M’Cheyne Bible Reading Plan
Yonasaani Alumba Abafirisuuti
14 Lumu Yonasaani mutabani wa Sawulo n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Jjangu tugende ku ludda luli mu nkambi ey’Abafirisuuti.” Kyokka n’atabuulira kitaawe.
2 (A)Sawulo yali asiisidde ku njegoyego za Gibea wansi w’omukomamawanga mu Migulooni. Yalina abaserikale nga lukaaga; 3 (B)ku bo kwe kwali Akiya eyali ayambadde ekkanzu ey’obwakabona[a] nga ye mutabani wa Akitubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro. Tewali yamanya nti Yonasaani agenze.
4 (C)Ku buli ludda lw’ekkubo Yonasaani mwe yali ayagala okuyita okutuuka ku nkambi y’Abafirisuuti waaliyo enkonko empanvu, olumu nga luyitibwa Bozezi, n’olulala nga luyitibwa Sene. 5 Olukonko olumu lwali ku luuyi olw’obukiikakkono okwolekera Mikumasi, n’olulala nga luli ku luuyi olw’obukiikaddyo okwolekera Geba. 6 (D)Yonasaani n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, Jjangu tugende mu nkambi y’abasajja abo abatali bakomole, oboolyawo Mukama anaatukolera ekyamagero. Kubanga tewali kiyinza kuziyiza Mukama kulokola, ng’akozesa abangi oba abatono.
7 Omuvubuka n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Genda mu maaso, nzisa kimu naawe, omutima gwange n’omwoyo gwange biri wamu naawe.” 8 Yonasaani n’alyoka ayogera nti, “Kale, tusomoke tugende eri abasajja, tubeerage. 9 Bwe banaatugamba nti, ‘Mutulindirire okutuusa lwe tunajja,’ kale tunaasigala we tuli, ne tutagenda gye bali. 10 (E)Naye bwe banaatugamba nti, ‘Mujje gye tuli,’ tunaayambuka, kubanga ako ke kanaaba akabonero gye tuli nti Mukama abagabudde mu mukono gwaffe.”
11 (F)Awo bombi ne beeraga eri olusiisira lw’Abafirisuuti. Abafirisuuti ne boogera nti, “Mulabe, Abaebbulaniya batandise okuva mu binnya mwe baali beekwese.” 12 (G)Abasajja ab’omu nkambi ne bakoowoola Yonasaani n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga boogera nti, “Mwambuke gye tuli, tubalage enkola.”
Awo Yonasaani n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Ngoberera twambuke kubanga Mukama abawaddeyo mu mukono gwa Isirayiri.”
13 Yonasaani n’alinnyalinnya, ng’ayavula nga n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye bw’amuvaako emabega. Yonasaani n’atta Abafirisuuti, n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye ng’amuvaako emabega naye n’atta abo abaali bawonyeewo. 14 Mu lulumba olwo olwasooka, Yonasaani n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye, batta abasajja amakumi abiri mu kibangirizi ekyenkana ekitundu kya eka.
Isirayiri Atta Abafirisuuti bangi
15 (H)Awo ne waba okutya kungi nnyo mu ggye lyonna ery’Abafirisuuti abo abaali mu nkambi n’abaali ku ttale; era n’ab’omu bibinja ebirala n’ebibondo ebirumba n’ettaka ne likankana. Okukankana okwo kwava eri Katonda.
16 (I)Abakuumi ba Sawulo abaali e Gibea mu Benyamini ne balaba ng’ekibinja kisaasaana okuddukira mu njuyi zonna. 17 Awo Sawulo n’alagira abasajja abaali naye nti, “Mubale abasajja bonna, mulabe ataliiwo.” Bwe baabala, ne bazuula nga Yonasaani n’eyasitulanga ebyokulyanyisa bye tebaliiwo.
18 (J)Sawulo n’agamba Akiya nti, “Leeta essanduuko ya Katonda,” kubanga mu biro ebyo yali mu mikono gy’Abayisirayiri. 19 (K)Awo Sawulo bwe yali ng’akyayogera ne kabona, akeegugungo ne keeyongera mu nkambi y’Abafirisuuti, n’agamba kabona nti, “Zaayo omukono gwo, ogira olindako.” 20 (L)Awo Sawulo n’abasajja be ne beekuŋŋaanya ne bagenda mu lutalo, ne basanga ng’Abafirisuuti balwanagana bokka ne bokka, nga bafumitagana ebitala. 21 (M)Abaebbulaniya abaabeeranga n’Abafirisuuti, abaali bagenze nabo mu nkambi, ne beegatta ku Bayisirayiri abaali ne Sawulo ne Yonasaani. 22 (N)Awo Abayisirayiri bonna abaali beekwese mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu bwe baawulira ng’Abafirisuuti badduse, amangwago nabo ne beenyigira mu lutalo ne bannaabwe. 23 (O)Mukama n’alokola Isirayiri ku lunaku olwo, olutalo ne lutuukira ddala e Besaveni.
Yonasaani Alya Omubisi gw’Enjuki
24 (P)Ku lunaku olwo abasajja Abayisirayiri baali bajjudde ennaku nnyingi nnyo kubanga Sawulo yali abalayizza ng’agamba nti, “Akolimirwe oyo yenna anaalya akantu konna ng’obudde tebunnawungeera, nga sinnaba kwesasuza ku balabe bange.” Awo ne wataba n’omu ku baserikale akomba ku kantu.
25 Awo abantu bonna bwe baatuuka mu kibira ne balaba omubisi gw’enjuki ku ttaka. 26 Bwe beeyongerayo munda mu kibira ne basanga nga gutonnya, naye ne wataba n’omu agukombako kubanga baali batya ekirayiro kye baakola. 27 (Q)Naye Yonasaani yali tawulidde nga kitaawe alayiza abantu, kyeyava addira omuggo gwe yalina n’annyika omusa gwagwo mu bisenge by’enjuki, n’agukombako, amaaso ge ne ganyirira n’addamu amaanyi. 28 Awo omu ku baserikale n’amugamba nti, “Kitaawo yatukuutidde n’atulayiza nti, ‘Omuntu yenna anaalya ku mmere leero akolimirwe.’ Era ekyo kye kireetedde abaserikale okuggwaamu amaanyi.” 29 (R)Yonasaani n’ayogera nti, “Kitange aleetedde ensi yaffe emitawaana. Laba amaaso gange bwe ganyirira n’amaanyi gange bwe gakomyewo bwe nkombyeko ku mubisi guno ogw’enjuki. 30 Tekyandisinze nnyo leero singa abasajja baalidde ku munyago gw’abalabe baabwe? Era tebandisse Abafirisuuti abasinga awo obungi?”
31 (S)Abayisirayiri we baamalira okutta Abafirisuuti okuva e Mikumasi okutuuka e Ayalooni nga bakooye nnyo. 32 (T)Ne badda ku munyago, ne baddira endiga n’ente n’ennyana ne bazisalira wansi ku ttaka ne balya ennyama n’omusaayi gwayo. 33 Awo omuntu omu n’ategeeza Sawulo nti, “Abantu basobya ku Mukama kubanga balya ennyama erimu omusaayi.”
N’ayogera nti, “Musobezza nnyo. Munjiringisirize wano ejjinja eddene kaakano.” 34 Sawulo n’agamba nti, “Muyiteeyite mu bantu mubategeeze nti, ‘Buli omu ku mmwe aleete ente ye n’endiga ye muzittire wano era mu zirye. Temuddangayo okusobya ku Mukama nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Awo buli omu ku bo n’aleeta ente ye ekiro ekyo n’agisalira awo. 35 (U)Sawulo n’azimbira Mukama ekyoto, era ekyo kye kyoto kye yasooka okuzimbira Mukama.
36 Awo Sawulo n’ayogera nti, “Tuserengete tugoberere Abafirisuuti ekiro kino tubanyage okutuusa emmambya lw’eneesala, era tuleme okulekawo wadde omu ku bo nga mulamu.” Ne bamuddamu nti, “Kola nga bw’osiima.”
Naye kabona n’ayogera nti, “Twebuuze ku Katonda wano.” 37 (V)Awo Sawulo ne yeebuuza ku Katonda ng’agamba nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwa Isirayiri?” Naye Katonda n’atamuddamu ku olwo.
38 (W)Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mujje wano mmwe mwenna abakulembeze b’abantu, tunoonyereze tulabe ekibi ekikoleddwa leero. 39 (X)Nga Mukama alokola Isirayiri bw’ali omulamu, ne bwe kinaaba ku mutabani wange Yonasaani, ateekwa kufa.” Naye ne wataba n’omu amwanukula.
40 Awo Sawulo n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Muyimirire ku ludda olwo, nze ne mutabani wange Yonasaani tunaayimirira ku ludda luno.” Abantu ne bamuddamu nti, “Kola nga bw’onoosiima.”
41 Sawulo n’asaba Mukama Katonda wa Isirayiri nti, “Kiki ekikugaanye okuddamu omuweereza wo leero? Omusango bwe guba nga guli ku nze oba ku mutabani wange Yonasaani ddamu ne Wumimu, naye bwe guba nga guli ku bantu bo Isirayiri, onaddamu ne Sumimu.” Awo akalulu ne kakubibwa era ne kagwa ku Sawulo ne Yonasaani mutabani we. 42 Awo Sawulo n’ayogera nti, “Mutukubire akalulu nze ne mutabani wange Yonasaani.” Yonasaani n’alondebwa.
43 (Y)Sawulo n’abuuza Yonasaani nti, “Mbulira ky’okoze.” Yonasaani n’amutegeeza nti, “Nakombyeko katono ku mubisi gw’enjuki nga nkozesa omusa gw’omuggo gwange. Kaakano ekyo kinsanyiza okufa?” 44 (Z)Sawulo n’amuddamu nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo bw’otoofe, Yonasaani!” 45 (AA)Naye abantu ne bagamba Sawulo nti, “Lwaki, Yonasaani akoze eby’amagero ebyo byonna mu Isirayiri afa? Ddala Yonasaani attibwe? Oyo aleetedde Isirayiri obununuzi obw’ekitalo? Nedda tekisoboka! Nga Mukama bw’ali omulamu, tewali luviiri na lumu lunaava ku mutwe gwe ne lugwa wansi, kubanga ebyo by’akoze leero Katonda y’amuyambye okubikola.” Abantu ne banunula Yonasaani bwe batyo, n’atattibwa. 46 Ne Sawulo n’alekeraawo okugoberera Abafirisuuti, nabo ne beddirayo mu nsi yaabwe.
47 (AB)Awo Sawulo bwe yalya obwakabaka bwa Isirayiri n’alwana n’abalabe be ku njuyi zonna: Mowaabu, n’Abamoni, ab’e Edomu, ne bakabaka ba Zoba, n’Abafirisuuti, na buli we yaddanga n’abawangula. 48 (AC)N’alwana n’obuzira bungi n’awangula Abamaleki, n’anunula Isirayiri okuva mu mukono gw’abo abaabanyaganga.
Enju ya Sawulo
49 (AD)Batabani ba Sawulo baali Yonasaani, ne Isuvi, ne Malukisuwa. Amannya ga bawala be ababiri gaali Merabu nga ye mukulu, ate omuto nga ye Mikali. 50 Omukyala we ye yali Akinoamu muwala wa Akimaazi. Omuduumizi w’eggye lye omukulu ye yali Abuneeri mutabani wa Neeri, taata wa Sawulo omuto. 51 (AE)Kiisi kitaawe wa Sawulo ne Neeri kitaawe wa Abuneeri baali batabani ba Abiyeeri. 52 (AF)Mu biro byonna ebya Sawulo, waaliwo okulwanagana okw’amaanyi n’Abafirisuuti, era buli Sawulo bwe yalabanga omusajja ow’amaanyi oba omuzira n’amuyingiza mu magye.
Ssaddaaka Ennamu
12 (A)Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo. 2 (B)So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.
3 (C)Kubanga njogera olw’ekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo ky’asaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza. 4 (D)Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo. 5 (E)Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo. 6 (F)Tulina ebirabo, ng’ekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri ey’enjawulo, oba bunnabbi, ng’ekigera ky’okukkiriza bwe kiri, 7 (G)oba buweereza, mu buweereza, oba omu okuyigiriza, mu kuyigiriza; 8 (H)oba omulala okugumya banne mu kubazzaamu amaanyi, oba omulala mu kugaba, oba omulala, okufuga n’obunyiikivu, n’omulala okulaga ekisa nga musanyufu.
Okwagala
9 (I)Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi, 10 (J)nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa, 11 (K)mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama, 12 (L)nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba. 13 (M)Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.
14 (N)Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga. 15 (O)Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba. 16 (P)Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.
17 (Q)Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna. 18 Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana n’abantu bonna; 19 abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama. 20 “Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.” 21 Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.
Ekibonerezo kya Babulooni
51 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Laba, ndiyimusa omwoyo gw’omuzikiriza
alumbe Babulooni n’abantu ba Lebukamaayi.
2 (A)Ndituma abagwira e Babulooni
bamuwewe era bazikirize ensi ye;
balimulumba ku buli luuyi
ku lunaku olw’okuzikirira kwe.
3 (B)Omulasi talikuba busaale bwe,
taliyambala wadde ebyambalo bye ebyokulwanyisa.
Temusonyiwa batabani be;
muzikiririze ddala amaggye ge.
4 (C)Baligwa nga battiddwa e Babulooni,
nga batuusiddwako ebiwundu eby’amaanyi mu nguudo ze.
5 (D)Kubanga Yuda ne Isirayiri tebinnalekebwa
Katonda waabwe, oyo Mukama Katonda ow’Eggye,
wadde ng’ensi yaabwe esingiddwa omusango
mu maaso g’Omutukuvu wa Isirayiri.
6 (E)“Mudduke Babulooni.
Mudduke okuwonya obulamu bwammwe.
Temusaanawo olw’ebibi bye.
Kiseera kya Mukama okwesasuza;
alimusasula ekyo ekimusaanira.
7 (F)Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama;
yatamiiza ensi yonna.
Amawanga gaanywa wayini we,
kyegavudde galaluka.
8 (G)Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka.
Mukikungubagire.
Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyo
oboolyawo anaawonyezebwa.
9 (H)“ ‘Twandiwonyezza Babulooni,
naye tayinza kuwonyezeka.
Leka tumuleke buli muntu adde mu nsi ye,
kubanga omusango gwe gutuuse mu bwengula,
gusituse gulinnye okutuuka ku bire.’
10 (I)“ ‘Mukama atulwaniridde,
mujje tukitegeeze mu Sayuuni
ekyo Mukama Katonda waffe ky’akoze.’
11 (J)“Muwagale obusaale,
mukwate engabo!
Mukama ayungudde bakabaka ab’e Bumeedi,
kubanga ekigendererwa kye kuzikiriza Babulooni.
Mukama aliwalana eggwanga,
aliwalana eggwanga olwa yeekaalu ye.
12 Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni!
Mwongereko abakuumi,
muteekeko abaserikale,
mutegeke okulumba mbagirawo!
Mukama alituukiriza ekigendererwa bye,
ensala ye okwolekera abantu ba Babulooni.
13 (K)Gwe abeera okumpi n’amazzi amangi,
omugagga mu bintu eby’omuwendo,
enkomerero yo etuuse,
ekiseera kyo eky’okuzikirizibwa kituuse.
14 (L)Mukama Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe;
ddala ndikujjuza abasajja, ng’ebibinja by’enzige,
era balireekaana nga bakuwangudde.
15 (M)“Ensi yagikola n’amaanyi ge;
yagiteekawo n’amagezi ge,
n’ayanjuluza eggulu n’okutegeera kwe.
16 (N)Bw’abwatuka, amazzi ag’omu ggulu gawuluguma;
ayimusa ebire okuva ku nkomerero y’ensi.
Amyansisa eggulu mu nkuba
era n’aggya empewo mu mawanika ge.
17 (O)“Buli muntu talina magezi wadde okutegeera;
Buli muweesi aswadde olw’ebifaananyi bya bakatonda by’akoze n’emikono gye.
Ebifaananyi bye bya bulimba;
tebirina mukka.
18 (P)Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
19 Oyo omugabo gwa Yakobo tali nga bano,
kubanga yakola ebintu byonna,
nga mwotwalidde n’eggwanga ly’omugabo gwe,
n’erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
20 (Q)“Muli mbazzi yange,
ekyokulwanyisa kyange eky’olutalo,
mmwe be nkozesa okubetenta amawanga,
mmwe be nkozesa okuzikiriza obwakabaka,
21 (R)era ggwe gwe ndikozesa okubetenta embalaasi n’omwebagazi,
ggwe gwe ndikozesa okubetenta ekigaali n’omuvuzi waakyo,
22 (S)era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi,
era ggwe ndikozesa okubetenta omukadde n’omuvubuka,
era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omuvubuka n’omuwala omuto.
23 (T)Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye,
ggwe gwe ndikozesa okubetenta omulimi n’ente ennume,
ggwe gwe ndikozesa okubetenta bagavana n’abakungu.
24 (U)“Ndisasula Babulooni ne bonna ababeeramu nga mulaba olw’ebibi byonna bye baakola mu Sayuuni,” bw’ayogera Mukama.
25 (V)“Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza,
mmwe abazikiriza ensi yonna,”
bw’ayogera Mukama.
“Ndikugolererako omukono gwange,
nkusuule ku mayinja g’ensozi,
nkufuule olusozi olutakyayaka.
26 (W)Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda,
wadde ejjinja lyonna okukola omusingi,
kubanga olibeera matongo emirembe gyonna,”
bw’ayogera Mukama.
27 (X)“Yimusa bendera mu ggwanga!
Fuuwa omulere mu mawanga!
Tegeka amawanga okumulwanyisa;
koowoola obwakabaka buno bumulumbe:
obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi.
Londa omuduumizi amulumba,
weereza embalaasi eziri ng’ekibinja ky’enzige.
28 (Y)Teekateeka amawanga okumulwanyisa;
bakabaka Abameedi,
bagavana baabwe era n’abakungu baabwe bonna,
n’amawanga ge bafuga.
29 (Z)Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi,
kubanga ebigendererwa bya Mukama eri Babulooni tebikyuka,
okuzikiriza ensi ya Babulooni
waleme kubaawo agibeeramu.
30 (AA)Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana;
basigadde mu bigo byabwe.
Baweddemu amaanyi;
bafuuse nga bakazi.
Ebifo bye mw’abeera byokeddwa omuliro;
emitayimbwa gy’oku nzigi ze gimenyeddwa.
31 (AB)Matalisi omu agoberera omulala,
omubaka omu n’agoberera munne,
okulangirira eri kabaka w’e Babulooni nti
ekibuga kye kyonna kiwambiddwa,
32 (AC)entindo z’emigga baziwambye,
ensenyi ziyidde omuliro,
n’abaserikale batidde.”
33 (AD)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
“Muwala wa Babulooni ali ng’egguuliro,
mu kiseera w’analinnyiririrwa;
ebiseera eby’okumukungula binaatera okutuuka.”
34 (AE)“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atukubyekubye,
atutabudde,
tufuuse ekikompe ekyereere.
Atumize ng’omusota
n’olubuto lwe n’alujjuza ebyassava byaffe ebiwooma,
ffe n’atusesema.
35 (AF)Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,”
bwe boogera abatuula mu Sayuuni.
“Leka omusaayi gubeere ku abo ababeera mu Babulooni,”
bwayogera Yerusaalemi.
36 (AG)Mukama kyava ayogera nti,
“Laba ndikulwanirira era ndikuwolerera eggwanga;
Ndikaliza ennyanja ye
n’ensulo ze.
37 (AH)Babulooni kirifuuka bifunvu,
mpuku ya bibe,
ekintu ekyenyinyalwa n’okusekererwa,
ekifo omutali abeeramu.
38 Abantu baakyo bonna bawuluguma ng’empologoma ento,
bavuumira wamu ng’abaana b’empologoma.
39 (AI)Naye nga bakyabuguumirira,
ndibategekera ekijjulo,
mbatamiize
balyoke balekaane nga baseka,
olwo beebake emirembe gyonna nga tebazuukuse,”
bw’ayogera Mukama.
40 “Ndibaserengesa
ng’abaana b’endiga, battibwe,
ng’endiga n’embuzi.
41 (AJ)“Sesaki nga kiriwambibwa,
okujaguza kw’ensi yonna kugwewo.
Babulooni kifuuse matongo eri amawanga!
42 (AK)Ennyanja eribuutikira Babulooni;
amayengo gaayo agawuluguma galigisaanikira.
43 (AL)Ebibuga bye birisigala matongo,
ensi enkalu ey’eddungu,
ensi eteriimu muntu,
eteyitamu muntu yenna.
44 (AM)Ndibonereza Beri mu Babulooni,
mmusesemye bye yali amize.
Amawanga nga tegakyesomba kugenda gyali.
Ne bbugwe wa Babulooni aligwa.
45 (AN)“Mukiveemu, abantu bange!
Mudduke muwonye obulamu bwammwe!
Mudduke muwone obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
46 (AO)Temutya wadde okuggwaamu amaanyi
ng’eŋŋambo ziyitiŋŋana mu nsi;
olugambo olumu lujja omwaka guno, olulala omwaka ogujja,
eŋŋambo z’entalo mu ggwanga,
era ez’omufuzi ng’alwana ne mufuzi munne.
47 (AP)Kubanga ekiseera kijja
lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda ba Babulooni abaakolebwa n’emikono;
ensi eyo yonna eritabanguka,
n’emirambo gy’abantu baayo abattiddwa gyonna gibeere omwo.
48 (AQ)Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu
birireekana olw’essanyu olwa Babulooni,
abalimuzikiriza balimulumba
okuva mu bukiikakkono,”
bw’ayogera Mukama.
49 (AR)“Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa,
nga bonna abaafa mu nsi yonna
bwe baweddewo olwa Babulooni.
50 (AS)Mmwe abawonye ekitala,
mwanguwe okugenda!
Mujjukire Mukama nga muli mu nsi ey’ewala,
mulowooze ku Yerusaalemi.”
51 (AT)“Tuweddemu amaanyi
kubanga tuvumiddwa
era tukwatiddwa ensonyi,
kubanga abagwira bayingidde
mu bifo ebitukuvu eby’ennyumba ya Mukama.”
52 (AU)“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
“lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda be, be yakola n’emikono,
era mu nsi ye yonna,
abaliko ebisago balisinda.
53 (AV)Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire
era ne yeenyweza n’ebigo bye eby’amaanyi,
ndimusindikira abazikiriza,”
bw’ayogera Mukama.
54 (AW)“Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni,
eddoboozi ery’okuzikirira okunene
okuva mu nsi y’Abakaludaaya.
55 (AX)Mukama alizikiriza Babulooni,
alizikiza oluyoogaano lwakyo olunene.
Amayengo g’abalabe galijja ng’amazzi amangi;
okuwuluguma kw’amaloboozi kuliwulirwa.
56 (AY)Omuzikiriza alirumba Babulooni;
abalwanyi be baliwambibwa,
n’emitego gyabwe girimenyebwa.
Kubanga Mukama Katonda asasula,
alisasula mu bujjuvu.
57 (AZ)Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,
ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi;
balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,”
bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.
58 (BA)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa
era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe;
abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba,
okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”
59 (BB)Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu. 60 (BC)Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni. 61 Yagamba Seraya nti, “Bw’otuuka mu Babulooni, laba ng’osoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino byonna. 62 (BD)Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’ 63 Bw’omalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati. 64 (BE)Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’ ”
Ebigambo bya Yeremiya bikoma awo.
Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi.
30 (A)Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,
kubanga wannyimusa;
n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
2 (B)Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,
n’omponya.
3 (C)Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,
n’omponya ekinnya.
4 (D)Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;
mutendereze erinnya lye ettukuvu.
5 (E)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
essanyu ne lijja nga bukedde.
6 Bwe namala okunywera
ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
7 (F)Ayi Mukama, bwe wanjagala,
wanyweza olusozi lwange;
naye bwe wankweka amaaso go
ne neeraliikirira.
8 Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;
ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
9 (G)“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya
ne nzikirira?
Enfuufu eneekutenderezanga
n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;
Ayi Mukama, onnyambe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.