M’Cheyne Bible Reading Plan
Samwiri Anenya Sawulo
13 Sawulo yalina emyaka amakumi asatu we yaliira obwakabaka, n’afuga Isirayiri okumala emyaka amakumi ana. 2 (A)Sawulo yalonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri, enkumi ebbiri ku bo ne babeera naye e Mikumasi ku lusozi olw’e Beseri, n’abalala lukumi ne babeera ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini. Abasajja abalala bonna n’abasindika baddeyo ewaabwe. 3 (B)Yonasaani n’alumba olusiisira lw’Abafirisuuti eyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Awo Sawulo n’alagira, bafuuwe ekkondeere mu nsi yonna, ng’agamba nti, “Abaebbulaniya bawulire!” 4 (C)Awo Isirayiri yenna bwe baawulira nga Sawulo awambye olusiisira lw’Abafirisuuti, ate nga Isirayiri yali efuuse ekyenyinyalwa eri Abafirisuuti, abantu ne balagirwa okwegatta ku Sawulo e Girugaali.
5 (D)Abafirisuuti ne beekuŋŋaanya okulwana n’Abayisirayiri. Abafirisuuti baalina amagaali emitwalo esatu, n’abeebagala embalaasi kakaaga, n’abaserikale abeebigere ng’omuwendo gwabwe gwenkana ng’omusenyu ogw’oku nnyanja obungi. Ne bayambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Besaveni. 6 (E)Abasajja Abayisirayiri bwe baalaba ng’embeera yaabwe mbi nnyo, n’eggye lyabwe nga linnyigirizibwa omulabe, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka ne mu njazi, ne mu binnya. 7 (F)Ne wabaawo n’abamu ku Baebbulaniya abaasomoka Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi.
Sawulo ye n’asigala e Girugaali, n’abaserikale bonna be yali nabo, naye nga bajjudde okutya. 8 (G)N’alinda okumala ennaku musanvu, ebbanga Samwiri lye yali amulaze, naye Samwiri n’atajjirawo e Girugaali, n’abasajja ba Sawulo ne batandika okumuvaako. 9 (H)Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’emirembe.” N’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa. 10 (I)Naye bwe yali yakamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samwiri n’atuuka. Sawulo n’agenda okumwaniriza.
11 (J)Samwiri n’amubuuza nti, “Kiki kino ky’okoze?” Sawulo n’addamu nti, “Bwe nnalabye ng’abasajja batandise okusaasaana, ate nga tozze mu kiseera kye walaga, ate nga n’Abafirisuuti bakuŋŋaanira e Mikumasi, 12 (K)ne ndowooza nti, ‘Kaakano Abafirisuuti bagenda kukkirira okunnumba e Girugaali, nga sinnaba kwegayirira kufuna mukisa gwa Mukama, kyenvudde mpalirizibwa okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa.’ ”
13 (L)Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Okoze kya busirusiru, obutakuuma kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira. Singa wakikuumye, Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo okufuga Isirayiri emirembe gyonna. 14 (M)Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera. Mukama anoonyezzaayo omusajja alina omutima ogumunoonya era amulonze okuba omukulembeze w’abantu be, kubanga tokuumye kiragiro kya Mukama.” 15 (N)Awo Samwiri n’ava e Girugaali n’ayambuka e Gibea mu Benyamini, Sawulo n’abala abasajja abaali naye, nga baawera nga lukaaga.
Ebbula ly’Ebyokulwanyisa mu Isirayiri
16 Sawulo ne mutabani we Yonasaani, n’abasajja abaali nabo baali basiisidde e Gebea ekya Benyamini, ate ng’Abafirisuuti bo basiisidde Mikumasi. 17 (O)Abalabe ne bava mu nkambi y’Abafirisuuti mu bibinja bisatu, ekimu ne kyolekera Yofula, mu nsi ya Suwaali, 18 (P)n’ekibinja ekirala ne kyolekera Besukolooni, n’ekyokusatu ne kyolekera ensalo etunuulidde ekiwonvu Zeboyimu okwolekera eddungu.
19 (Q)Mu nsi yonna eya Isirayiri temwali muweesi n’omu, kubanga Abafirisuuti baali baasalawo nti, “Si kulwa ng’Abaebbulaniya beeweeseza ebitala oba amafumu!” 20 Noolwekyo Abayisirayiri bonna baaserengetanga eri Abafirisuuti, okuwagala enkumbi zaabwe, n’ebiwabyo byabwe, n’embazzi zaabwe, ne najjolo zaabwe. 21 Baalinanga omuwendo gwe baasasulanga olw’okuwagala enkumbi ey’amannyo abiri n’ebiwabyo, nga gwa njawulo ku ogwo gwe baawangayo olw’okuwagala embazzi n’emiwunda.
22 (R)Era ku lunaku olw’olutalo tewaali muserikale n’omu ku baali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani[a]. 23 (S)Waaliwo ekibinja eky’Abafirisuuti ekyali kigenze mu kifo ekyayitibwanga Mikumasi.
11 (A)Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Kikafuuwe. Kubanga nange ndi Muyisirayiri, era muzzukulu wa Ibulayimu, ow’omu kika kya Benyamini. 2 (B)Katonda tasuulanga bantu be, be yalonda okuva ku lubereberye. Oba temumanyi ekyawandiikibwa ekyogera ku Eriya bwe yeegayirira Katonda nga yeemulugunya olwa Isirayiri? 3 (C)Yagamba nti, “Mukama, basse bannabbi bo ne bamenyaamenya n’ebyoto byo. Nze nzekka nze nsigaddewo, ate bannoonya okunzita.” 4 (D)Naye Katonda yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Neesigalizzaawo abasajja kasanvu abatafukaamirira Baali.” 5 (E)Era bwe kityo ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyasigalawo abaalondebwamu olw’ekisa. 6 (F)Naye obanga lwa kisa, si lwa bikolwa nate, kubanga ekisa kyandibadde tekikyali kisa.
7 (G)Kale tugambe ki? Abayisirayiri baalemwa okufuna kye baali banoonya, wabula be yalondamu be baakifuna, abalala ne bakakanyazibwa, emitima, 8 (H)nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Katonda yabawa omwoyo ogw’okubongoota,
n’aleetera amaaso gaabwe obutalaba,
n’amatu gaabwe obutawulira
okutuusa leero.”
9 Ne Dawudi yagamba nti,
“Leka ekijjulo kyabwe kibafuukire omutego, era ekitimba,
eky’okubatega era empeera ebasaanira.
10 (I)Amaaso gaabwe ka gabeeko ekifu, baleme okulaba.
Era batambule nga bakootakoota emirembe n’emirembe.”
11 (J)Kale ka mbuuze, kyebaava beesittala balyoke bagwe? Kikafuuwe. Naye olw’okwonoona kwabwe, obulokozi kyebwava bujja eri Abaamawanga, Abayudaaya balyoke bakwatibwe obuggya. 12 (K)Kale obanga okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga eri ensi, n’okulemwa kwabwe nga kutegeeza bugagga eri Abaamawanga, okuganyulwa kwabwe tekulisingawo!
13 (L)Kaakano njogera gye muli Abaamawanga, nga bwe ndi omutume eri Abaamawanga, ngulumiza obuweereza bwange, 14 (M)singa kisoboka nkwase baganda bange obuggya abamu ku bo basobole okulokolebwa. 15 (N)Kubanga obanga okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kulitegeeza ki, bwe kutaliwa bafu bulamu? 16 (O)Kale kaakano obanga ekitole ky’eŋŋano ekandiddwa ne kiweebwayo ng’ekibala ekibereberye kitukuvu, n’eŋŋaano yonna ntukuvu; era obanga ekikolo kitukuvu, n’amatabi matukuvu.
17 (P)Naye obanga amatabi agamu gaawogolebwa, ate nga ggwe eyali omuzeyituuni ogw’omu nsiko wasimbibwa ku kikolo kyagwo, n’ogabana ku bugimu bw’ekikolo ky’omuzeyituuni, 18 (Q)teweenyumiririzanga ku matabi ago; naye bwe weenyumirizanga, jjukira nga si gwe owaniridde ekikolo, naye ekikolo kye kikuwaniridde. 19 Oyinza okwogera nti, “Amatabi gaawogolwako, ndyoke nsimbibweko.” 20 (R)Ky’oyogedde kiba kituufu. Weewaawo gaawogolwako lwa butakkiriza, kyokka ggwe onywedde lwa kukkiriza. Teweenyumirizanga, naye otyanga. 21 Kuba obanga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, nammwe ayinza obutabasaasira.
22 (S)Kale mufumiitirize ku kisa n’obukambwe bwa Katonda. Aba mukambwe eri abo abaagwa, naye n’aba wa kisa eri ggwe, bwe weeyongera okunywerera mu kisa kye, kubanga naawe bw’otonywere oliwogolwako. 23 (T)Era n’abo oluvannyuma bwe balikkiriza, balizzibwako ku nduli kubanga Katonda ayinza okubazaako kuli. 24 Kuba obanga ggwe mu buzaaliranwa bwo gwe eyawogolwa ku muzeyituuni, wazzibwa ku muzeyituuni ogutali gwa buzaaliranwa bo, abo ab’obuzaaliranwa tebalisinga nnyo okuzzibwa ku muzeyituuni gwabwe bo?
25 (U)Kubanga ssaagala mmwe abooluganda obutamanya kyama kino nga mwelowooza okuba ab’amagezi, ng’abamu ku Bayisirayiri bwe baakakanyaza emitima gyabwe, okutuusa mmwe Abaamawanga, lwe muliyingira. 26 N’oluvannyuma Isirayiri yenna alirokolebwa, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti,
“Omulokozi aliva mu Sayuuni,
era aliggyawo obutatya Katonda mu bazzukulu ba Yakobo.
27 (V)Era eyo ye ndagaano yange nabo,
bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”
28 (W)Mu njiri balabe ku lwammwe, naye mu kulondebwa baagalwa olwa bajjajjaabwe. 29 (X)Kubanga Katonda bw’agabira abantu ebirabo oba bw’abayita, teyejjusa. 30 (Y)Kuba nga mmwe edda bwe mwajeemera Katonda, kyokka kaakano nga musaasiddwa olw’obujeemu bw’Abayudaaya, 31 bwe batyo nabo kaakano bajeemu, eri ekyo ekyali okusaasira gye muli, balyoke basaasirwe. 32 (Z)Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa.
33 (AA)Kale nga Katonda wa kitalo,
ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi;
ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.
34 (AB)“Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama?
Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?”
35 (AC)“Oba ani eyali asoose okumuwa ekintu,
alyoke amuddizeewo?”
36 (AD)Kubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali.
Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina.
Obubaka ku Babulooni
50 (A)Kino kye kigambo Mukama Katonda kye yayogerera mu nnabbi Yeremiya ekikwata ku Babulooni n’ensi ey’Abakaludaaya.
2 (B)“Buulira mu mawanga era olangirire,
yimusa bendera olangirire,
tolekaayo kintu kyonna ogambe nti,
‘Babulooni eriwambibwa;
Beri kiswale,
ne Meroddaaki kijjule entiisa.
Ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono bijja kuswala
era bitye.’
3 (C)Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba
lyonoone ensi y’Abakaludaaya.
Tewali muntu alisigalamu;
abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna.
4 (D)“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,”
bw’ayogera Mukama,
“abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda
balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.
5 (E)Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni
era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti,
Mujje twesibe ku Mukama Katonda
mu ndagaano ey’emirembe gyonna
etegenda kwerabirwa.
6 (F)“Abantu bange babadde ndiga ezibuze;
abasumba baabwe babawabizza
ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi.
Baava ku lusozi ne badda ku kasozi
ne beerabira ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu.
7 (G)Buli eyabasanganga nga abatulugunya;
abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza,
kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala,
ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’
8 (H)“Mudduke okuva e Babulooni;
muleke ensi y’Abakaludaaya,
mubeere ng’embuzi ezikulembera ekisibo.
9 Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky’amawanga amanene
okuva mu nsi ey’obukiikakkono okulumba Babulooni.
Baliyimirira mu nnyiriri zaabwe bakirumbe,
bakiwambe nga basinzira mu bukiikakkono.
Obusaale bwabwe buliba ng’obw’abalwanyi abakugu,
abataddira awo ngalo nsa.
10 Noolwekyo ensi y’Abakaludaaya erinyagibwa;
abo bonna abaliginyaga balitwala byonna bye baagala,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
11 (I)“Kubanga musanyuka ne mujaguza,
mmwe abaanyaga omugabo gwabwe,
kubanga muligita ng’ente enduusi ewuula emmere ey’empeke,
ne muleekaana ng’embalaasi ennume enkulu,
12 nnyammwe alikwatibwa ensonyi;
oyo eyakuzaala aliswazibwa.
Aliba ensi esemberayo ddala,
ensiko, ensi enkalu, eddungu.
13 (J)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda tajja kubeeramu bantu,
naye alisigala matongo.
Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisooze
olw’ebiwundu bye byonna.
14 (K)“Musimbe ennyiriri okwetooloola Babulooni,
mwenna abanaanuula omutego.
Mumulase! Temulekaawo kasaale n’akamu,
kubanga yajeemera Mukama Katonda.
15 (L)Mumukube olube ku buli ludda.
Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa,
n’ebisenge bye bimenyeddwa.
Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda,
mumwesasuzeeko;
mumukole nga bw’akoze abalala.
16 (M)Asiga mumuggye mu Babulooni,
n’omukunguzi oyo akwata ekiwabyo mumuggye mu makungula.
Olw’ekitala ky’omujoozi,
leka buli omu addukire mu nsi y’ewaabwe,
buli muntu adde eri abantu be.
17 (N)“Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye,
empologoma kye zigobye.
Eyasooka okumulya
yali kabaka wa Bwasuli;
eyasembayo okumenya amagumba ge
yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”
18 (O)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
“Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye
nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.
19 (P)Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kye
era aliriira ku Kalumeeri ne Basani;
alikuttira
ku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
20 (Q)Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.
21 (R)“Mulumbe ensi ye Merasayimu
n’abo abali mu Pekodi.
Mubagoberere mubatte, mubazikiririze ddala,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Mukole byonna bye mbalagidde.
22 (S)Oluyoogaano lw’olutalo luwulirwa mu ggwanga,
eddoboozi ery’okuzikiriza okunene!
23 (T)Ennyondo y’ensi yonna
ng’ekubiddwa n’emenyeka!
Babulooni kifuuse matongo
mu mawanga!
24 (U)Nakutegera omutego, ggwe Babulooni,
babagwiikiriza ne babakwata nga tebategedde,
baakukwata ne bakuwamba
kubanga wawakanya Mukama.
25 (V)Mukama agguddewo etterekero ly’ebyokulwanyisa bye
naggyamu ebyokulwanyisa eby’ekiruyi kye,
kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina omulimu ogw’okukola
mu nsi y’Abakaludaaya.
26 (W)Mujje mumulumbe mmwe abava mu buli nsonda,
mumenye ebyagi eby’emmere y’empeke,
mumukuŋŋaanye abe ng’entuumo y’emmere y’empeke.
Mumuzikiririze ddala;
waleme kusigalawo n’omu ku bo.
27 Mutte ennume zaabwe zonna,
muzitwale zittibwe.
Zibasanze kubanga olunaku lwabwe lutuuse,
kye kiseera kyabwe eky’okubonerezebwa.
28 (X)Muwulire eby’abadduka n’abanoonyi b’obubudamu okuva mu Babulooni
nga balangirira mu Sayuuni
engeri Mukama Katonda waffe gye yeesasuzza,
gye yeesasuzza olwa yeekaalu ye.
29 (Y)“Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni,
ne bonna abanaanuula omutego.
Mumwetooloole yenna;
tewaba n’omu awona.
Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna;
mumukole nga bwe yakola banne.
Kubanga yanyooma Mukama,
Omutukuvu wa Isirayiri.
30 (Z)Noolwekyo, abavubuka be baligwa mu nguudo;
abaserikale be balisirisibwa ku lunaku olwo,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
31 (AA)“Laba, ndi mulabe wo, ggwe ow’amalala,”
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
“Kubanga olunaku lwo lutuuse,
ekiseera ky’on’obonerezebwamu.
32 (AB)Oyo ow’amalala alyesittala agwe
era teri n’omu alimuyamba kuyimuka;
Ndikoleeza omuliro mu bibuga bye
oguliyokya bonna abamwetoolodde.”
33 (AC)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Abantu ba Isirayiri banyigirizibwa
awamu n’abantu ba Yuda;
Bonna ababawambye babanywezezza,
bagaanye okubata.
34 (AD)Omununuzi waabwe w’amaanyi,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa,
alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe;
wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni.
35 (AE)“Ekitala kyolekedde Abakaludaaya,”
bw’ayogera Mukama,
“n’eri abo ababeera mu Babulooni,
n’abakungu baabwe n’abasajja baabwe abajjudde amagezi!
36 (AF)Ekitala kyolekedde bannabbi baabwe ab’obulimba!
Balifuuka balisiriwala,
ekitala kyolekedde abalwanyi baabwe.
Balijjula entiisa.
37 (AG)Ekitala kyolekedde embalaasi ze n’amagaali
n’abagwira bonna abamubeeramu!
Balifuuka banafu ng’abakazi.
Ekitala kyolekedde eby’obugagga bwe!
Birinyagibwa!
38 (AH)Ekyeya kyolekedde amazzi gaamu!
Galikalira.
Kubanga ggwanga erisinza ebifaananyi,
ebifaananyi ebirigwa eddalu olw’entiisa.
39 (AI)“Noolwekyo ensolo z’omu nsiko ziribeera eyo n’empisi,
era eyo ekiwuugulu nakyo gye kiribeera.
Ekibuga ekyo tekiriddamu kubeeramu bantu
wadde kutuulwamu bantu emirembe gyonna.
40 (AJ)Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomola
n’ebibuga ebiriraanyeewo,”
bw’ayogera Mukama,
“bw’atyo bw’alikikola ne mutaba muntu n’omu alikibeeramu;
tewaliba n’omu alikisigalamu.
41 (AK)“Laba, eggye liva mu bukiikakkono;
ensi ey’amaanyi ne bakabaka bangi,
bakuŋŋaana okuva ku nkomerero y’ensi.
42 (AL)Balina obusaale n’amafumu,
bakambwe si ba kisa.
Beebagadde embalaasi zaabwe
ne baba ng’amayengo agawuluguma mu nnyanja;
bali ng’abasajja abalwanyi abajjira mu nnyiriri z’entalo
okukulumba, ggwe Muwala wa Babulooni.
43 Kabaka w’e Babulooni afunye amawulire agabafaako,
n’emikono gye girebedde.
Entiisa emugwiridde,
ng’omukazi alumwa okuzaala.
44 (AM)Ng’empologoma eva mu kibira kya Yoludaani
okugenda mu ddundiro eggimu,
Babulooni ndimugoba mu nsi ye awatali kutemya kikowe.
Ani oyo omulonde gwe nnaawa okukola kino?
Ani ali nga nze, era ani ayinza okunsomooza?
Era musumba ki ayinza okuyimirirawo okumpakanya?”
45 (AN)Noolwekyo, wulira Mukama ky’ategekedde Babulooni,
ky’ategese okuleeta ku nsi y’Abakaludaaya.
Obwana bw’ebisibo byabwe bulitwalibwa,
alizikiririza ddala ebisibo byabwe ng’abalanga obujeemu bwabwe.
46 (AO)Olw’oluyoogaano lw’okuwambibwa kwa Babulooni, ensi erikankana;
okukaaba kwe kuliwulirwa mu mawanga.
Zabbuli ya Dawudi.
28 (A)Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
2 (B)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
nga nkukaabirira okunnyamba.
3 (C)Tontwalira mu boonoonyi,
abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
4 (D)Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
obabonereze nga bwe basaanidde.
5 (E)Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
era talibaddiramu.
6 Atenderezebwe Mukama,
kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
7 (F)Mukama ge maanyi gange,
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
8 (G)Mukama y’awa abantu be amaanyi,
era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
9 (H)Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo.
Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.
Zabbuli ya Dawudi.
29 (I)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
2 (J)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
3 (K)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
4 (L)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5 (M)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6 (N)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
7 Eddoboozi lya Mukama
libwatukira mu kumyansa.
8 (O)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9 (P)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.