Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 30-31

Isirayiri Azzibwawo

30 Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nti, (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe. (B)Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama.”

Bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti, (C)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Emiranga egy’okutya giwulirwa,
    bulabe teri mirembe.
(D)Mubuuze mulabe.
    Omusajja alumwa okuzaala?
Kale lwaki ndaba buli musajja ow’amaanyi
    ng’atadde emikono gye ku lubuto ng’omukazi alumwa okuzaala,
    buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ng’agenda okufa?
(E)Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!
    Tewali lulirufaanana.
Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo,
    naye aliwona n’akiyitamu.

(F)“ ‘Olulituuka ku lunaku olwo,
    ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabwe
era ne mbasaleko amasamba,
    ab’amawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
(G)Wabula, bajja kuweerezanga Mukama Katonda waabwe
    ne Dawudi kabaka waabwe
    gwe ndibayimusiza.

10 (H)“ ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange,
    toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’
    bw’ayogera Mukama.
‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala,
    nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse.
Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu,
    era tewali n’omu alimutiisatiisa.
11 (I)Ndi wamu nammwe
    era ndibalokola,
wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde,
    siribazikiririza ddala mmwe,’
    bw’ayogera Mukama.
Ndibakangavvula n’obwenkanya,
    siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.

12 (J)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka,
    Ebisago byo si byakuwona.
13 (K)Tewali n’omu wa kukuwolereza,
    tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.
14 (L)Abakuyamba bonna bakwerabidde
    tebakufaako.
Nkukubye ng’omulabe bwe yandikoze
    ne nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze,
kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyo
    n’ebibi byo bingi ddala.
15 Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo,
    obulumi bwo obutaliiko ddagala?
Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo
    nkuleeseeko ebintu bino.

16 (M)“ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa,
    abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse.
Abo abaakunyaga balinyagibwa,
    abo abaakwelula balyelulwa.
17 (N)Naye ndikuzzaawo owone,
    ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama,
‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa,
    Sayuuni atalina n’omu amufaako.’

18 (O)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo
    era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.
Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,
    n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.
19 (P)Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza
    era n’eddoboozi ery’okujaguza,
ndibaaza, era tebaliba batono,
    ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.
20 (Q)Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda,
    era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba.
    Ndibonereza bonna ababanyigiriza.
21 (R)Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo;
    omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo.
Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange,
    kubanga ani oyo alyewaayo
    okunyiikira okubeera okumpi nange?’
    bw’ayogera Mukama.
22 ‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,
    nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ ”

23 (S)Laba, omuyaga gwa Mukama
    gulikuntira mu kiruyi,
empewo ey’amaanyi
    eyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
24 (T)Obusungu bwa Mukama obubuubuuka
    tebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizza
    ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezirijja,
    kino mulikitegeera.

31 (U)“Mu kiseera ekijja, ndiba Katonda w’ebika byonna ebya Isirayiri, era balibeera bantu bange,” bw’ayogera Mukama.

(V)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Abantu abawona ekitala
    baliraba ekisa mu ddungu.
    Ndijja n’empa Isirayiri ekiwummulo.”

(W)Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti,

“Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo,
    kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.
(X)Ndikuzimba nate, era olizimbibwa,
    ggwe Omuwala Isirayiri.
Era oliddamu okuyonjebwa okwate ebitaasa byo
    ofulume ozine n’abo abasanyuka.
(Y)Oliddamu okusimba emizabbibu ku lusozi Samaliya,
    abalimi baligisimba balye ebibala byakwo.
(Z)Walibeerawo olunaku
    abakuumi lwe balikoowoola ku busozi bwa Efulayimu nti,
‘Mujje, tugende ku Sayuuni,
    eri Mukama Katonda waffe.’ ”

(AA)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Muyimbe n’essanyu olwa Yakobo
    Muleekaanire waggulu olw’ensi esinga zonna.”
Ettendo lyammwe liwulikike, era mugambe nti,
    “Ayi Mukama, lokola abantu bo,
    abaasigalawo ku Isirayiri.”
(AB)Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi ey’obukiikakkono,
    ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y’ensi.
Mu bo mulibaamu abazibe b’amaaso, n’abalema,
    n’abakyala ab’embuto, n’abalumwa okuzaala,
    era abantu bangi balikomawo.
(AC)Balikomawo nga bakaaba,
    balisaba nga mbakomyawo.
Ndibakulembera ku mabbali g’emigga,
    mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira
kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri,
    era Efulayimu ye mutabani wange omubereberye.

10 (AD)“Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga,
    mukyogere mu nsi ezeewala.
‘Oyo eyasaasaanya Isirayiri alibakuŋŋaanya
    era alirabirira ekisibo kye ng’omusumba w’endiga.’
11 (AE)Kubanga Mukama aligula Yakobo
    era abanunule okuva mu mukono gw’oyo abasinga amaanyi.
12 (AF)Balijja baleekaana olw’essanyu ku nsozi za Sayuuni;
    balisanyukira okugabula kwa Mukama:
emmere ey’empeke, ne wayini omusu, n’omuzigo,
    n’abaana b’endiga era n’ebisibo.
Balibeera ng’ennimiro efukiririddwa obulungi,
    era tebalyongera kulaba nnaku.
13 (AG)Abawala balizina beesiime,
    n’abavubuka, n’abakadde.
Okukaaba kwabwe ndikufuula essanyu;
    ndibawa emirembe n’essanyu okusinga ennaku.
14 (AH)Ndikkusa bakabona ebintu ebingi,
    n’abantu bange mbajjuze ebintu,”
    bw’ayogera Mukama.
15 (AI)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Eddoboozi liwulirwa mu Laama,
    nga likungubaga n’okukaaba okungi.
Laakeeri akaabira abaana be
    era agaanye okusirisibwa,
    kubanga abaana be baweddewo.”

16 (AJ)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ziyiza eddoboozi lyo lireme okuwulikika ng’okaaba
    n’amaaso go galeme okujja amaziga,
kubanga omulimu gwo gulisasulibwa,”
    bw’ayogera Mukama.
    Balikomawo okuva mu nsi y’omulabe.
17 Waliwo essuubi,
    bw’ayogera Mukama.
    Abaana bo baliddayo mu nsi yaabwe.

18 (AK)“Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti,
    ‘Wankangavvula ng’ennyana endalu
    era kaakano nkangavvuddwa.
Nziza, n’akomawo gy’oli
    kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19 (AL)Nga mmaze okubula,
    neenenya,
nga nzizeemu amagezi agategeera
    ne neekuba mu kifuba.
Nakwatibwa ensonyi era ne nswala,
    kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’
20 (AM)Efulayimu si mwana wange omwagalwa,
    omwana gwe nsanyukira?
Wadde nga ntera okumunenya
    naye nkyamujjukira.
Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira;
    nnina ekisa kingi gy’ali,”
    bw’ayogera Mukama.

21 (AN)“Muteeke ebipande ku nguudo;
    muteekeeko ebipande.
Mwetegereze ekkubo eddene,
    ekkubo mwe muyita.
Komawo ggwe Omuwala Isirayiri,
    komawo mu bibuga byo.
22 (AO)Olituusa ddi okudda eno n’eri,
    ggwe omuwala atali mwesigwa?
Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi,
    omukazi aliwa omusajja obukuumi.”

23 (AP)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu b’omu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’ 24 (AQ)Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi n’abo abatambula n’amagana gaabwe. 25 (AR)Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika.”

26 (AS)Awo we nazuukukira ne ntunulatunula. Otulo twange twali tunnyumidde.

27 (AT)“Ennaku zijja,” bwayogera Mukama, “lwe ndisimba ennyumba ya Isirayiri ne nnyumba ya Yuda n’ezzadde ly’abantu n’ery’ensolo. 28 (AU)Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bw’ayogera Mukama. 29 (AV)“Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti,

“ ‘Bakitaabwe balidde emizabbibu egikaawa[a],
    n’amannyo g’abaana ne ganyenyeera.’ ”

30 (AW)Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.

31 (AX)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja,
    lwe ndikola endagaano empya
n’ennyumba ya Isirayiri
    era n’ennyumba ya Yuda.
32 (AY)Teribeera ng’endagaano eri
    gye nakola ne bajjajjaabwe
bwe nabakwata ku mukono
    okubakulembera okubaggya mu nsi y’e Misiri,
kubanga baamenya endagaano yange nabo
    wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,”
    bw’ayogera Mukama.
33 (AZ)“Eno y’endagaano gye nnaakola
    n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama.
“Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe,
    ne ngawandiika ku mitima gyabwe.
Ndibeera Katonda waabwe,
    nabo balibeera bantu bange.
34 (BA)Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,
    oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’
Kubanga bonna balimmanya,
    okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,”
    bw’ayogera Mukama.
“Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe,
    n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”

35 (BB)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Oyo ateekawo enjuba
    okwaka emisana,
n’alagira omwezi n’emmunyeenye okwaka ekiro, asiikuula ennyanja
    amayengo gaayo ne gawuluguma;
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
36 (BC)“Amateeka gano
    nga bwe gavudde mu maaso gange,
n’ezzadde lya Isirayiri we linaakoma okubeera eggwanga
    olw’ebyo byonna bye bakoze,” bw’ayogera Mukama Katonda.

37 (BD)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Okuggyako ng’eggulu lisobola okupimibwa
    n’emisingi gy’ensi wansi okunoonyezebwa,
olwo lw’endigoba ezzadde lya Isirayiri
    olw’ebyo bye bakoze,”
    bw’ayogera Mukama.

38 (BE)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gw’oku Nsonda. 39 Omuguwa ogupima gujja kupima okuva eyo okutuuka ku lusozi lw’e Galebu n’oluvannyuma gupime okuva eyo okutuuka e Gowa. 40 (BF)Ekiwonvu kyonna emirambo n’evvu gye bisuuliddwa, era n’ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni ku bukiikakkono n’okutuuka ku nsonda eyitibwa Omulyango gw’Embalaasi, kinaaba kitukuvu eri Katonda. Ekibuga tekigenda kuddayo kusimbulwa wadde okusaanyizibwawo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.