Add parallel Print Page Options

58 (A)Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
    ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 (B)Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 (C)N’ava mu weema ey’omu Siiro[a],
    eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.

Read full chapter

Footnotes

  1. 78:60 Siiro kye kyali ekifo ekitukuvu awasinzibwanga edda mu biro bya Yoswa. Kyali mu bitundu bya Efulayimu wakati wa Beseri ne Sekemu. Essanduuko y’Endagaano yaterekebwanga eyo okutuusa mu biro bya Samwiri; kyokka Abafirisuuti baakizikiriza

(A)Kiyinzika okuba nga Mukama Katonda wo yawulidde obubaka bwonna obwa Labusake, mukama we kabaka w’e Bwasuli bwe yaweereza ng’anyooma Katonda omulamu, era nti amunenye olw’ebigambo byonna Mukama Katonda wo by’awulidde. Noolwekyo ssabira ekitundu ekikyasigaddewo.”

Read full chapter

12 (A)“Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo;
    ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri.
Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro,
    ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo,
    ekifo kirijjula abantu.

Read full chapter