Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
nga sibuusabuusa.
2 (B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3 (C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
era mu mazima go mwe ntambulira.
4 (D)Situula na bantu balimba,
so siteesaganya na bakuusa.
5 (E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
so situula na bakozi ba bibi.
6 (F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
7 (G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8 (H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
9 (I)Tombalira mu boonoonyi,
wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.
12 (L)Nnyimiridde watereevu.
Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.
Zabbuli ya Dawudi.
28 (A)Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
2 (B)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
nga nkukaabirira okunnyamba.
3 (C)Tontwalira mu boonoonyi,
abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
4 (D)Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
obabonereze nga bwe basaanidde.
5 (E)Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
era talibaddiramu.
6 Atenderezebwe Mukama,
kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
7 (F)Mukama ge maanyi gange,
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
36 (A)Nnina obubaka mu mutima gwange
obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi.
N’okutya
tatya Katonda.
2 Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera
oba okukyawa ekibi kye.
3 (B)Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba;
takyalina magezi era takyakola birungi.
4 (C)Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola;
amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu,
era ebitali bituufu tabyewala.
5 Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
obwesigwa bwo butuuka ku bire.
6 (D)Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo.
Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
7 (E)Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
baddukira mu biwaawaatiro byo.
8 (F)Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
9 (G)Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
era gw’otwakiza omusana.
10 Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11 Ab’amalala baleme okunninnyirira,
wadde ababi okunsindiikiriza.
12 (H)Laba, ababi nga bwe bagudde!
Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.
Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
39 (A)Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
2 (B)Naye bwe nasirika
ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
ate obuyinike bwange ne bweyongera.
3 Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
kyenava njogera nti:
4 (C)“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
n’ennaku ze nsigazza;
ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
5 (D)Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
Buli muntu, mukka bukka.
6 (E)Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
7 (F)Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
8 (G)Ondokole mu bibi byange byonna,
abasirusiru baleme okunsekerera.
9 (H)Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
kubanga kino ggwe wakikola.
10 (I)Olekere awo okunkuba,
emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 (J)Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
Ddala omuntu mukka bukka.
Sawulo Agezaako Okutta Dawudi
19 (A)Awo Sawulo n’agamba mutabani we Yonasaani, n’abaweereza be bonna, batte Dawudi. Naye Yonasaani yayagalanga nnyo Dawudi, 2 bw’atyo n’amulabula ng’agamba nti, “Kitange Sawulo anoonya bw’anaayinza okukutta. Weekuume enkya ku makya, weekweke mu kifo ekikusifu obeere eyo. 3 (B)Nnaagenda ne nnyimirira ne kitange mu nnimiro, w’onoobeera, ne njogera naye ku bikukwatako, n’oluvannyuma nzija kujja nkutegeeze bye nnaazuula.”
4 (C)Awo Yonasaani n’ayogera bulungi ku Dawudi eri Sawulo kitaawe ng’agamba nti, “Kabaka aleme okukola akabi ku muddu we Dawudi, kubanga talina kyakukoze, era akuweereza bulungi nnyo mu mirimu egy’omugaso. 5 (D)Yeewaayo n’atta Omufirisuuti; Mukama n’aleetera Isirayiri yenna, obuwanguzi obw’ekitalo, n’okiraba n’osanyuka. Lwaki oyigganya omuntu nga Dawudi ataliiko musango, n’oyagala okumutta awatali nsonga?”
6 Sawulo n’awuliriza Yonasaani, era n’amulayirira ng’agamba nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, Dawudi tajja kuttibwa.”
7 (E)Awo Yonasaani n’ayita Dawudi, n’amutegeeza byonna. N’amuleeta eri Sawulo, Dawudi n’addamu n’aweereza Sawulo ng’olubereberye. 8 Ne wagwawo olutalo nate, Dawudi n’agenda okulwana n’Abafirisuuti, n’abakuba n’atta bangi ku bo, abaasigalawo ne badduka.
9 (F)Awo omwoyo omubi okuva eri Mukama ne gujja ku Sawulo bwe yali ng’atudde mu nnyumba ye, ng’akutte effumu mu mukono, Dawudi bwe yali ng’akuba entongooli. 10 (G)Sawulo n’agezaako okumufumitira ku kisenge n’effumu, naye Dawudi n’alyewoma, ne likwasa ekisenge. Ekiro ekyo Dawudi n’adduka n’awona.
11 (H)Sawulo n’atuma ababaka bagende bakuume ennyumba ya Dawudi, bamutte enkeera. Naye Mikali mukyala wa Dawudi n’amulabula n’amugamba nti, “Bw’otodduke kiro kino, bwe bunaakya bajja kukutta.” 12 (I)Awo Mikali n’assiza Dawudi mu ddirisa, n’adduka n’agenda ne yeekweka. 13 Mikali n’addira ekifaananyi ekyole n’akiteeka ku kitanda, n’akibikkako olugoye, n’assa n’ebyoya eby’embuzi ku mutwe gwakyo.
14 (J)Awo Sawulo bwe yatumayo ababaka okuwamba Dawudi, Mikali n’abagamba nti, “Mulwadde.” 15 Sawulo n’abatuma baddeyo bamulabe era n’abalagira nti, “Mumundeetere mu kitanda kye, mmutte.” 16 Naye abasajja bwe bagenda yo, ne balaba ekifaananyi ekyole mu kitanda, nga ne ku mutwe kuliko ebyoya by’embuzi.
17 Sawulo n’abuuza Mikali nti, “Lwaki wannimbye bw’otyo, n’oleka omulabe wange okudduka, n’okuwona n’awona?” Mikali n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti, ‘Bw’otondeke kugenda nzija kukutta.’ ”
18 (K)Awo Dawudi n’addukira eri Samwiri e Laama, n’amutegeeza byonna Sawulo bye yamukola. Ye ne Samwiri ne bagenda e Nayosi ne babeera eyo.
Peetero Aggyibwa mu Kkomera
12 Awo mu biro ebyo Kabaka Kerode n’atandika okuyigganya abamu ku bakkiriza ab’omu Kkanisa. 2 (A)N’atta Yakobo muganda wa Yokaana n’ekitala. 3 (B)Bwe yalaba nga ky’akoze kisanyusizza Abayudaaya, n’akwata Peetero mu kiseera eky’Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa 4 n’amusiba mu kkomera, ng’amutaddeko abaserikale abamukuuma kkumi na mukaaga mu bibinja bina eby’abaserikale banabana. Kerode yali ategese amuleete mu bantu, ng’Embaga y’Okuyitako ewedde.
5 (C)Peetero n’akuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa n’enyiikira nnyo okumusabira eri Katonda.
6 (D)Ekiro ekyo, ng’enkeera Kerode ategese okuwaayo Peetero, Peetero yali yeebase wakati w’abaserikale babiri, ng’asibiddwa n’enjegere bbiri, nga ne ku mulyango gw’ekkomera kuliko abakuumi. 7 (E)Laba malayika wa Mukama n’ayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika n’akuba ku Peetero mu mbiriizi n’amuzuukusa ng’amugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi.
8 Malayika n’amugamba nti, “Weesibe olukoba lwo, oyambale n’engatto zo.” Peetero n’akola nga bw’agambiddwa. Malayika n’amugamba nti, “Kale, yambala omunagiro gwo ongoberere.” 9 (F)Awo Peetero n’agoberera malayika. Naye ekiseera kino kyonna ng’alowooza nti alabye kwolesebwa, nga tayinza kukitegeera nti byonna ebyali bimutuukako mu kaseera ako byaliwo ddala. 10 (G)Ne bayita ku bakuumi abasooka n’abookubiri ne batuuka ku luggi olunene olw’ekyuma olufuluma mu kkomera nga luggukira mu kibuga. Luno ne lweggulawo lwokka, ne bayitamu. Bwe baatambulako akabanga mu luguudo mu kibuga, amangwago malayika n’amuleka.
11 (H)Awo Peetero bwe yeddamu n’alyoka ategeera bwe bibadde, n’agamba nti, “Ntegeeredde ddala nga Mukama yatumye malayika we n’anziggya mu mukono gwa Kerode, era n’amponya n’eby’akabi byonna Abayudaaya bye babadde bantegekedde.”
12 (I)Bwe yamala okukakasa ebyo munda ye, n’atambula n’alaga mu maka ga Maliyamu nnyina wa Yokaana Makko, abantu bangi gye baali bakuŋŋaanidde nga basaba. 13 (J)Awo Peetero n’akonkona ku luggi olunene olw’ebweru, omuwala omuweereza erinnya lye Looda n’ajja okuggulawo. 14 (K)Naye bwe yategeera nga ddoboozi lya Peetero essanyu ne limuyitirira, n’adduka buddusi nga n’oluggi talugguddeewo, n’ategeeza abaali mu nju nti, “Peetero ali wabweru ku luggi!”
15 (L)Naye abaali mu nju ne bamuddamu nti, “Oguddemu akazoole.” Naye ne yeyongera okulumiriza nti ky’agamba bwe kiri. Ne bagamba nti, “Oyo malayika we.”
16 Naye Peetero n’ayongera okukonkona. Oluvannyuma ne bagenda ne baggulawo oluggi, ne bamulaba. Ne basamaalirira nnyo. 17 (M)N’abakomako basirike, n’alyoka abategeeza byonna ebyamubaddeko, nga Mukama bwe yamusumuludde mu kkomera. N’abagamba nti, “Mutegeeze Yakobo n’abooluganda bino byonna ebibaddewo.” Awo n’afuluma n’alaga mu kifo ekirala.
Yesu Awonya Omulwadde w’Olukonvuba
2 Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi Yesu n’akomawo mu kibuga Kaperunawumu, ne kiwulirwa nti ali ka. 2 (A)Abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne wataba kafo wayinzika kuyisibwa kigere ku mulyango; n’ababuulira Enjiri. 3 (B)Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ng’asituliddwa abasajja bana. 4 Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke. 5 (C)Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.” 6 Naye abamu ku bannyonnyozi b’amateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti, 7 (D)“Ono ayinza atya okwogera bw’atyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?” 8 Amangwago Yesu n’amanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka n’ababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe? 9 Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule? 10 (E)Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” n’agamba eyali akoozimbye nti, 11 “Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.” 12 (F)Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.