Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 68

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.

68 (A)Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
    n’abo abamukyawa bamudduke.
(B)Ng’empewo bw’efuumuula omukka,
    naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
    n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
(C)Naye abatuukirivu basanyuke
    bajagulize mu maaso ga Katonda,
    nga bajjudde essanyu.

(D)Muyimbire Katonda,
    muyimbe nga mutendereza erinnya lye;
mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.
    Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
(E)Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;
    ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
(F)Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,
    aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;
    naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

(G)Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
    n’obayisa mu ddungu,
(H)ensi yakankana,
    eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
    awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
(I)Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;
    ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 (J)abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,
    abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
11 Mukama yalangirira;
    ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:
12 (K)“Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe;
    abantu ne bagabana omunyago.
13 (L)Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu!
    Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa
    ebiwaawaatiro byalyo.”
14 (M)Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka,
    ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni.
15 Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani;
    ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani!
16 (N)Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi?
    Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako?
    Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
17 (O)Mukama ava ku lusozi Sinaayi
    nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi
    n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
18 (P)Bwe walinnyalinnya olusozi,
    ng’abanyage bakugoberera;
    abantu ne bakuwa ebirabo
nga ne bakyewaggula mwebali;
    bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.
19 (Q)Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,
    eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 (R)Katonda waffe ye Katonda alokola;
    era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
21 (S)Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be,
    kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.
22 (T)Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani,
    ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 (U)mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe,
    n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”

24 (V)Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda,
    balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
25 (W)abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega
    ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
26 (X)Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene;
    mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.
27 (Y)Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde,
    ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda,
    n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.

28 Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda,
    otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
29 (Z)Bakabaka balikuleetera ebirabo
    olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.
30 (AA)Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu,
    eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga.
Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza.
    Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
31 (AB)Ababaka baliva e Misiri,
    ne Kuusi aligondera Katonda.

32 Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna.
    Mutendereze Mukama.
33 (AC)Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda,
    eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
34 (AD)Mulangirire obuyinza bwa Katonda,
    ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri;
    obuyinza bwe buli mu bire.
35 (AE)Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu.
    Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi.

Katonda atenderezebwe.

Zabbuli 72

Zabbuli ya Sulemaani.

72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
    ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
(A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
    n’abaavu abalamulenga mu mazima.

Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
    n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
(B)Anaalwaniriranga abaavu,
    n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
    n’omujoozi n’amusaanyaawo.
Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
    okwaka mu mirembe gyonna.
(C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
    afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
(D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
    n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!

(E)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
    n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
    n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (F)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
    bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
    bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
    amawanga gonna ganaamuweerezanga.

12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
    n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
    n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (G)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
    kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.

15 (H)Awangaale!
    Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
    era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (I)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
    ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
    n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (J)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
    n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.

Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
    era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.

18 (K)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
    oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (L)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
    Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!

20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.

1 Bassekabaka 19:9-18

Mukama Alabikira Eriya

(A)Bwe yatuuka eyo, n’ayingira mu mpuku, n’asula omwo. Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, “Okola ki wano, Eriya?” 10 (B)N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye ne nkwatibwa n’obuggya ku lulwe. Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzekka, ne kaakano bannoonya okunzita.”

11 (C)Mukama n’amugamba nti, “Ffuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama, kubanga Mukama ali kumpi kuyitawo.”

Kale laba, embuyaga nnyingi ey’amaanyi n’emenya ensozi n’eyasa n’enjazi mu maaso ga Eriya, naye Mukama nga taliimu. Oluvannyuma lw’embuyaga, musisi ow’amaanyi n’ayita naye era Mukama nga taliimu. 12 (D)Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era Mukama teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa. 13 (E)Eriya bwe yaliwulira, n’abikka[a] amaaso ge n’omunagiro gwe n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku.

Awo Mukama n’amugamba nti, “Okola ki wano Eriya?”

14 (F)N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye, naye Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenyeemenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzeka, ne kaakano bannoonya okunzita.”

15 (G)Mukama n’amugamba nti, “Ddirayo mu kkubo lye wajjiddemu ogende mu ddungu lya Ddamasiko. Bw’onootuuka eyo ofuke amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w’e Busuuli, 16 (H)ne ku Yeeku mutabani wa Nimusi okuba kabaka wa Isirayiri, ate era ofuke n’amafuta ku Erisa mutabani wa Safati ow’e Aberumekola okudda mu kifo kyo. 17 (I)Era Yeeku anatta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Kazayeeri, ate Erisa ye n’atta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Yeeku. 18 (J)Wabula nesigaliza akasanvu mu Isirayiri, abatavuunamiranga Baali wadde okumunywegera.”

Abaefeso 4:17-32

Obulamu obuggya mu Kristo

17 (A)Ng’omugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ng’abatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe eby’obusirusiru. 18 (B)Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by’obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu. 19 (C)Tebakyalina nsonyi, beemalidde mu bya buwemu, na mululu gwa kukola bya bugwenyufu ebya buli ngeri.

20 Kyokka mmwe si bwe mwayigirizibwa ku bya Kristo. 21 Obanga ddala mwamuwulira, era ne muyigirizibwa mu ye ng’amazima bwe gali mu Yesu, 22 (D)kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. 23 (E)Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe, 24 (F)era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.

25 (G)Mulekeraawo okulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu. 26 “Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona.” Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde. 27 Temuwanga Setaani bbanga. 28 (H)Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola eby’omugaso ng’akola n’emikono gye, alyoke afune ky’agabirako n’abo abeetaaga.

29 Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira. 30 (I)Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa. 31 Okunyiiga, n’obusungu, n’obukambwe, n’okukaayana, n’okuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe. 32 (J)Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.

Yokaana 6:15-27

15 (A)Yesu bwe yategeera nti bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe n’addayo yekka ku lusozi.

Yesu Atambulira ku Mazzi

16 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ba Yesu ne baserengeta ku nnyanja 17 ne basaabala mu lyato ne boolekera Kaperunawumu. N’obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali. 18 Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n’esiikuuka. 19 (B)Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya. 20 (C)Yesu n’abagamba nti, “Ye Nze, temutya!” 21 Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.

Abantu Banoonya Yesu

22 (D)Ku lunaku olwaddirira, ekibiina ky’abantu abaasigala emitala w’eri, ne balabawo eryato limu lyokka, ne bamanya ng’abayigirizwa be baawunguka bokka mu lyato. 23 (E)Kyokka amaato ne gava e Tiberiya ne gagoba awo kumpi n’ekifo abantu we baaliira emigaati Yesu gye yabawa ng’amaze okwebaza. 24 Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo wadde abayigirizwa be, ne bakwata amaato ne bawunguka ne batuuka e Kaperunawumu nga banoonya Yesu.

25 (F)Bwe baamulaba emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, watuuse ddi wano?”

26 (G)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. 27 (H)Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.