M’Cheyne Bible Reading Plan
Ebyafaayo by’Okuzaalibwa kwa Adamu Okutuuka ku Ibulayimu
1 (A)Adamu yazaala Seezi, Seezi n’azaala Enosi;
2 (B)Enosi n’azaala Kenani, Kenani n’azaala Makalaleri, Makalaleri n’azaala Yaledi;
3 (C)Yaledi n’azaala Enoka, Enoka n’azaala Mesuseera, Mesuseera n’azaala Lameka,
Lameka n’azaala Nuuwa.
4 (D)Nuuwa n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.
5 Batabani ba Yafeesi baali:
Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yavani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi.
6 Batabani ba Gomeri baali:
Asukenaazi, ne Difasi[a] ne Togaluma.
7 Batabani ba Yavani baali:
Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu, ne Lodanimu.
8 Batabani ba Kaamu baali:
Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti[b], ne Kanani.
9 Batabani ba Kuusi baali:
Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka.
Ne batabani ba Laama baali:
Seeba ne Dedani.
10 Kuusi n’azaala
Nimuloodi, Nimuloodi n’akula n’afuuka omusajja omuzira ow’amaanyi mu nsi.
11 Mizulayimu n’azaala
Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu; 12 ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (Abafirisuuti mwe basibuka), ne Kafutolimu.
13 Kanani n’azaala
Sidoni, ye mutabani we omukulu, ne Keesi; 14 n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi; 15 n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini; 16 n’Aballuvadi, n’Abazemali n’Abakamasi.
17 Batabani ba Seemu baali:
Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.
Ate batabani ba Alamu baali:
Uzi, ne Kuuli, ne Geseri, ne Meseki.[c]
18 Alupakusaadi n’azaala Seera,
Seera n’azaala Eberi.
19 Eberi yazaala abaana babiri aboobulenzi,
erinnya ly’omu nga ye Peregi, amakulu nti ensi yali egabiddwamu, n’erinnya ly’omulala nga ye Yokutaani.
20 Yokutaani n’azaala
Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera; 21 ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula; 22 ne Ebali, ne Abimayeeri, ne Seeba; 23 ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu. Era abo bonna be baali batabani ba Yokutaani.
24 (E)Enda ya Seemu okutuuka ku Ibulaamu ye yali eno; Seemu n’azaala Alupakusaadi, Alupakusaadi n’azaala Seera,
25 Seera n’azaala Eberi, Eberi n’azaala Peregi, ne Peregi n’azaala Lewu.
26 Lewu n’azaala Serugi, Serugi n’azaala Nakoli, ne Nakoli n’azaala Teera,
27 Teera n’azaala wa Ibulaamu, oyo ye Ibulayimu.
28 Batabani ba Ibulayimu baali
Isaaka ne Isimayiri.
29 Luno lwe lulyo lwabwe:
Nebayoosi ye yali mutabani wa Isimayiri omukulu, ne kulyoka kuddako Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, 30 ne Misuma, ne Duma, ne Massa, ne Kadadi, ne Teema, 31 ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. Eyo y’enda ya Isimayiri.
Ezadde lya Ketula
32 (F)Batabani ba Ketula, omuweereza omukazi owa Ibulayimu be baali
Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa.
Ate batabani ba Yokusaani baali
Seeba ne Dedani.
33 Batabani ba Midiyaani baali
Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda.
Abo bonna be baali bazzukulu ba Ketula.
Ezadde lya Sala
34 (G)Ibulayimu n’azaala Isaaka;
batabani ba Isaaka baali
Esawu ne Isirayiri.
35 (H)Batabani ba Esawu baali
Erifaazi, ne Leweri, ne Yewusi, ne Yalamu ne Koola.
36 (I)Batabani ba Erifaazi baali
Temani, ne Omali, ne Zeefi, ne Gatamu, ne Kenozi,
ne Timuna ne Amaleki.
37 (J)Batabani ba Leweri baali
Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza.
38 Batabani ba Seyiri baali
Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.
39 Batabani ba Lotani baali
Kooli, ne Komamu; Timuna yali mwannyina Lotani.
40 (K)Batabani ba Sobali baali
Aliyani, ne Manakasi, ne Ebali, ne Seefi ne Onamu.
Ne batabani ba Zibyoni baali
Aya ne Ana.
41 Mutabani wa Ana yali
Disoni,
batabani ba Disoni nga be ba
Kamulani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.
42 Batabani ba Ezeri baali
Birukani, ne Zaavani ne Yaakani;
batabani ba Disani baali
Uzi ne Alani.
Bakabaka ba Edomu
43 Bano be bakabaka abaafuga mu Edomu nga tewannabaawo kabaka mu Isirayiri abafuga:
Bera mutabani wa Byoli n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Dinukaba.
44 Bera bwe yafa, Yokabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’amusikira okuba kabaka.
45 (L)Yokabu bwe yafa, Kusamu eyava mu nsi y’Abatemani, n’amusikira okuba kabaka.
46 Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyali awangudde Midiyaani mu nsi Mowaabu, n’afuga mu kifo kye n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Avisi.
47 Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.
48 Samula bwe yafa, Sawuli ow’e Lekobosi ekiri okumpi n’omugga Fulaati, n’afuga mu kifo kye.
49 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.
50 Baalukanani bwe yafa, Kadadi n’afuga mu kifo kye, n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Payi, ate nga mukyala we ye Meketaberi muwala wa Matuledi, ate era nga ye muzzukulu wa Mezakabu. 51 Kadadi naye n’afa.
Abakungu ba Edomu baali
Timuna, ne Aliya, Yesesi, 52 ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni, 53 ne Kenozi, ne Temani, ne Mibuzali, 54 ne Magudyeri, ne Iramu.
Abo be baali abakungu ba Edomu.
Abaana ba Isirayiri
2 Bano be baali batabani ba Isirayiri:
Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni, 2 ne Ddaani, ne Yusufu, ne Benyamini, ne Nafutaali, ne Gaadi ne Aseri.
3 (M)Batabani ba Yuda baali
Eri, ne Onani ne Seera, era nnyabwe ye yali Basusuwa Omukanani.
Eri, eyali mutabani wa Yuda omukulu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, era Mukama n’amutta.
4 (N)Tamali muka mwana wa Yuda, n’azaalira Yuda Pereezi, ne Zeera.
Batabani ba Yuda bonna awamu baali bataano.
5 (O)Batabani ba Perezi baali
Kezulooni ne Kamuli.
6 Batabani ba Zeera baali
Zimuli, ne Esani, ne Kemani, ne Kalukoli, ne Dala, bonna awamu bataano.
7 (P)Mutabani wa Kalumi ye yali
Akali, eyaleetera Isirayiri emitawaana kubanga yayonoona mu ebyo ebyawongebwa.
8 Mutabani wa Esani ye yali
Azaliya.
9 (Q)Batabani ba Kezulooni baali
Yerameeri, ne Laamu ne Kerubayi.
10 (R)Laamu n’azaala Amminadaabu,
Amminadaabu n’aba kitaawe n’azaala Nakusoni, eyali omukulu w’ekika kya Yuda.
11 Nakusoni n’azaala Saluma,
ne Saluma n’azaala Bowaazi,
12 (S)Bowaazi ye n’azaala Obedi ate Obedi n’azaala Yese.
13 (T)Yese n’azaala
Eriyaabu, eyali mutabani we omukulu; Abinadaabu nga ye wookubiri,
Simeeyi nga ye wookusatu, 14 Nesaneeri nga ye wookuna,
Laddayi nga ye wookutaano, 15 Ozemu n’aba ow’omukaaga,
Dawudi nga ye wa musanvu.
16 (U)Bannyinaabwe be baali Zeruyiya ne Abbigayiri.
Batabani ba Zeruyiya baali basatu nga be ba Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri.
17 (V)Abbigayiri yali nnyina wa Amasa, ne Amasa n’azaala Yeseri Omuyisimayiri.
18 Kalebu mutabani wa Kezulooni n’azaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi.
Yeseri, ne Sobabu, ne Aludoni be baali abaana ba Azuba.
19 (W)Azuba bwe yafa, Kalebu n’awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.
20 (X)Kuuli n’azaala Uli, Uli n’azaala Bezaleeri.
21 (Y)Oluvannyuma Kezulooni, ne yeebaka ne muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi, gwe yali afumbiddwa nga wa myaka nkaaga, n’amuzaalira Segubu.
22 Segubu n’azaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi.
23 (Z)Naye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi n’ebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga.
Abo bonna be baali abazzukulu ba Makiri, kitaawe wa Gireyaadi.
24 (AA)Kezulooni ng’amaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, n’amuzaalira Asukuli, n’azaala Tekowa.
25 Yerumeeri mutabani wa Kezulooni omukulu yalina batabani be bataano nga be ba
Laamu, mutabani we omukulu, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu ne Akiya. 26 Wabula Yerumeeri yalina omukyala omulala ng’erinnya lye ye Atala, era oyo yali nnyina Onamu.
27 Batabani ba Laamu mutabani omukulu owa Yerameeri baali
Maazi, ne Yamuni ne Ekeri.
28 Batabani ba Onamu be baali
Sammayi ne Yada,
ate batabani ba Sammayi nga be ba
Nadabu ne Abisuli.
29 Abisuli yalina omukyala erinnya lye Abikayiri, era n’amuzaalira Abani ne Molidi.
30 Batabani ba Nadabu be baali
Seredi ne Appayimu, naye Seredi n’afa nga tazadde mwana.
31 Mutabani wa Appayimu yali
Isi, ate nga Isi ye kitaawe wa Akulayi.
32 Batabani ba Yada muganda we Sammayi be baali
Yeseri ne Yonasaani, naye Yeseri n’afa nga tazadde mwana.
33 Batabani ba Yonasaani be baali
Peresi ne Zaza.
Abo bonna be baali bazzukulu ba Yerameeri.
34 Sesani ye yalina baana ba buwala bokka,
ng’alina n’omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala. 35 Sesani n’awaayo omu ku bawala be okufuumbirwa omuddu we Yala, era omuwala n’azaala Attayi.
36 (AB)Attayi n’azaala Nasani,
ne Nasani n’azaala Zabadi.
37 Zabadi n’azaala Efulali,
ne Efulali n’azaala Obedi.
38 Obedi n’azaala Yeeku,
ne Yeeku n’azaala Azaliya.
39 Azaliya n’azaala Kerezi,
ne Kerezi n’azaala Ereyaasa.
40 Ereyaasa n’azaala Sisumaayi,
ne Sisumaayi n’azaala Sallumu.
41 Sallumu n’azaala Yekamiya,
ne Yekamiya n’azaala Erisaama.
42 (AC)Omwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri,
ye yali Mesa, ate Mesa n’azaala Zifu.
Zifu n’azaala Malesa, Malesa n’azaala Kebbulooni.
43 Batabani ba Kebbulooni baali
Koola, ne Tappua, ne Lekemu, ne Sema.
44 Sema n’azaala Lakamu,
ne Lakamu n’azaala Yolukeyaamu.
Lekemu n’azaala Sammayi.
45 (AD)Mutabani wa Sammayi n’azaala Manoni,
ne Mawoni n’azaala Besuzuli.
46 Efa omukazi omulala owa Kalebu yamuzaalira
Kalani, ne Moza ne Gazezi.
Ate Kalani n’azaala omulenzi gwe yatuuma Gazezi.
47 Batabani ba Yadayi baali
Legemu, ne Yosamu, ne Gesani, ne Pereti, ne Efa ne Saafu.
48 Ate era Kalebu yalina omukazi omulala, Maaka eyamuzaalira
Seberi ne Tirukaana.
49 (AE)Mukazi we oyo yazaalayo n’omwana omulala erinnya lye Saafu, eyazaala Madumanna.
Seva n’azaala Makubena ne Gibea.
Muwala wa Kalebu ye yali Akusa.
50 (AF)Abo be baali bazzukulu ba Kalebu.
Batabani ba Kuuli baali Efulaasa omuggulanda,
Sobali n’azaala Kiriyasuyalimu, 51 Saluma n’azaala Besirekemu, ne Kalefu n’azaala Besugaderi.
52 Sabali eyazaala Kiriyasuyalimu, yalina abaana abalala nga be ba
Kalowe, ne kimu kyakubiri eky’Abamenukosi, 53 (AG)n’ebika ebya Kiriyasuyalimu nga be ba Abayisuli, n’Abapusi, n’Abasumasi, n’Abamisulayi. Muno mwe mwasibuka Abazolasi n’Abayesutawooli.
54 (AH)Batabani ba Saluma baali
Besirekemu, n’Abanetufa, Atulosubesuyowabu, ne kimu kyakubiri eky’Abamanakasi, Abazooli, 55 (AI)n’ebika by’abawandiisi b’amateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be b’Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu.
Kabona Omukulu ow’Endagaano Empya
8 (A)Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogw’entebe ya Katonda ey’obwakabaka mu ggulu, 2 (B)omuweereza w’ebitukuvu, era ow’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’amazima, etaazimbibwa bantu wabula Mukama.
3 (C)Kubanga Kabona Asinga Obukulu yenna alondebwa olw’omulimu ogw’okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka, bwe kityo n’oyo kyamugwanira okuba n’ekintu ky’awaayo. 4 (D)Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng’amateeka bwe galagira. 5 (E)Kye bakola kifaananako bufaananyi era kisiikirize ky’ebyo ebikolebwa mu ggulu. Musa kyeyava alabulwa, bwe yali ng’anaatera okumaliriza weema, Mukama n’amugamba nti, “Bw’oba ng’ozimba, goberera entegeka yonna eyakulagirwa ku lusozi.” 6 (F)Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n’endagaano gy’alimu ng’omutabaganya y’esinga obulungi, n’ebisuubizo kw’enyweredde, bye bisinga obulungi.
7 (G)Singa endagaano eyasooka teyaliiko kyakunenyezebwa, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri. 8 (H)Kubanga bw’abanenya ayogera nti,
“Laba ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
“ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri,
awamu n’ennyumba ya Yuda.
9 (I)Endagaano eno empya terifaanana n’eri gye nalagaana ne bajjajjaabwe
lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y’e Misiri.
Olw’okubanga tebaagoberera ndagaano yange,
nange ssaabassaako mwoyo,”
bw’ayogera Mukama.
10 (J)“Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri,
oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe
era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe,
nange nnaabeeranga Katonda waabwe,
nabo banaabeeranga bantu bange.
11 (K)Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ng’agamba nti,
‘Manya Mukama,’
Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu
bonna balimmanya.
12 (L)Era ndibasaasira,
n’ebibi byabwe siribijjukira nate.”
13 (M)Katonda bw’ayogera ku ndagaano empya, olwo ng’andibizza ey’edda; n’eyo gy’adibizza n’okukaddiwa n’ekaddiwa, eriggwaawo.
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu
ne gafuuka evvu.
2 Ndiweereza omuliro ku Mowaabu
era gulyokya ebigo bya Keriyoosi.
Abantu ba Mowaabu balifiira
wakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana n’okufuuwa amakondeere.
3 (A)Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabu
n’abakungu baamu bonna, ndibatta,”
bw’ayogera Mukama.
4 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama,
ne batakuuma biragiro bye nabawa
ne bagondera bakatonda ab’obulimba
bajjajjaabwe be baagobereranga.
5 (C)Ndiweereza omuliro ku Yuda
ne njokya ebigo bya Yerusaalemi.”
6 (D)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Batunda obutuukirivu bafune ffeeza,
ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto.
7 (E)Balinnyiririra emitwe gy’abaavu
mu nfuufu,
n’abajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya.
Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu
ne boonoona erinnya lyange.
8 (F)Bagalamira okumpi ne buli kyoto
ku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo.
Mu nnyumba ya bakatonda baabwe
mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.
9 (G)“Nazikiriza Abamoli ku lwabwe
newaakubadde nga baali bawanvu ng’emivule
era nga ba maanyi ng’emyera.
Nazikiriza ebibala ebyali waggulu
okutuuka ku mirandira egyali wansi.
10 (H)Nakuggya mu nsi y’e Misiri,
ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu,
weetwalire ensi y’Abamoli.
11 (I)“Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera bannabbi,
ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama.
Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?”
bw’ayogera Mukama.
12 (J)“Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa,
ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.
13 “Laba, ndibasesebbula
ng’eggaali eryettisse ebinywa by’emmere ey’empeke bwe lisesebbula ekiri mu kkubo lyalyo.
14 (K)Abanguwa tebaliwona,
n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe
era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
15 (L)Omukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera,
n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka.
Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.
16 (M)Ku lunaku olwo abalwanyi abazira nnamige
balidduka bukunya!”
bw’atyo bw’ayogera Mukama.
Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.
145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2 (B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3 (C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4 (D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5 (E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6 (F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7 (G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8 (H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 (I)Mukama mulungi eri buli muntu,
era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
emirembe n’emirembe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.