Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
20 (A)Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.
Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
2 (B)Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;
akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
3 (C)Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,
era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
4 (D)Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,
era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
5 (E)Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,
ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.
Mukama akuwenga byonna by’omusaba.
6 (F)Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,
amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,
ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
7 (G)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
8 (H)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
9 (I)Ayi Mukama, lokola kabaka,
otwanukule bwe tukukoowoola.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
21 (J)Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!
2 (K)Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
3 (L)Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
4 (M)Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
5 (N)Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
6 (O)Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
7 Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,
kabaka tagenda kunyeenyezebwa.
8 (P)Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
9 (Q)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
era alibamalirawo ddala.
10 (R)Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 (S)Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 (T)Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.
13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.
Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.
Zabbuli ya Dawudi.
110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]”
2 (B)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
olifuga abalabe bo.
3 (C)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.
4 (D)Mukama yalayira,
era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”
116 (A)Mukama mmwagala,
kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
2 (B)Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.
3 (C)Emiguwa gy’okufa gyansiba,
n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
4 (D)Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
“Ayi Mukama, ndokola.”
5 (E)Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
Katonda waffe ajjudde okusaasira.
6 (F)Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.
7 (G)Wummula ggwe emmeeme yange,
kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
8 (H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
9 (I)ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
mu nsi ey’abalamu.
10 (J)Nakkiriza kyennava njogera nti,
“Numizibbwa nnyo.”
11 (K)Ne njogera nga nterebuse nti,
“Abantu bonna baliraba.”
12 Mukama ndimusasula ntya
olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 (L)Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 (M)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g’abantu be bonna.
15 (N)Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 (O)Ayi Mukama,
onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.
17 (P)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g’abantu be bonna,
19 (Q)mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
wakati wo, ggwe Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.
117 (R)Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;
mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
2 (S)Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;
n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.
Mutendereze Mukama.
31 Ebigambo Dawudi bye yayogera byawulirwa ne bituusibwa eri Sawulo; Sawulo n’amutumya.
32 (A)Awo Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Waleme kubaawo muntu n’omu aggwaamu mwoyo olw’Omufirisuuti oyo. Omuweereza wo anaagenda n’amulwanyisa.” 33 (B)Sawulo n’amuddamu nti, “Toyinza kugenda kulwana na Mufirisuuti oyo; kubanga oli mulenzi bulenzi, songa ye abadde mulwanyi okuva mu buvubuka bwe.”
34 (C)Naye Dawudi n’addamu Sawulo nti, “Omuweereza wo amaze ebbanga ng’alunda endiga za kitaawe, era bwe waabangawo empologoma oba eddubu eyajjanga n’etwala omwana gw’endiga okuva mu kisibo, 35 nagigobereranga, ne ngikuba, ne mponya omwana gw’endiga nga nguggya mu kamwa k’ensolo eyo. Bwe yankyukiranga n’eyagala okunzita, nga ngikwata oluba ne ngikuba ne ngitta. 36 Omuweereza wo yattako ku mpologoma n’eddubu. Omufirisuuti ono atali mukomole anaaba ng’emu ku zo, kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.” 37 (D)Dawudi n’ayogera nti, “Mukama eyamponya enjala z’empologoma n’enjala z’eddubu, alimponya ne mu mukono gw’Omufirisuuti oyo.”
Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Genda, era Mukama abeere naawe.” 38 Sawulo n’ayambaza Dawudi ebyambalo bye eby’olutalo; n’amuwa ekizibaawo eky’ekikomo, n’amuteeka n’enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe. 39 Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku kyambalo, n’agezaako okutambula, naye n’alemererwa, kubanga yali tabimanyidde. Awo n’agamba Sawulo nti, “Siisobole kugenda na bino kubanga sibimanyidde.” N’abyeyambulamu. 40 N’akwata omuggo mu mukono gwe, n’alonda n’amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n’agateeka mu nsawo ye ey’omusumba. N’addira n’envuumuulo ye mu mukono gwe n’asemberera Omufirisuuti.
41 Awo Omufirisuuti n’omusajja eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga yamukulembeddemu, ne basemberera Dawudi. 42 (E)Omufirisuuti n’atunuulira Dawudi n’amunyooma kubanga yali mulenzi bulenzi, ng’alabika bulungi ate n’amaaso ge nga malungi. 43 (F)N’agamba Dawudi nti, “Ndi mbwa olyoke ojje gye ndi n’emiggo?” Omufirisuuti n’akolimira Dawudi nga bwakoowoola balubaale be. 44 (G)Omufirisuuti n’agamba Dawudi nti, “Sembera wano, omubiri gwo nnaagugabira ennyonyi ez’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko.”
45 (H)Naye Dawudi n’agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza. 46 (I)Olwa leero Mukama anaakuwaayo mu mukono gwange, ne nkukuba era ne nkusalako omutwe. Olwa leero nnaagabira emirambo egy’eggye ery’Abafirisuuti eri ebinyonyi eby’omu bbanga n’eri ensolo enkambwe ez’ensi, ensi yonna eryoke etegeere nga waliwo Katonda mu Isirayiri. 47 (J)Abo bonna abakuŋŋaanye wano banaategeera nga Mukama talokola na kitala wadde effumu, kubanga olutalo, lwa Mukama era mwenna agenda kubawaayo mu mukono gwaffe.”
48 Awo Omufirisuuti bwe yali ng’asembera okulumba Dawudi, Dawudi n’adduka mbiro okumusisinkana. 49 Dawudi n’aggya ejjinja mu nsawo ye n’alivuumuula ne likwasa Omufirisuuti mu kyenyi; n’agwa nga yeevuunise, n’ejjinja nga liyingidde mu kyenyi kye.
Peetero Annyonnyola
11 (A)Awo abatume n’abooluganda abaali mu Buyudaaya mwonna ne bawulira nti n’Abamawanga bakkiriza ekigambo kya Katonda. 2 (B)Naye Peetero bwe yakomawo mu Yerusaalemi, abakomole ne bamunenya, 3 (C)nga bagamba nti, “Lwaki wakyalira Abaamawanga abatali bakomole n’oyingira ne mu nnyumba n’olya nabo?”
4 Awo Peetero n’abannyonnyola byonna ng’agamba 5 (D)nti, “Bwe nnali nsaba, nga ndi mu kibuga kya Yopa, ne njolesebwa. Essuuka ennene ennyo ng’ewaniriddwa ku nsonda zaayo ennya, n’essibwa mu maaso gange ng’eva mu ggulu. 6 Mu ssuuka eyo ne ndabamu ebisolo byonna eby’oku nsi ebirina amagulu ana, n’ebyewalula, n’ennyonyi ez’omu bbanga. 7 Ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Peetero, situka osale, olye.’
8 “Nze ne nziramu nti, ‘Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.’
9 (E)“Naye eddoboozi ne liddamu nga liŋŋamba nti, ‘Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.’ 10 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu. Oluvannyuma essuuka n’ezzibwayo mu ggulu ne byonna ebyagirimu.
11 “Amangwago laba abasajja basatu abaatumibwa okuva e Kayisaliya ne batuuka ku nnyumba we nnali nsula! 12 (F)Mwoyo Mutukuvu n’aŋŋamba ŋŋende nabo, awatali kulwa, n’abooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tutuuka mu maka g’omusajja eyali antumidde ababaka abo. 13 N’atutegeeza nga malayika bwe yamulabikira mu nnyumba ye, n’amugamba nti, ‘Tuma ababaka e Yopa banoonye Simooni ayitibwa Peetero, 14 (G)ajje akutegeeze ggwe n’ab’omu nnyumba yo nga bwe muyinza okulokolebwa!’
15 (H)“Awo bwe nnali nga nakatandika okubabuulira Enjiri, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako nga naffe bwe yatukkako ku kusookera ddala! 16 (I)Awo ne nzijukira ebigambo bya Mukama waffe bwe yagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.’ 17 (J)Olw’okubanga Katonda ye yawa Abaamawanga bano ekirabo kye kimu, naffe kye yatuwa bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nange nze ani eyandiwakanyizza Katonda?”
18 (K)Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, n’Abamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gy’ali abawe obulamu obutaggwaawo.”
Yesu Ayita Abayigirizwa Abaasooka
14 (A)Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n’ajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda, 15 (B)ng’agamba nti, “Ekiseera kituukiridde, n’obwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.” 16 Awo Yesu yali ng’ayita ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya, n’alaba Simooni ne muganda we Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja; kubanga baali bavubi. 17 Yesu n’abagamba nti, “Mujje mungoberere nange ndibafuula abavubi b’abantu!” 18 Amangwago ne baleka obutimba bwabwe ne bamugoberera. 19 Bwe yeeyongerayo katono, n’alaba Yakobo ne Yokaana batabani ba Zebbedaayo, nga bali mu lyato baddaabiriza obutimba bwabwe. 20 Amangwago n’abayita ne baleka kitaabwe Zebbedaayo mu lyato n’abapakasi, ne bagoberera Yesu.
Yesu Awonya Omusajja eyaliko Dayimooni
21 (C)Awo ne bayingira mu Kaperunawumu. Amangwago n’ayingira mu kuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, n’abayigiriza. 22 (D)Ne beewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakolanga. 23 Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, n’awowoggana, 24 (E)ng’agamba nti, “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.” 25 (F)Awo Yesu n’aguboggolera ng’agamba nti, “Sirika era muveeko.” 26 (G)Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako. 27 (H)Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So n’emyoyo emibi agiragira ne gimugondera.” 28 (I)Amangwago amawulire agamukwatako ne gasaasaana wonna mu byalo ebyetoolodde Ggaliraaya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.