitangaala kyagwo.
Ebitangaala byonna eby’omu ggulu, ndibifuula enzikiza;
era n’ensi yo yonna ndigireetako enzikiza, bw’ayogera Mukama Katonda.
9 Ndyeraliikiriza emitima gy’amawanga amangi,
bwe ndikuzikiriza mu mawanga,
ne mu nsi z’otomanyangako.
10 (H)Amawanga mangi galijjula entiisa
era bakabaka baabwe balisasamala,
ng’obagalulira ekitala mu maaso gaabwe.
Ku lunaku olw’okugwa kwo,
buli omu ku bo alikankana,
era buli muntu aligezaako okuwonya obulamu bwe.
Yesu Awonya Omwana Eyaliko Dayimooni
37 Awo enkeera bwe baakomawo nga bava ku lusozi, ekibiina ekinene ne kijja okusisinkana Yesu. 38 Omusajja eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu ng’agamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina. 39 Kubanga ddayimooni buli bbanga amukwata n’amuwowogganya, era n’amukankanya n’abimba ejjovu n’amusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi. 40 Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.”
41 (A)Awo Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.”
42 Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni n’amusuula wansi n’amukankanya nnyo. Yesu n’aboggolera omwoyo omubi n’awonya omwana, n’amuddiza kitaawe. 43 Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya eby’ekitalo ebyo Yesu bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti,
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.