M’Cheyne Bible Reading Plan
Manase Kabaka wa Yuda
21 (A)Manase yatandika okufuga ng’alina emyaka kkumi n’ebiri, era n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Kefuziba. 2 (B)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu makubo amabi ag’amawanga Mukama ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri. 3 (C)Yaddamu n’azimba ebifo ebigulumivu eby’okusamira, Keezeekiya kitaawe bye yali amenye: era yazimba n’ebyoto ebya Baali, n’asimba n’empagi kya Asera, nga Akabu kabaka wa Isirayiri bwe yakola, n’okusinza n’asinza eggye ery’omu ggulu. 4 (D)Yazimba n’ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yali ayogeddeko nti, “Mu Yerusaalemi mwe mulibeera Erinnya lyange.” 5 (E)Era yazimbira eggye lyonna ery’omu ggulu ebyoto mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. 6 (F)N’awaayo mutabani we okuba ekyokebwa, ng’akola eby’obufumu n’eby’obulogo, ate ng’alagulwa n’abaliko emizimu, n’abalogo. N’akola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era n’amusunguwaza.
7 (G)Yaddira ekifaananyi ekyole ekya Asera n’akiteeka mu yeekaalu, Mukama gye yali ayogeddeko ng’agamba Dawudi ne mutabani we Sulemaani nti, “Mu Yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi, bye nneeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga erinnya lyange emirembe gyonna. 8 (H)Siriddayo nate kujja bigere eby’Abayisirayiri mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe baneekuumanga okukola bye nabalagira byonna wamu n’amateeka omuddu wange Musa ge yabawa.” 9 (I)Naye abantu tebaawuliriza, era Manase n’abasendasenda okukola ebibi okusinga n’ebyo amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri bye gaakola.
10 Awo Mukama n’ayogerera mu baddu be bannabbi 11 (J)nti, “Olw’emizizo gino Manase kabaka wa Yuda gy’akoze, ng’ayonoona okusinga Abamoli abaamusooka bye baakola, n’ayonoonyesa Yuda n’ebifaananyi bye, 12 (K)bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ndireeta ku Yerusaalemi ne ku Yuda obubi obusingirayo ddala, era na buli muntu alikiwulira, alisasamala. 13 (L)Ndigolola omuguwa ogwakozesebwa ku Samaliya n’ejjinja erigera eryakozesebwa ku nnyumba ya Akabu eri Yerusaalemi, era ne mmalirawo ddala Yerusaalemi ng’omuntu bw’akomba esowaani okumalirako ddala emmere, n’okugifuula n’agifuula. 14 (M)Era ndyabulira ekitundu ekyafikkawo eky’obusika bwange, ne nkigabula mu mukono gw’abalabe baabwe, ne bababbako buli kantu, 15 (N)kubanga baakola ebibi mu maaso gange, ne bansunguwaza nnyo okuviira ddala ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviirako mu Misiri n’okutuusa ku lunaku lwa leero.’ ”
16 (O)Ate, era Manase yayiwa omusaayi mungi gw’abo abataaliko musango, n’agujjuza Yerusaalemi, obutasaako ebibi ebirala bye yayonoonyesa Yuda, ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama. 17 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ne byonna bye yakola, okwo nga kwe kuli n’ebibi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 18 (P)Awo Manase n’afa, n’aziikibwa mu nnimiro ey’olubiri lwe, ye nnimiro ya Uzza, ne mutabani we Amoni n’amusikira okuba kabaka.
Amoni Kabaka wa Yuda
19 Amoni lwe yatandika okufuga, yali awezezza emyaka amakumi abiri mu ebiri, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri. Nnyina ye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow’e Yotuba. 20 (Q)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola. 21 N’atambulira mu ngeri za kitaawe, n’asinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga. 22 (R)Yava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, n’atatambulira mu kkubo lya Mukama.
23 (S)Awo abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe. 24 (T)Awo olwatuuka, abantu mu nsi ne beekobaana, ne batta abo bonna abaali mu lukwe olw’okumutta, era ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka.
25 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amoni, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 26 (U)Kabaka n’aziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Uzza, mutabani we Yosiya n’amusikira okuba kabaka.
Yesu Mukulu okusinga Musa
3 (A)Kale abooluganda abatukuvu, Katonda b’ayise, mulowoozenga ku Yesu, Omutume Omukulu era Kabona Asinga Obukulu, gwe twatula. 2 (B)Yali mwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna. 3 Kubanga ng’omuzimbi bw’aweebwa ekitiibwa okusinga ennyumba gy’azimbye, bw’atyo Yesu wa kitiibwa okusinga Musa. 4 Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba, naye Katonda ye y’azimba buli kintu. 5 (C)Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, eyayogera eby’obunnabbi ku bintu ebyali bigenda okwogerwa mu biro eby’omu maaso. 6 (D)Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba y’oyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.
Ekiwummulo ky’Abaana ba Katonda
7 (E)Noolwekyo nga Mwoyo Mutukuvu bw’agamba nti,
“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
8 temukakanyaza mitima gyammwe,
nga bali bwe baajeema,
ku lunaku lwe bagezesaako Katonda mu ddungu.
9 (F)Bajjajjammwe bangezesa,
ne balaba bye nakola mu myaka amakumi ana.
10 Kyennava nsunguwalira omulembe ogwo, ne njogera nti bulijjo baba bakyamu mu mitima gyabwe,
era tebamanyi makubo gange.
11 (G)Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
12 Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogw’obutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu. 13 (H)Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ng’ekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo n’omu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bw’ekibi. 14 (I)Olw’okubanga tussa kimu mu Kristo, tunywereze ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, era tubunywereze ddala okutuusa ku nkomerero. 15 (J)Kyogerwako nti,
“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye
temukakanyaza mitima gyammwe
nga bwe mwakola bwe mwajeema.”
16 (K)Be baani abaawulira, naye ne bajeema? Si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa? 17 (L)Era baani be yanyiigira okumala emyaka amakumi ana? Si abo abaayonoona ne bafiira mu ddungu? 18 (M)Era baani abo Katonda be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Si abo abataagonda? 19 (N)Era tulaba nga baalemwa okuyingira olw’obutakkiriza bwabwe.
Okwenenya Kuleeta Omukisa
14 (A)Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri.
Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.
2 (B)Mudde eri Mukama
nga mwogera ebigambo bino nti,
“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna,
otwanirize n’ekisa,
bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.
3 (C)Obwasuli tebusobola kutulokola;
Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo.
Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’
nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe,
kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”
4 (D)Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi,
ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.
Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.
5 (E)Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:
alimulisa ng’eddanga,
era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
6 (F)Amatabi ge amato galikula;
n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,
n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
7 (G)Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,
era alibala ng’emmere ey’empeke.
Alimulisa ng’omuzabbibu,
era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.
8 (H)Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo?
Ndimwanukula ne mulabirira.
Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.
9 (I)Abalina amagezi bategeera ensonga zino,
era abakabakaba balibimanya.
Amakuba ga Mukama matuufu,
n’abatuukirivu bagatambuliramu,
naye abajeemu bageesittaliramu.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
139 (A)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
n’otegeera byonna ebiri munda yange.
2 (B)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
3 (C)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
Omanyi amakubo gange gonna.
4 (D)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
okimanya nga sinnaba na kukyogera.
5 (E)Ondi mu maaso n’emabega,
era ontaddeko omukono gwo.
6 (F)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
7 (G)Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
8 (H)Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
9 Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 (I)era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 (J)Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
ekiro kyakaayakana ng’emisana;
kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.
13 (K)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (L)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (M)Wammanya nga ntondebwa,
bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16 Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (N)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
oba okyandowoozaako.
19 (O)Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 (P)Abantu abo bakwogerako bibi;
bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 (Q)Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22 Mbakyayira ddala nnyo,
era mbayita balabe bange.
23 (R)Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
Ngezesa omanye ebirowoozo byange.
24 (S)Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu;
era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.