Bible in 90 Days
Zikusanze Ekibuga kya Dawudi
29 (A)Zikusanze ggwe Alyeri[a],
Alyeri ekibuga Dawudi kye yabeeramu,
yongera omwaka ku mwaka,
n’entuuko zo ez’embaga zigende mu maaso.
2 (B)Wabula ndizingiza Alyeri,
alikuba ebiwoobe era alikungubaga,
era aliba gye ndi ng’ekyoto kya Alyeri.
3 (C)Ndikuba olusiisira okukwetooloola wonna,
era ndikwetoolooza eminaala,
ne nkusaako ebifunvu.
4 (D)Olikkakkanyizibwa era olyogera ng’oli mu ttaka,
n’ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng’oli mu nfuufu.
Eddoboozi lyo liriba ng’ery’oyo aliko akazimu nga liva mu ttaka,
n’ebigambo byo biriba bya kyama nga biva mu nfuufu.
5 (E)Naye abalabe bo abangi
baliba ng’enfuufu eweweddwa,
n’ebibinja by’abakozi b’ebibi abasingayo obubi
bibe ng’ebisasiro ebifuumuuka.
6 (F)Amangwago mu kaseera katono Mukama Katonda ow’Eggye alikukyalira
mu kubwatuuka ne mu musisi,
ne mu ddoboozi ery’omwanguka,
ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza.
7 (G)Awo ebibinja by’amawanga gonna ebirwana ne Alyeri birimulumba,
birirumba n’ekigo kye ne bimutaayiza;
kiriba ng’ekirooto,
ng’okwolesebwa mu kiro
8 (H)ng’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alya
naye bw’agolokoka n’asigala ng’akyalumwa enjala;
oba ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywa
naye n’agolokoka nga munafu ng’akyalumwa ennyonta.
Ekyo kye kirituuka ku bibinja by’amawanga gonna
agalwana n’Olusozi Sayuuni.
9 (I)Muwuniikirire era mwewuunye
Muzibirire era muzibe amaaso;
Batamiire, naye si na nvinnyo,
batagala, naye si lwa mwenge.
10 (J)Mukama akuwadde otulo tungi,
azibye amaaso gammwe bannabbi,
era abisse emitwe gyammwe abalabi.
11 (K)Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.” 12 Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.”
13 (L)Mukama agamba nti,
“Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe,
ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe,
naye ng’emitima gyabwe gindi wala.
Okunsinza kwe bansinza,
biragiro abantu bye baayigiriza.
14 (M)Noolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano.
Amagezi g’abagezi galizikirira,
n’okutegeera kw’abategeevu
kuliggwaawo.”
15 (N)Zibasanze abo abakola kyonna kye basobola
okukweka Mukama enteekateeka zaabwe,
abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti,
“Ani atulaba? Ani alimanya?”
16 (O)Mufuula ebintu
ne birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba.
Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti,
“Teyankola”?
Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti,
“Talina ky’amanyi”?
17 (P)Mu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu,
n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira?
18 (Q)Mu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo,
n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza.
19 (R)Abawombeefu balisanyukira mu Mukama nate,
n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri.
20 (S)Weewaawo asinga obubi aliggwaawo,
n’omunyoomi alibula,
n’abo bonna abeesunga okukola obutali butuukirivu,
21 (T)abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya,
abatega eyeerwanako mu mbuga z’amateeka, abawa obujulizi obw’obulimba,
ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga z’amateeka, balisalibwako.
22 (U)Noolwekyo Mukama eyanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti,
Yakobo taliddayo kuswazibwa,
n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka.
23 (V)Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe,
balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu.
Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo
era baliyimirira
ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.
24 (W)Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera,
n’abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.
Zirisanze Eggwanga Ejjeemu
30 (X)“Zibasanze abaana abajeemu,
Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukiriza
ne batta omukago[b] awatali Mwoyo wange
ne bongera ekibi ku kibi,” bw’ayogera Mukama.
2 (Y)“Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako,
ne banoonya obuyambi ewa Falaawo,
n’okuva eri ekisiikirize kya Misiri
okuba obuddukiro.
3 (Z)Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa,
n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza.
4 (AA)Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowani
n’ababaka baabwe batuuse e Kanesi,
5 (AB)buli muntu aliswazibwa
olw’eggwanga eritabagasa,
abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso,
okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama.
6 (AC)Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno:
Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku
ne batawaanyizibwa
mu nsi erimu empologoma ensajja n’enkazi,
erimu essalambwa n’omusota ogw’obusagwa
nga batadde eby’obugagga byabwe ku ndogoyi,
n’ebintu byabwe eby’omuwendo ku mabango g’eŋŋamira
nga boolekedde ensi etaliimu magoba.
7 Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono.
Kyenva muyita Lakabu
ataliiko kyayinza kukola.
8 (AD)Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande,
okiwandiike ku mizingo,
kibabeererenga obujulizi
obw’emirembe n’emirembe mu nnaku ezigenda okujja.
9 (AE)Weewaawo bano bantu bajeemu,
baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.
10 (AF)Bagamba abalabi nti,
“Temuddayo kufuna kwolesebwa,”
N’eri bannabbi boogera nti,
“Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu.
Mututegeeze ebitusanyusa,
mulagule ebituwabya.
11 (AG)Muve mu kkubo lino,
mukyame muve ku luguudo luno,
mulekeraawo okututegeeza
ku Mutukuvu wa Isirayiri.”
12 (AH)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Olw’okugaana obubaka buno,
ne mwesiga okunyigirizibwa,
ne mwesiga omulimba,
13 (AI)ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
alimu enjatika era azimbye,
okutemya n’okuzibula ng’agudde.
14 (AJ)Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”
15 (AK)Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe,
mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe,
naye temufuddeeyo.
16 (AL)Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’
Kyoliva odduka.
Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’
Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.
17 (AM)Abantu olukumi balidduka
olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu;
Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano,
olidduka,
Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi,
ng’ebendera eri ku kasozi.”
18 (AN)Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;
era agolokoka okukulaga okusaasira.
Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya,
balina omukisa bonna abamulindirira.
19 (AO)Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula. 20 (AP)Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona,[c] abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go. 21 (AQ)Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.” 22 (AR)Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”
23 (AS)Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi. 24 (AT)Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo. 25 (AU)Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu. 26 (AV)Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.
27 (AW)Laba, erinnya lya Mukama liva wala
n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire;
emimwa gye gijjudde ekiruyi,
n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.
28 (AX)Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi
agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago.
Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa
era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.
29 (AY)Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;
omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere
ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.
30 Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,
alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.
31 (AZ)Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli,
alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka.
32 (BA)Buli muggo Mukama gw’anakukubanga
n’oluga lwe olubonereza,
guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli,
ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo.
33 (BB)Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka;
ky’ateekebwateekebwa kabaka.
Ekinnya kyakyo eky’omuliro
kiwanvu era kigazi,
kijjudde omuliro n’enku;
omukka gwa Mukama
gugukoleeza ng’omugga gwa salufa.
Zibasanze abo Abeesiga Misiri
31 (BC)Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa,
abeesiga embalaasi,
abeesiga amagaali gaabwe amangi,
abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi
ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri
wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.
2 (BD)Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi;
tajjulula bigambo bye.
Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu,
ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.
3 (BE)Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda
n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri.
Katonda bw’agolola omukono gwe
oyo ayamba, alyesittala,
n’oyo ayambibwa aligwa
era bombi balizikiririra wamu.
4 (BF)Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti,
“Ng’empologoma bwe wuluguma,
empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo
era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba
kiyitibwa awamu okugirumba,
tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe,
newaakubadde oluyoogaano lwabwe.
Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta,
okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.
5 (BG)Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,
bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi;
alikikuuma, n’akiwonya,
alikiyitamu n’akirokola.”
6 Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri. 7 (BH)Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.
8 (BI)“Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu;
ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo.
Alidduka ekitala,
n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze.
9 (BJ)Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya,
n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,”
bw’ayogera Mukama
nannyini muliro oguli mu Sayuuni,
era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.
Obwakabaka obw’Obutuukirivu
32 (BK)Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu,
n’abafuzi balifuga mu bwenkanya.
2 (BL)Buli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo,
ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga,
ng’emigga gy’amazzi mu ddungu,
ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta.
3 (BM)Olwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba,
n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.
4 (BN)Omutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera,
n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi.
5 (BO)Omusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa,
newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa.
6 (BP)Omusirusiru ayogera bya busirusiru,
n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu.
Akola eby’obutatya Katonda,
era ayogera bya bulimba ku Mukama,
n’abayala abaleka tebalina kintu,
n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.
7 (BQ)Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.
8 (BR)Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa,
era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.
9 (BS)Mmwe abakazi abateefiirayo,
mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange;
mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu,
muwulire bye ŋŋamba.
10 (BT)Mu mwaka gumu oba n’okusingawo,
mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya,
amakungula g’emizabbibu galifa,
n’amakungula g’ebibala tegalijja.
11 (BU)Mutye mmwe abakazi abateefiirayo,
mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu.
Muggyeko engoye zammwe,
mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
12 (BV)Munakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa,
olw’emizabbibu egyabalanga,
13 (BW)n’olw’ensi ey’abantu bange,
ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti.
Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu,
na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.
14 (BX)Weewaawo ekigo kirirekebwawo,
ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa.
Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna,
ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo,
15 (BY)okutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu,
n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu,
n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira.
16 Obwenkanya bulituula mu ddungu,
n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.
17 (BZ)Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe,
n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.
18 (CA)Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe,
mu maka amateefu
mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.
19 (CB)Omuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo,
n’ekibuga ne kiggirwawo ddala,
20 (CC)ggwe oliraba omukisa,
ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna,
n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala.
33 (CD)Zikusanze ggwe omuzikiriza
ggwe atazikirizibwanga.
Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala,
ggwe, gwe batalyangamu lukwe,
bw’olirekaraawo okuzikiriza,
olizikirizibwa.
Bw’olirekeraawo okulya mu balala olukwe,
balikulyamu olukwe.
2 (CE)Ayi Mukama tusaasire,
tukuyaayaanira.
Obeere amaanyi gaffe buli makya,
obulokozi bwaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku.
3 (CF)Olw’eddoboozi ery’okubwatuka, abantu balidduka,
bw’ogolokoka, amawanga gasaasaana.
4 Omunyago gwo, gukungulwa enzige ento,
era abantu bagugwako ng’ekibinja ky’enzige.
5 (CG)Mukama agulumizibwe, kubanga atuula waggulu,
alijjuza Sayuuni n’obwenkanya n’obutuukirivu.
6 (CH)Y’aliba omusingi omugumu mu biro byo,
nga lye tterekero eggagga ery’obulokozi, n’amagezi n’okumanya.
Okutya Mukama kye kisumuluzo kye tterekero ly’obugagga obwo.
7 (CI)Laba abasajja abazira ab’amaanyi bakaabira mu nguudo mu ddoboozi ery’omwanguka,
n’ababaka ab’emirembe bakaaba nnyo.
8 (CJ)Enguudo ennene tezitambulirwako,
tewali azitambulirako.
Endagaano yamenyebwa,
n’abajulizi baayo banyoomebwa,
tewali assibwamu kitiibwa.
9 (CK)Ensi ekungubaga era eyongobera,
Lebanooni aswadde era awotose;
Saloni ali ng’eddungu,
ng’asuula Basani ne Kalumeeri.
10 (CL)Mukama agamba nti, “Kaakano nnaagolokoka,
kaakano nnaagulumizibwa,
kaakano nnaayimusibwa waggulu.
11 (CM)Ofuna olubuto olw’ebisusunku,
ozaala ssubi,
omukka gwo, muliro ogukusaanyaawo.
12 (CN)Abantu balyokebwa nga layimu bw’ayokebwa,
balyokebwa omuliro ng’ebisaka by’amaggwa amasale.”
13 (CO)Mmwe abali ewala, mutegeere kye nkoze.
Mmwe abali okumpi, mukkirize amaanyi gange.
14 (CP)Abakozi b’ebibi ab’omu Sayuuni batidde,
okutya kujjidde abatalina Katonda.
“Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogusaanyaawo?
Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogutaliggwaawo?”
15 (CQ)Atambulira mu butuukirivu,
n’ayogera ebituufu,
oyo atatwala magoba agava mu bubbi,
n’akuuma emikono gye obutakkiriza nguzi,
aziba amatu ge n’atawulira ntegeka za kutta,
n’aziba amaaso ge obutalaba nteekateeka ezitali za butuukirivu,
16 (CR)ye muntu alituula waggulu mu bifo ebya waggulu,
n’obuddukiro bwe buliba ebigo eby’omu nsozi.
Aliweebwa emmere,
n’amazzi tegalimuggwaako.
17 (CS)Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe,
ne galaba ensi eyeewala.
18 (CT)Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ng’ogamba nti,
“Omukungu omukulu ali ludda wa?
Ali ludda wa eyasoloozanga omusolo?
Omukungu avunaanyizibwa eminaala ali ludda wa?”
19 (CU)Toliddayo kulaba bantu abo ab’amalala,
abantu ab’olulimi olutamanyiddwa,
olulimi olutategeerekeka.
20 (CV)Tunuulira Sayuuni ekibuga eky’embaga zaffe,
amaaso go galiraba Yerusaalemi,
ekifo eky’emirembe, eweema etalisimbulwa
enkondo zaayo tezirisimbulwa,
newaakubadde emiguwa gyayo okukutulwa.
21 (CW)Weewaawo Mukama aliba Amaanyi gaffe
era aliba ekifo eky’emigga emigazi n’ensulo engazi.
Temuliyitamu lyato
newaakubadde ekyombo ekinene tekiriseeyeeyeramu.
22 (CX)Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe,
Mukama y’atuwa amateeka,
Mukama ye Kabaka waffe,
y’alitulokola.
23 (CY)Emiguwa gyo gisumulukuse
n’omulongooti si munywevu,
n’ettanga si lyanjuluze.
Awo omugabo omungi guligabanyizibwamu,
n’abalala balitwala eby’omunyago.
24 (CZ)Tewali abeera mu Sayuuni alyogera nti, “Ndi mulwadde,”
n’abo ababeeramu balisonyiyibwa ekibi kyabwe.
Amawanga gasalirwa Omusango
34 (DA)Musembere mmwe amawanga muwulirize.
Musseeyo omwoyo mmwe abantu.
Ensi ewulirize, ne byonna ebigirimu,
ensi ne byonna ebigivaamu.
2 (DB)Mukama anyiigidde amawanga gonna,
ekiruyi kye kiri ku magye gaabwe gonna.
Alibazikiririza ddala,
alibawaayo okuttibwa.
3 (DC)Abantu baabwe abattibwa balisuulibwa ebweru,
n’emirambo gyabwe giriwunya,
n’ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe.
4 (DD)Emmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka,
n’eggulu liryezingako ng’omuzingo;
n’eggye ery’omu ggulu lirigwa,
ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu,
ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.
5 (DE)Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu,
era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango,
abantu be mmaliddewo ddala.
6 Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
7 (DF)Embogo zirifiira wamu nazo,
n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo.
Ensi yaabwe erijjula omusaayi,
n’enfuufu erinnyikira amasavu.
8 (DG)Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga,
omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
9 Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo,[d]
n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya.
Ensi ye erifuuka ng’obulimbo[e] obuggya omuliro.
10 (DH)Talizikizibwa emisana n’ekiro,
n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna.
Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe,
era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
11 (DI)Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu.
Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo.
Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika,
n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
12 (DJ)Abakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka,
n’abalangira be bonna baliggwaawo.
13 (DK)Amaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye,
n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa.
Aliyiggibwa ebibe,
era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
14 (DL)Ensolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi,
n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza.
Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula
nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
15 (DM)Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi,
ne kigaalula,
ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo.
Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.
16 (DN)Tunula mu muzingo gwa Mukama osome.
Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo,
era ekirume kiriba n’ekikazi, n’ekikazi ne kiba n’ekirume.
Akamwa ka Mukama ke kalagidde,
era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya.
17 (DO)Agabira buli kimu omugabo gwakyo,
era omukono gwe gubigabanyiza mu kigera.
Birikibeeramu ennaku zonna,
bibeere omwo emirembe n’emirembe.
Essanyu ly’Abanunule
35 (DP)Eddungu n’ensi enkalu birijaguza;
Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu.
Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti 2 (DQ)birimeruka,
birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka.
Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa,
ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni;
baliraba ekitiibwa kya Mukama,
ekitiibwa kya Katonda waffe.
3 (DR)Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye.
4 (DS)Mugambe abo abalina omutima omuti nti,
Mubeere n’amaanyi temutya:
laba Katonda wammwe alijja;
alibalwanirira,
alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda,
era alibalokola.
5 (DT)Olwo amaaso g’abazibe galiraba,
era n’amatu ga bakiggala galigguka;
6 (DU)omulema alibuuka ng’ennangaazi,
n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu.
Amazzi galifubutuka
ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.
7 (DV)N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba,
n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi.
Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo,
n’essaalu, n’ebitoogo.
8 (DW)Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo,
eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu.
Abatali balongoofu tebaliriyitamu,
liriba ly’abali abalongoofu,
kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu.
9 (DX)Teribaayo mpologoma,
so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe;
tezirirabikayo,
naye abanunule balitambulira eyo.
10 (DY)N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba,
n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde.
Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza,
okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.
Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi
36 (DZ)Awo olwatuuka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n’abiwamba. 2 (EA)Awo kabaka w’e Bwasuli n’asindika Labusake omuduumizi we ow’oku ntikko okuva e Lakisi n’eggye eddene ayolekere Yerusaalemi ewa kabaka Keezeekiya. Omuduumizi ono n’asimba amakanda ku mabbali g’omukutu gw’amazzi omunene ku luguudo olugenda ku Nnimiro y’Omwozi w’Engoye. 3 (EB)Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali akulira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoswa mutabani wa Asafu eyavunaanyizibwanga ebiwandiiko ne bafuluma okumusisinkana.
4 Labusake n’abagamba nti,
“Mugambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki ddala kye weesiga? 5 (EC)Olowooza ebigambo obugambo birina amaanyi n’amagezi okuwangula olutalo. Ani gwe weesiga olyoke onjemere? 6 (ED)Laba weesiga Misiri, ogwo omuggo obuggo, olumuli olubetente, oluyinza okufumita engalo z’omuntu ng’alwesigamyeko: bw’atyo Falaawo, ye kabaka w’e Misiri bw’ayisa bonna abamwesiga.’ 7 (EE)Naye bw’onoŋŋamba nti, ‘Twesiga Mukama Katonda waffe,’ si ye yali nannyini byoto n’ebifo ebigulumivu Keezeekiya bye yaggyawo n’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, ‘Mu maaso g’ekyoto kino we munaasinzizanga’?
8 “ ‘Kale nno Mukama wange Kabaka w’e Bwasuli agamba nti, Ajja kukuwa embalaasi enkumi bbiri bw’obanga ddala olina abanaazeebagala. 9 (EF)Mu mbeera eyo gy’olimu oyinza otya okuwangula wadde omuduumizi asembayo obunafu mu gye lyaffe ne bwe weesiga ebigaali n’embalaasi za Misiri? 10 (EG)Ate ekirala olowooza nzize okulumba ensi eno n’okugizikiriza nga Mukama si y’andagidde? Mukama yaŋŋamba nnumbe ensi eno ngizikirize.’ ”
11 (EH)Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yoswa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera n’abaddu bo mu Lusuuli kubanga tulumanyi, toyogera naffe mu Luyudaaya[f] ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.”
12 Naye Labusake n’ayogera nti, “Ebyo ebigambo Mukama wange yantumye kubyogera eri mukama wo n’eri ggwe mwekka, so si n’eri abasajja abatudde ku bbugwe abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n’okunywa omusulo gwabwe?”
13 (EI)Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli. 14 Kabaka agambye bw’ati nti, Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba tayinza kubawonya. 15 (EJ)Temukkiriza Keezeekiya kubasigula ng’abagamba nti, ‘Mukama ddala ajja kutununula, ekibuga kino tekijja kugwa mu mukono gwa Bwasuli.’
16 (EK)“Temuwuliriza Keezeekiya kubanga bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lw’alirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli omu alinywa ku mazzi ag’omu kidiba kye, 17 okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano ne wayini, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu.’
18 “Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng’ayogera nti, ‘Mukama alibalokola.’ Waliwo katonda yenna ow’amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? 19 Bali ludda wa bakatonda ab’e Kamasi ne Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab’e Sefarayimu? Baali bawonyezza Samaliya mu mukono gwange? 20 (EL)Baani ku bakatonda bonna ab’ensi ezo abaali bawonyezza ensi zaabwe mu mukono gwange? Kale Mukama asobola atya okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?”
21 (EM)Kyokka bo baasirika busirisi tebaddamu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”
22 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali akulira olubiri ne Sebuna Omuwandiisi ne Yoswa mutabani wa Asafu Omukuumi w’ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.
Keezeekiya Akaabirira Mukama
37 Awo kabaka Keezeekiya bwe yabiwulira n’ayuza engoye ze n’ayambala ebibukutu n’ayingira mu nnyumba ya Mukama. 2 (EN)N’atuma Eriyakimu eyali akulira olubiri ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi. 3 (EO)Ne bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala. 4 (EP)Oboolyawo Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka w’e Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n’amunenya olw’ebigambo by’awulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.”
5 Abaddu ba kabaka Keezeekiya bwe bajja eri Isaaya, 6 (EQ)Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. 7 (ER)Laba ndimusindikira omwoyo omubi, awulire olugambo addeyo mu nsi ye. Era eyo gye ndimuzikiririza afe ekitala.’ ”
8 (ES)Awo Labusake omuduumizi wa Bwasuli bwe yaddayo, n’asanga kabaka w’e ng’alwana ne Libuna: kubanga yawulira nti avudde e Lakisi.
9 (ET)Ate era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti, 10 (EU)“Keezeekiya kabaka wa Yuda mumugambe nti, Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti, ‘Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11 (EV)Laba wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye baakola amawanga gonna, ne bagazikiririza ddala. Mwe munaawona? 12 (EW)Amawanga bakitange ge baasaanyaawo, Gozani, ne Kalani, ne Lezefu n’abantu ba Adeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago, baabayamba? 13 Ali ludda wa kabaka w’e Kamasi ne kabaka w’e Alupadi ne kabaka w’ekibuga Sefarayimu oba ow’e Keena, oba ow’e Yiva?”
Okusaba kwa Keezeekiya
14 Keezeekiya n’aggya ebbaluwa mu mukono gw’ababaka n’agisoma: Keezeekiya n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 15 N’asaba ne yeegayirira Mukama nga agamba nti, 16 (EX)“Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omu nsi, ggwe wakola eggulu n’ensi. 17 (EY)Otege okutu kwo Ayi Mukama owulire, ozibule amaaso go, Ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu.
18 (EZ)“Mazima ddala Mukama, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n’ensi zaago, 19 (FA)ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. 20 (FB)Kale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegeere nga ggwe wekka ggwe Mukama.”
21 (FC)Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’atumira Keezeekiya ng’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli, 22 (FD)kino kye kigambo kye mmwogeddeko:
“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera
akunyooma era akusekerera.
Omuwala wa Yerusaalemi
akunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka.
23 (FE)Ani gw’ovumye
gw’ovodde?
Era ani gw’oyimuyisirizzaako eddoboozi lyo n’okanulira n’amaaso?
Omutukuvu wa Isirayiri!
24 (FF)Okozesezza abaddu bo
okuvuma Mukama n’oyogera nti,
Nyambuse n’amagaali gange amangi ku ntikko y’olusozi,
ntuuse ku njuyi ez’omunda eza Lebanooni;
era ntemedde ddala emivule gyakwo emiwanvu,
n’enfugo zaakwo ezisinga obulungi,
era natuuka ne ku lusozi lwakwo olukomererayo,
ekibira kyayo ekisinga obunene.
25 (FG)Waduula nti wasima enzizi
era n’onywa n’amazzi mu mawanga
era nti ebigere by’abajaasi bo
byakaliza amazzi g’omugga Kiyira mu Misiri.’
26 (FH)“Tewawulira nga nakisalawo dda?
Nakiteekateeka dda.
Mu biro eby’edda nakiteekateeka;
era kaakano nkituukirizza,
olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe
okuba ng’entuumo y’amayinja.
27 (FI)Abantu baamu kyebaavanga baggwaamu amaanyi,
ne baterebuka
ne bakeŋŋentererwa
ne baba ng’essubi mu nnimiro, ng’omuddo omuto,
ng’omuddo ogumera ku nnyumba
ogwokebwa ne gufa nga tegunnakula.
28 (FJ)“Naye mmanyi obutuuliro bwo
era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo
n’obuswandi bw’ondaga.
29 (FK)Kubanga oneereegeddeko,
okwepanka kw’okoze nkutuuseeko.
Era kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo,[g]
n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo,
nkuzzeeyo
ng’opaala mu kkubo lye wajjiramu.”
Katonda Atuukiriza Ekisuubizo kye
30 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti,
“Kano ke kabonero akanaakuweebwa:
Omwaka guno mugenda kulya eŋŋaano eyeemeza yokka.
Eno gye muliryako n’omwaka ogwokubiri.
Mu mwaka ogwokusatu
mulirya ku birime byammwe bye musize
era ne mukungula mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu.
31 (FL)Abantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbe
emirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala.
32 (FM)Mu Yerusaalemi walibaawo abalisigalawo
ne ku Lusozi Sayuuni walibeerawo abaliwona,
kubanga Mukama Ayinzabyonna mu bumalirivu bwe,
yeewaddeyo okukikola.
33 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku Kabaka w’e Bwasuli nti,
“Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino
wadde okulasayo akasaale.
Talikisemberera n’engabo
newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
34 (FN)Ekkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo.
Tajja kuyingira mu kibuga kino,”
bw’ayogera Mukama.
35 (FO)“Ndirwanirira ekibuga kino
nkirokole.”
36 (FP)Awo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo. 37 (FQ)Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’addayo n’abeera e Nineeve.
38 (FR)Lumu bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki, ne Salezeri batabani be ne bamusalira olukwe ne bamutta: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n’amusikira.
Okusaba Kwa Keezeekiya ng’Alwadde
38 (FS)Mu nnaku ezo Keezeekiya n’alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Teekateeka ennyumba yo, kubanga togenda kulama, ogenda kufa.”
2 Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunuulira ekisenge n’asaba ne yeegayirira Mukama 3 (FT)ng’agamba nti, “Jjukira kaakano, Ayi Mukama, nkwegayiridde, engeri gye natambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogutuukiridde, ne nkola ebisaanidde mu maaso go.” Era Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga.
4 Awo Ekigambo kya Katonda ne kijja eri Isaaya, 5 (FU)nga Mukama agamba nti, “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti, Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’ettaano. 6 (FV)Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino.
7 (FW)“ ‘Era kano ke kabonero k’onoofuna okuva eri Mukama nti Mukama alikola ekigambo ky’ayogedde. 8 (FX)Laba nzija kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi enjuba bw’eneeba egwa, ky’eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bw’etyo enjuba n’edda emabega ebigere kkumi.
9 Awo Keezeekiya Kabaka wa Yuda bwe yassuuka, n’awandiika ebigambo bino;
10 (FY)nayogera nti, “Mu maanyi g’obulamu bwange
mwe nnali ŋŋenda okufiira nnyingire mu miryango gy’emagombe,
nga simazeeyo myaka gyange egisigaddeyo.”
11 (FZ)Ne ndyoka njogera nti,
“Sigenda kuddayo kulaba Mukama,
mu nsi y’abalamu.
Sikyaddamu kulaba bantu mu nsi abantu mwe babeera.
12 (GA)Obulamu bwange buzingiddwako
ng’eweema y’omusumba w’endiga bw’enzigibwako.
Ng’olugoye lwe babadde balanga ate ne balusala ku muti kwe babadde balulukira,
bwe ntyo bwe nawuliranga emisana n’ekiro nga obulamu bwange
obumalirawo ddala.
13 (GB)Ekiro kyonna nakaabanga olw’obulumi
nga ndi ng’empologoma gw’emmenyaamenya amagumba,
ekiro n’emisana nga ndowooza nga Mukama yali amalawo obulamu bwange.
14 (GC)Nakaabanga ng’akasanke oba akataayi,
n’empuubaala ng’enjiibwa,
amaaso gange ne ganfuyirira olw’okutunula mu bbanga eri eggulu.
Ne nkaaba nti, Ayi Mukama, nga nnyigirizibwa, nziruukirira.”
15 (GD)Naye ate nga naagamba ki?
Yali ayogedde nange nga ye yennyini ye yali akikoze.
N’atambulanga n’obwegendereza mu bulumi buno
obw’obulamu bwange.
16 (GE)Ayi Mukama, olw’ebyo, abantu babeera abalamu,
era mu ebyo omwoyo gwange mwe gubeerera omulamu.
Omponye,
mbeere mulamu.
17 (GF)Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange,
naye ggwe owonyezza obulamu bwange okugwa mu bunnya obw’okuzikirira.
Kubanga otadde ebibi byange byonna
emabega wo.
18 (GG)Kubanga tewali n’omu mu nsi y’abafu ayinza kukutendereza,
abafu tebayinza kukusuuta;
tebaba na ssuubi
mu bwesigwa bwo.
19 (GH)Akyali omulamu,
y’akutendereza nga nze bwe nkola leero;
bakitaabwe b’abaana babategeeza
nga bw’oli omwesigwa ennyo.
20 (GI)Mukama alindokola,
kyetunaavanga tuyimba
ne tukuba n’ebivuga eby’enkoba ennaku zonna ez’obulamu bwaffe,
mu nnyumba ya Mukama.
21 Isaaya yali agambye nti, “Baddire ekitole ky’ettiini bakisiige ku jjute, liwone.”
22 Kubanga Keezeekiya yali abuuzizza nti, “Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne ntuuka okulagako mu nnyumba ya Mukama?”
Ababaka Okuva e Babulooni
39 (GJ)Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni, n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ng’awonye. 2 (GK)Keezeekiya n’abasanyukira, n’abalaga ennyumba ye ey’ebintu bye eby’omuwendo omungi, effeeza ne zaabu, n’ebyakaloosa, n’amafuta ag’omuwendo omungi, n’ennyumba yonna ey’ebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
3 (GL)Awo Isaaya nnabbi n’ajja eri kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gy’oli?”
Keezeekiya n’amuddamu nti, “Bazze wange, bava mu nsi ey’ewala e Babulooni.”
4 N’amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?”
Keezeekiya n’addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu byobugagga bwange kye sibalaze.”
5 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba: 6 (GM)Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama. 7 (GN)N’abamu ku batabani bo, ggwe kennyini b’ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni ne balaayibwa.”
8 (GO)Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky’oŋŋambye kirungi.” Kubanga yalowooza nti, “Kasita emirembe, n’obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”
Ebigambo eby’Essuubi
40 (GP)Mugumye, mugumye abantu bange,
bw’ayogera Katonda wammwe.
2 (GQ)Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti,
entalo ze ziweddewo,
n’obutali butuukirivu bwe
busasuliddwa.
Era Mukama amusasudde emirundi ebiri
olw’ebibi bye byonna.
3 (GR)Eddoboozi ly’oyo ayogera
liwulikika ng’agamba nti,
“Muteeketeeke ekkubo lya Mukama mu ddungu,
mutereeze oluguudo lwe mu ddungu.
4 (GS)Buli kiwonvu kirigulumizibwa,
na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa.
N’obukyamu buligololwa,
ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.
5 (GT)Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa,
ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu,
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
6 (GU)Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
“Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.”
Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti,
“Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.
7 (GV)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako.
Mazima abantu muddo.
8 (GW)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”
9 (GX)Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi,
werinnyire ku lusozi oluwanvu;
ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi,
yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya.
Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
10 (GY)Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi
era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo.
Laba empeera ye eri mu mukono gwe,
buli muntu afune nga bw’akoze.
11 (GZ)Aliisa ekisibo kye ng’omusumba,
akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe
n’abasitula mu kifuba kye,
n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.
12 (HA)Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye,
n’apima eggulu n’oluta,
n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo,
oba n’apima ensozi ku minzaani,
n’obusozi ku kipima?
13 (HB)Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa Mukama?
Ani ayinza okumuyigiriza n’amuwa amagezi?
14 (HC)Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi,
era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu?
Ani eyali amusomesezza eby’amagezi n’amulaga okuyiga,
n’okumanya n’okutegeera?
15 Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa,
era ng’enfuufu ekutte ku minzaani,
apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.
16 (HD)N’ensolo zonna ez’omu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe,
n’emiti gyamu gyonna mitono nnyo tegisobola kuvaamu nku zimala.
17 (HE)Amawanga gonna ag’omu nsi
gabalibwa mu maaso ge,
gy’ali gabalibwa nga si kintu n’akamu.
18 (HF)Kale ani gwe mulifaananya Katonda?
Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19 (HG)Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba,
n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu,
n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.
20 (HH)Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza
oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda
ne yenoonyeza omukozi omugezigezi
okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole.
21 (HI)Temunnamanya,
temunnawulira,
temubuulirwanga
okuva ku kutondebwa kw’ensi?
22 (HJ)Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu,
era gy’ali abantu bali ng’amayanzi.
Atimba eggulu ng’olutimbe
era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.
23 (HK)Afuula abafuzi obutaba kintu,
afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.
24 (HL)Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa,
biba byakasigibwa,
biba byakaleeta emirandira,
nga abifuuwa nga biwotoka,
ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.
25 (HM)“Kale mulinfaananya ani,
ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu.
26 (HN)Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu.
Ani eyatonda ebyo byonna?
Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu,
byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo.
Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso,
tewali na kimu kibulako.
27 (HO)Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti,
“Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu,
era tafaayo nga tuggyibwako
eddembe lyaffe ery’obwebange”?
28 (HP)Tonnamanya?
Tonnawulira?
Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.
Omutonzi w’enkomerero y’ensi.
Tazirika so takoowa
era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
29 (HQ)Awa amaanyi abazirika,
n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30 (HR)Abavubuka bazirika, bakoowa,
n’abalenzi bagwira ddala.
31 (HS)Naye abo abalindirira Mukama
baliddamu buggya amaanyi gaabwe,
balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;
balidduka mbiro ne batakoowa,
balitambula naye ne batazirika.
Katonda Agumya Isirayiri
41 (HT)“Musirike mumpulirize mmwe ebizinga,
amawanga gaddemu amaanyi.
Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero.
Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu.
2 (HU)“Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba,
eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu?
Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga,
n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye,
obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro
ebitwalibwa empewo?
3 N’agenda ng’abagoba embiro n’ayita bulungi mu makubo
ebigere bye gye by’ali bitayitanga.
4 (HV)Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu
okuva ku lubereberye?
Nze Mukama ow’olubereberye
era ow’enkomerero, nze wuuyo.”
5 (HW)Ebizinga by’alaba ne bitya;
n’ensi yonna n’ekankana: baasembera kumpi ne batuuka.
6 Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti;
“Guma omwoyo!”
7 (HX)Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo,
n’oyo ayooyoota n’akayondo
n’agumya oyo akuba ku luyijja
ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,”
era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana.
Isirayiri Yalondebwa Katonda
8 (HY)“Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange,
Yakobo gwe nalonda,
ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,
9 (HZ)ggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensi
ne nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala,
ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’
nze nakulonda so sikusuulanga:
10 (IA)Totya kubanga nze ndi wamu naawe;
tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.
Nnaakuwanga amaanyi.
Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”
Isirayiri Alinnya ku Balabe be
11 (IB)“Laba, abo bonna abakukambuwalidde
balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku.
Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa
ne baggwaawo.
12 (IC)Olibanoonya abo abaakukijjanyanga
naye n’otobalaba.
Abo abaakulwanyisanga
baliggwaamu ensa.
13 (ID)Kubanga nze Mukama Katonda wo
akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
Totya nze nzija kukuyamba.
14 Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi
totya, ggwe Isirayiri,
kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,
Omutukuvu wa Isirayiri.
15 (IE)“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo,
ekyogi eky’amannyo amangi.
Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala,
obusozi ne mubufuula ebisusunku.
16 (IF)Oliziwewa empewo n’ezifuumula,
embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye.
Era naawe olisanyukira mu Mukama,
era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”
Mukama Ayimusa Isirayiri
17 (IG)“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi
ne baganoonya naye ne gababula,
ate nga ennimi zaabwe zikaze,
nze Mukama ndibawulira,
nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.
18 (IH)Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu,
era n’ensulo wakati mu biwonvu.
Olukoola ndirufuula ennyanja,
n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.