Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
19 (A)Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
2 (B)Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
era liraga amagezi ge buli kiro.
3 Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
4 (C)Naye obubaka bwabyo
bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
5 Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
6 (D)Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
era tewali kyekweka bbugumu lyayo.
7 (E)Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
ligeziwaza abatalina magezi.
8 (F)Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,
kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.
Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,
bye galaba.
9 (G)Okutya Mukama kirungi,
era kya mirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,
era bya butuukirivu ddala.
10 (H)Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
11 Ebyo bye birabula omuddu wo,
era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
12 (I)Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,
bireme kunfuga.
Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa
nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
14 (J)Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,
bisiimibwe mu maaso go,
Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.
18 (A)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu,
ye Katonda eyabumba ensi n’agikola.
Ye yassaawo emisingi gyayo.
Teyagitonda kubeera nkalu
naye yagikola etuulwemu.
Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.
19 (B)Soogereranga mu kyama,
oba mu nsi eyeekizikiza.
Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti,
‘Munoonyeze bwereere.’
Nze Mukama njogera mazima,
mbuulira ebigambo eby’ensonga.
20 (C)“Mwekuŋŋaanye mujje,
mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga.
Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje,
abasaba eri katonda atasobola kubalokola.
21 (D)Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe.
Muteese muyambagane.
Ani eyayogera nti kino kiribaawo?
Ani eyakyogerako edda?
Si nze Mukama?
Tewali Katonda mulala wabula nze,
Katonda omutuukirivu era Omulokozi,
tewali mulala wabula nze.
22 (E)“Mudde gye ndi, mulokoke,
mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi,
kubanga nze Katonda so tewali mulala.
23 (F)Neerayiridde,
ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima
so tekiriggibwawo mu maaso gange.
Buli vviivi lirifukamira,
na buli lulimi lulirayira!
24 (G)Balinjogerako nti, ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’ ”
Bonna abaamusunguwalira
balijja gy’ali nga baswadde.
25 (H)Naye mu Mukama ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutuukirivu
era mwe liryenyumiririza.
4 Ne bwe kwandibadde okwesiga omubiri, omuntu omulala yenna bw’alowooza okuba n’obwesige mu mubiri, nze musinga. 5 (A)Kubanga nze nakomolebwa ku lunaku olw’omunaana. Ndi Muyisirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu, era mu mateeka ndi Mufalisaayo, 6 (B)eyanyiikira okuyigganya ekkanisa, eyali omutuukirivu mu mateeka, nga siriiko kya kunenyezebwa.
7 (C)Naye ebyo byonna ebyali omugabo gye ndi, nabiraba nga butaliimu. 8 (D)Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ng’okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng’ebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo, 9 (E)ndabikire mu ye nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula nga nnina obutuukirivu obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda obwesigamye ku kukkiriza. 10 (F)Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi g’okuzuukira kwe, 11 (G)nga nsuubira nga nange ndizuukira.
ל Lamedi
89 (A)Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu,
kya mirembe gyonna.
90 (B)Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna;
watonda ensi era enyweredde ddala.
91 (C)Amateeka go na buli kati manywevu;
kubanga ebintu byonna bikuweereza.
92 Singa nnali sisanyukira mu mateeka go,
nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.
93 Siyinza kwerabira biragiro byo;
kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.
94 Ndi wuwo, ndokola,
kubanga neekuumye bye walagira.
95 Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza;
naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.
96 Ebintu byonna biriko we bikoma
naye amateeka go tegakugirwa.
מ Meemu
97 (D)Amateeka go nga ngagala nnyo!
Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
98 (E)Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,
kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
99 Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,
kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
100 (F)Ntegeera okusinga abakadde;
kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
101 (G)Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,
nsobole okugondera ekigambo kyo.
102 Sivudde ku mateeka go,
kubanga ggwe waganjigiriza.
103 (H)Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!
Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
104 (I)Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;
kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.
נ Nuuni
105 (J)Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
era kye kimulisa ekkubo lyange.
106 (K)Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza
nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
107 Nnumizibwa nnyo;
nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108 (L)Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;
era onjigirize amateeka go.
109 (M)Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,
naye seerabira mateeka go.
110 (N)Abakola ebibi banteze omutego,
naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;
weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
112 (O)Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo
ennaku zonna ez’obulamu bwange.
Okukyuka kwa Sawulo
9 (A)Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ng’ayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ng’abatiisatiisa okwagala okubatta, n’atuukirira Kabona Asinga Obukulu, 2 (B)n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi. 3 (C)Awo Sawulo bwe yali atambula ng’anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola. 4 N’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”
5 Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?”
Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya! 6 (D)Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa ky’osaanidde okukola.”
7 (E)Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera. 8 Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko. 9 N’amalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.
10 (F)Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”
N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”
11 (G)Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga 12 (H)mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”
13 (I)Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. 14 (J)Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”
15 (K)Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” 16 (L)Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.
17 (M)Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” 18 Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. 19 (N)N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.
20 (O)Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda. 21 (P)Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.” 22 (Q)Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.