Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola.
45 Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi
nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka.
Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.
2 (A)Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi;
n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa.
Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.
3 (B)Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi,
yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!
4 (C)Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi,
ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu.
Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.
5 Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka;
afuge amawanga.
6 (D)Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera;
n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
7 (E)Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;
noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza
n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
8 (F)Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya.
Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza
mu mbiri zo ez’amasanga.
9 (G)Mu bakyala bo mulimu abambejja;
namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.
10 (H)Muwala, wuliriza bye nkugamba:
“Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
11 (I)Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira;
nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
12 (J)Muwala w’e Ttuulo[a] alijja n’ekirabo,
abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
13 (K)Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye,
ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
14 (L)Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi.
Emperekeze ze zimuwerekerako;
bonna ne bajja gy’oli.
15 Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala,
ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.
16 Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe,
olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
17 (M)Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna.
Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
47 (A)Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;
muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
2 (B)Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
Ye Kabaka afuga ensi yonna.
3 (C)Yatujeemululira abantu,
n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
4 (D)Yatulondera omugabo gwaffe,
Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.
5 (E)Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.
Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
6 (F)Mutendereze Katonda, mumutendereze.
Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.[a]
7 (G)Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,
mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.
8 (H)Katonda afuga amawanga gonna;
afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
9 (I)Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye
ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.
Katonda agulumizibwenga nnyo.
Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
48 (J)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2 (K)Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
ekibuga kya Kabaka Omukulu;
3 (L)Katonda mw’abeera;
yeeraze okuba ekigo kye.
4 (M)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
ne bakyolekera bakirumbe;
5 (N)bwe baakituukako ne bakyewuunya,
ne batya nnyo ne badduka;
6 nga bakankana,
ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
7 (O)Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.
8 (P)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
mu kibuga kya Katonda waffe,
kyalinywereza ddala emirembe gyonna.
9 (Q)Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 (R)Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 (S)Sanyuka gwe Sayuuni,
musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
kubanga Katonda alamula bya nsonga.
12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
mubale n’ebigo byakyo.
13 (T)Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.
14 (U)Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.
Endagaano ya Mukama ne Ibulaamu
15 (A)Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti,
“Totya Ibulaamu,
Nze ngabo yo
era empeera yo ennene ennyo.”
2 (B)Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?” 3 (C)Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.”
4 (D)Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.” 5 (E)N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”
6 (F)Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu. 7 N’amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi ey’Abakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.” 8 (G)Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?” 9 Mukama n’amuddamu nti, “Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi ey’emyaka esatu, endiga ensajja ey’emyaka esatu, kaamukuukulu n’ejjiba.”
10 (H)Ibulaamu n’abireeta byonna n’abisalamu wakati n’ateeka buli kitundu kungulu ku kinnaakyo, naye ebinyonyi byo teyabisalamu bitundu nga biri. 11 Ensega bwe zajja okubirya, Ibulaamu n’azigoba.
17 (A)Enjuba bwe yagwa ng’ekizikiza kikutte, laba, ensuwa eyaka omuliro era enyooka omukka n’ekimulisa ne biyita wakati w’ebitundu bino. 18 (B)Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: 19 Omukeeni, n’Omukenizi, n’Omukadumoni, 20 n’Omukiiti, n’Omuperizi, n’Abaleefa, 21 n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omugirugaasi n’Omuyebusi, mbagabula mu mukono gwo.”
Okusinza ku nsi ne mu ggulu
9 (A)Endagaano ey’olubereberye, yalina amateeka agaalagirwa ag’okusinzanga Katonda, era waaliwo n’eweema entukuvu ey’oku nsi. 2 (B)Mu weema eno mwalimu ebisenge bibiri. Mu kisenge ekisooka nga mwe muli ekikondo ekya zaabu eky’ettaala, n’emmeeza okwabeeranga emigaati emyawule, ekisenge kino kyayitibwanga Ekifo Ekitukuvu. 3 (C)Era waaliwo olutimbe olwokubiri ng’emabega waalwo we wali ekifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu. 4 (D)Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ky’obubaane ekya zaabu, n’essanduuko ey’endagaano, eyabikkibwako zaabu ku buli ludda. Mu ssanduuko nga mulimu ekibya ekya zaabu ekyalimu emmaanu, n’omuggo gwa Alooni nga gutojjedde, n’ebipande eby’amayinja eby’Amateeka Ekkumi eby’endagaano. 5 (E)Ku kisaanikira ky’essanduuko nga kuliko bakerubbi ab’ekitiibwa nga basiikirizza entebe ey’okusaasira; ebintu ebyo tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.
6 (F)Ebintu byonna nga bimaze okutegekebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga mu kisenge ekisooka buli lunaku ne bakola emirimu gyabwe egy’okuweereza. 7 (G)Naye Kabona Asinga Obukulu yekka ye yayingiranga mu kisenge eky’omunda omulundi gumu buli mwaka. Yagendangayo n’omusaayi, gwe yawangayo ku lulwe n’olw’ebibi by’abantu bye baakolanga mu butanwa. 8 (H)Mu bino byonna, Mwoyo Mutukuvu atutegeeza bulungi nti, Ekkubo erituuka mu bifo ebitukuvu lyali terinnamanyika, ng’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’olubereberye ekyaliwo, n’enkola ey’edda ng’ekyaliwo. 9 (I)Amakulu geekyo mu kiseera kya leero, ge gano: ebirabo ne Ssaddaaka ebyaweebwangayo tebiyinza kutukuza mutima gw’oyo asinza. 10 (J)Bikoma ku byakulya na byakunywa na ku bulombolombo obw’okunaaba, n’ebiragiro abantu bye baalina okukwata n’okugondera okutuusa ku biro eby’okuzza ebintu obuggya.
Omusaayi gwa Kristo
11 (K)Kristo yajja nga Kabona Asinga Obukulu ow’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja. Yayingira mu weema esinga obukulu n’okutuukirira, etaakolebwa na mikono gya bantu, etali ya mu nsi muno. 12 (L)Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo. 13 (M)Obanga omusaayi gw’embuzi, n’ente ennume, n’evvu ly’ente enduusi, bimansirwa ku abo abalina ebibi, ne bibatukuza mu mubiri; 14 (N)omusaayi gwa Kristo ataliiko kamogo, eyeewaayo ye yennyini eri Katonda olw’Omwoyo ataggwaawo, tegulisinga nnyo okutukuza emyoyo gyaffe okuva mu bikolwa ebifu tulyoke tuweereze Katonda omulamu?
Yesu Awonyeza ku Kidiba
5 Oluvannyuma Yesu n’addayo e Yerusaalemi abeewo ku emu ku mbaga z’Abayudaaya. 2 (A)Munda mu Yerusaalemi, okumpi n’Omulyango gw’Endiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola. 3 Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe b’amaaso, n’abakoozimbye. 4 Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa. 5 Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana. 6 Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?”
7 Omusajja omulwadde n’amuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ng’omulala yansoose dda.”
8 (B)Yesu n’amugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.” 9 (C)Amangwago omusajja n’awonyezebwa. N’azingako omukeeka gwe ne yeetambulira.
Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti. 10 (D)Abayudaaya kyebaava bagamba omusajja awonyezebbwa nti, “Toteekwa kwetikka mukeeka gwo ku Ssabbiiti, oba omenye etteeka lya Ssabbiiti.”
11 Ye n’addamu nti, “Omuntu amponyezza y’aŋŋambye nti, ‘Situlawo omukeeka gwo otambule.’ ”
12 Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye okusitula omukeeka gwo otambule?”
13 Kyokka omusajja eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.
14 (E)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’amulaba mu Yeekaalu, n’amugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.” 15 (F)Omuntu oyo n’agenda n’ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya.
16 Okuva olwo Abayudaaya ne batandika okuyigganya Yesu, kubanga yakolanga ebintu ebifaanana ng’ekyo ku Ssabbiiti. 17 (G)Yesu n’abaddamu nti, “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.” 18 (H)Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya mateeka ga Ssabbiiti kyokka, naye yeeyita Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanaankana ne Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.