Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 26

Zabbuli ya Dawudi.

26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
    kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
    nga sibuusabuusa.
(B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
    weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
(C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
    era mu mazima go mwe ntambulira.

(D)Situula na bantu balimba,
    so siteesaganya na bakuusa.
(E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
    so situula na bakozi ba bibi.
(F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
    ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
(G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
    olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

(H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
    kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
(I)Tombalira mu boonoonyi,
    wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
    era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
    nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.

12 (L)Nnyimiridde watereevu.
    Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.

Zabbuli 28

Zabbuli ya Dawudi.

28 (A)Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
    tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
    nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
(B)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
    nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
    nga nkukaabirira okunnyamba.

(C)Tontwalira mu boonoonyi,
    abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
    so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
(D)Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
    n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
    obabonereze nga bwe basaanidde.

(E)Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
    oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
    era talibaddiramu.

Atenderezebwe Mukama,
    kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
(F)Mukama ge maanyi gange,
    era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
    Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.

(G)Mukama y’awa abantu be amaanyi,
    era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
(H)Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo.
    Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.

Zabbuli 36

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

36 (A)Nnina obubaka mu mutima gwange
    obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi.
N’okutya
    tatya Katonda.

Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera
    oba okukyawa ekibi kye.
(B)Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba;
    takyalina magezi era takyakola birungi.
(C)Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola;
    amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu,
    era ebitali bituufu tabyewala.

Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
    obwesigwa bwo butuuka ku bire.
(D)Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
    n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo.
Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
    (E)Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
    baddukira mu biwaawaatiro byo.
(F)Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
    obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
(G)Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
    era gw’otwakiza omusana.

10 Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
    era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11 Ab’amalala baleme okunninnyirira,
    wadde ababi okunsindiikiriza.
12 (H)Laba, ababi nga bwe bagudde!
    Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.

Zabbuli 39

Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.

39 (A)Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
    n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
    nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
(B)Naye bwe nasirika
    ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
    ate obuyinike bwange ne bweyongera.
Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
    Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
    kyenava njogera nti:

(C)“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
    n’ennaku ze nsigazza;
    ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
(D)Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
    Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
    Buli muntu, mukka bukka.

(E)Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
    Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
    Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.

(F)Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
(G)Ondokole mu bibi byange byonna,
    abasirusiru baleme okunsekerera.
(H)Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
    kubanga kino ggwe wakikola.
10 (I)Olekere awo okunkuba,
    emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 (J)Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
    omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
    Ddala omuntu mukka bukka.

12 (K)Ayi Mukama, wulira okusaba kwange,
    owulire okukaaba kwange onnyambe.
    Tonsiriikirira nga nkukaabirira.
Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze,
    nga bajjajjange bonna bwe baali.
13 (L)Ndeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno,
    ne mbulirawo ddala.

Olubereberye 9:1-17

Endagaano ya Katonda ne Nuuwa

(A)Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi. Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo. (B)Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.

(C)“Naye toolyenga nnyama ng’ekyalimu omusaayi gwayo. (D)Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne.

(E)“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu,
    n’ogugwe gunaayiibwanga,
kubanga mu kifaananyi kya Katonda,
    Katonda mwe yakolera omuntu.

(F)Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”

Endagaano ne Nuuwa

Awo Katonda n’agamba Nuuwa ne batabani bwe baali (G)nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe, 10 era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi. 11 (H)Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”

12 (I)Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. 13 Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.

14 “Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire, 15 (J)ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu. 16 (K)Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”

17 (L)Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”

Abaebbulaniya 5:7-14

(A)Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogw’obuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bw’akaaba amaziga mu ddoboozi ery’omwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda n’awulira okusaba kwe. (B)Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona. (C)Era bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda. 10 (D)Katonda yamuyita okuba Kabona Asinga Obukulu ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.

Okulabula ku kudda ennyuma

11 Waliwo bingi bye twandiyagadde okumwogerako, naye ate nga kizibu okubinyonnyola, kubanga temuyiga mangu. 12 (E)Newaakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kyetaaga okuddamu okubayigiriza, ebintu ebya bulijjo eby’amazima ebikwata ku kigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere enkalubo ey’abakulu. 13 (F)Kubanga omuntu bw’aba ng’akyanywa mata, aba akyali mwana muto. Aba tannategeera kigambo kikwata ku by’obutuukirivu. 14 (G)Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi n’ekibi.

Yokaana 3:16-21

16 (A)“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. 17 (B)Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. 18 (C)Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya ly’Omwana oyo omu yekka owa Katonda. 19 (D)Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. 20 (E)Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa. 21 Naye buli ajja eri omusana akola eby’amazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.