Revised Common Lectionary (Complementary)
Omusango n’Obulokozi
65 (A)Mukama n’alyoka agamba nti,
“Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya.
Neeraga abo abaali tebannoonya.
Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’
2 (B)Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba
eri abantu abeewagguzze,
abatambulira mu makubo amabi
abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;
3 (C)abantu bulijjo
abansomooza mu maaso gange gennyini
nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro
ne bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali;
4 (D)abatuula mu malaalo
ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu,
abalya ennyama y’embizzi,
era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.
5 (E)Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange,
kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’
Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange,
omuliro ogwaka olunaku lwonna.
6 (F)“Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange.
Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu,
nzija kubasasula bibatuukireko ddala;
7 (G)olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi
era ne bannyoomera ku busozi,
ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu
ey’ebikolwa byabwe eby’edda.”
8 Bw’atyo bw’ayogera Mukama:
“Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibu
abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona,
gukyalimu akalungi,’
bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange.
Sijja kubasaanyaawo bonna.
9 (H)Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo
era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange;
abantu bange abalonde balizigabana,
era eyo abaweereza bange gye balibeera.
19 (A)Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.
Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20 (B)Omponye okuttibwa n’ekitala;
obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
21 Nzigya mu kamwa k’empologoma,
omponye amayembe g’embogo enkambwe.
22 (C)Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;
nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
23 (D)Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24 (E)Kubanga tanyooma kwaziirana
kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
wabula abaanukula bwe bamukoowoola.
23 (A)Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olw’okukkiriza okugenda okubikkulwa; 24 (B)ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza. 25 Naye okukkiriza bwe kwajja, ng’olwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.
Baana ba Katonda
26 (C)Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo, 27 (D)kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo. 28 (E)Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29 Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ng’ekisuubizo ky’abasika bwe kiri.
Yesu Awonya Omusajja Eyaliko Baddayimooni
26 Awo ne bagoba emitala w’eri mu nsi y’Abageresene eyolekedde Ggaliraaya. 27 Awo Yesu bwe yava mu lyato omusajja eyaliko baddayimooni n’ajja okumusisinkana ng’ava mu kibuga. Omusajja oyo yali amaze ebbanga ddene nga tayambala ngoye, nga tasula na mu nju, wabula ng’asula mu ntaana. 28 (A)Awo bwe yalaba Yesu n’awowoggana n’agwa wansi mu maaso ga Yesu, n’aleekaana nti, “Onjagaza ki, Yesu, Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayiridde tombonyaabonya!”
29 Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku musajja oyo. Emirundi mingi yalumbibwanga n’amaanyi mangi, ne bwe baamusibanga n’enjegere, n’akuumibwa mu masamba, yabikutulanga, ddayimooni n’amulaza mu ddungu.
30 Awo Yesu n’abuuza omusajja nti, “Erinnya lyo ggwe ani?”
Omusajja n’addamu nti, “Nze Ligyoni,” kubanga omusajja yaliko baddayimooni bangi. 31 (B)Baddayimooni ne beegayirira Yesu aleme okubagobera mu bunnya obutakoma.
32 Waaliwo eggana ly’embizzi, awo ku lusozi, nga lirya, baddayimooni ne beegayirira Yesu abasindike mu mbizzi ezo. Yesu n’abakkiriza. 33 (C)Baddayimooni ne bava ku musajja ne bayingira mu mbizzi, amangwago eggana lyonna ne lifubutuka nga liserengeta olusozi, ne lyewanula ku bbangabanga, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo. 34 Abalunzi b’embizzi ezo bwe baakiraba, ne badduka embiro ne bagenda, ne bategeeza ab’omu malundiro ne mu kibuga, ebintu byonna ebibaddewo. 35 (D)Ekibiina ky’abantu ne bagenda okulaba ebibaddewo ne bajja eri Yesu, ne balaba omusajja eyagobwako baddayimooni ng’atudde awo awali ebigere bya Yesu ng’ayambadde engoye era nga mulamu ddala! Ne batya nnyo. 36 (E)Abo abaaliwo okusookera ddala ne bategeeza abalala ng’omusajja eyaliko ddayimooni bwe yawonyezebwa. 37 (F)Awo abantu bonna ab’ensi eyo ey’Abagerasene ne basaba Yesu abaviire, kubanga baali batidde nnyo. N’asaabala mu lyato n’avaayo.
38 Omusajja, eyagobwako baddayimooni n’amusaba agende naye, naye Yesu n’agaana. 39 N’agamba omusajja nti, “Ddayo ewammwe obategeeze Katonda by’akukoledde.” Omusajja n’agenda ng’ategeeza buli gwe yasanganga mu kibuga, Yesu bye yali amukoledde.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.