Book of Common Prayer
א Alefu
119 (A)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
abatambulira mu mateeka ga Mukama.
2 (B)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
3 (C)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
4 Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
5 Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
nga nkuuma bye walagira.
6 Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
7 Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
8 Nnaakwatanga amateeka go;
Ayi Mukama, tonsuulira ddala.
ב Bessi
9 (D)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (E)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (F)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
ndyoke nneme okwonoona.
12 (G)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
onjigirize amateeka go.
13 (H)Njatula n’akamwa kange
amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (I)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (J)Nnaasanyukiranga amateeka go,
era siigeerabirenga.
ג Gimero
17 (K)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (L)Nze ndi muyise ku nsi;
tonkisa bye walagira.
20 (M)Bulijjo emmeeme yange
eyaayaanira amateeka go.
21 (N)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
abaleka amateeka go.
22 (O)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
era ge gannuŋŋamya.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
12 (A)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
abantu abeesigwa bonna baweddewo.
2 (B)Buli muntu alimba munne;
akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.
3 (C)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
na buli lulimi olwenyumiriza;
4 nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
kubanga ani alitukuba ku mukono.”
5 (D)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
6 (E)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
Bigeraageranyizibwa n’effeeza
erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.
7 (F)Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
8 (G)Ababi beeyisaayisa
nga bagulumiza ebitaliimu nsa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
13 (H)Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
2 (I)Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?
3 (J)Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;
onzizeemu amaanyi nneme okufa.
4 (K)Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”
abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.
5 (L)Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
6 (M)Nnaayimbiranga Mukama,
kubanga ankoledde ebirungi.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
14 (N)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
“Tewali Katonda.”
Aboogera bwe batyo boonoonefu,
bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.
2 (O)Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi
ng’asinziira mu ggulu,
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,
era abanoonya Katonda.
3 (P)Naye bonna bakyamye
boonoonese;
teri akola kirungi,
era teri n’omu.
4 (Q)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
so tebakoowoola Mukama.
5 Balitya nnyo!
Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
6 (R)Mulemesa entegeka z’omwavu,
songa Mukama kye kiddukiro kye.
7 (S)Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!
Mukama bw’alirokola abantu be,
Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.
Samwiri Afuka Amafuta ku Dawudi
16 (A)Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Olituusa ddi okunakuwala olwa Sawulo, ate nga nze sikyamubala kuba kabaka wa Isirayiri? Jjuza ejjembe lyo amafuta nkutume eri Yese Omubesirekemu kubanga nnonze omu ku batabani be okuba kabaka.”
2 Naye Samwiri n’ayogera nti, “Nnaagenda ntya? Sawulo bw’anakiwulira ajja kunzita.” Mukama n’amugamba nti, “Weetwalire ennyana oyogere nti, ‘Nzize kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.’ 3 (B)Yita Yese ajje okuwaayo ssaddaaka, nzija kukulaga eky’okukola. Ojja kufuka amafuta ku oyo gwe nnaaba nnonze.”
4 (C)Samwiri n’akola ekyo Mukama kye yamulagira. Bwe yatuuka e Besirekemu abakulu b’ekibuga ne bakankana olw’okutya bwe baamusisinkana era ne bamubuuza nti, “Ojja mirembe?” 5 (D)N’abaddamu nti, “Weewaawo, mirembe. Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama. Mwetukuze tugende ffenna tuweeyo ssaddaaka.” N’atukuza Yese ne batabani be, n’abayita okujja okuwaayo ssaddaaka.
6 (E)Bwe baatuuka n’atunuulira Eriyaabu, n’alowooza nti, “Mazima Mukama ono gw’afuseeko amafuta, era y’ayimiridde kaakano mu maaso ga Mukama.” 7 (F)Naye Mukama n’agamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.”
8 (G)Awo Yese n’ayita Abinadaabu, n’amuyisa mu maaso ga Samwiri. Naye Samwiri n’ayogera nti, “Oyo naye Mukama si gw’alonze.” 9 Yese n’ayita Samma n’amusimbawo, naye Samwiri n’ayogera nti, “Era n’oyo Mukama si gw’alonze.” 10 Yese n’ayisa batabani be omusanvu mu maaso ga Samwiri, naye Samwiri n’amugamba nti, “Ku bo tekuli n’omu Mukama gw’alonze.” 11 (H)N’abuuza Yese nti, “Bano be batabani bo bokka?” Yese n’addamu nti, “Ekyasigaddeyo asingira ddala obuto, alunda ndiga.” Samwiri n’agamba Yese nti, “Mutumye; tetujja kuweera okutuusa lw’anajja.”
12 (I)N’amutumya, n’aleetebwa. Yali mumyufu, n’amaaso ge nga malungi, era ng’alabika bulungi nnyo. Awo Mukama n’ayogera nti, “Golokoka omufukeko amafuta; ye wuuyo.” 13 (J)Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.
Koluneeriyo Atumya Peetero
10 (A)Awo mu kibuga Kayisaliya mwalimu omusajja omuserikale, erinnya lye Koluneeriyo, eyakuliranga ekitongole ky’abaserikale ekikumi ekyayitibwanga Ekitaliano. 2 (B)Yali ayagala nnyo Katonda era ng’amusaamu nnyo ekitiibwa, ye n’ab’omu maka ge bonna, ng’agabira nnyo abaavu, era ng’asaba Katonda bulijjo. 3 (C)Lwali lumu ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo, n’ayolesebwa, n’alabira ddala malayika wa Katonda ng’ajja gy’ali, n’amuyita nti, “Koluneeriyo!”
4 (D)Koluneeriyo n’amutunuulira enkaliriza ng’atidde nnyo. N’amubuuza nti, “Mukama wange, ogamba ki?”
Malayika n’amuddamu nti, “Katonda awulidde okusaba kwo era alabye nga bw’ogabira abaavu bw’atyo n’akujjukira. 5 (E)Kale nno, tuma basajja bo e Yopa bakimeyo omuntu erinnya lye Simooni era ayitibwa Peetero ajje akukyalire. 6 (F)Abeera wa Simooni omuwazi w’amaliba, era enju ye eri ku lubalama lw’ennyanja.”
7 Malayika yali yaakagenda, Koluneeriyo n’ayita abaweereza be babiri n’omuserikale atya Katonda, omu ku baweereza, 8 (G)n’abannyonnyola byonna ebibaddewo, n’abatuma e Yopa.
Peetero Alabikirwa
9 (H)Ku lunaku olwaddirira bwe baali basemberera ekibuga, essaawa zaali ziwera nga mukaaga ez’omu ttuntu, Peetero n’alinnya waggulu ku kasolya k’ennyumba akaali akatereevu, okusaba. 10 (I)Yali ali eyo enjala n’emuluma, naye bwe baali bamuteekerateekera ekyokulya embeera ye n’ewaanyisibwa n’ayolesebwa. 11 N’alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ekifaanana ng’essuuka ennene ennyo, nga kinywezebbwa ku nsonda zaakyo ennya, nga kikka wansi ku ttaka. 12 Kyalimu ebisolo ebirina amagulu ana byonna, n’ebyewalula byonna eby’oku nsi n’ennyonyi zonna ez’omu bbanga. 13 Awo n’awulira eddoboozi nga ligamba nti, “Peetero, situka osale, olye!”
14 (J)Peetero n’addamu nti, “Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”
15 (K)Eddoboozi ne liddamu okwogera naye omulundi ogwokubiri nti, “Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.”
16 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ekiri ng’essuuka ne kizzibwayo mu ggulu.
12 (A)Kyokka Peetero n’adduka n’alaga ku ntaana, n’akutama n’alingiza n’alaba ng’engoye za linena Yesu mwe yali azingiddwa ziri wabbali zokka nga njereere, n’addayo eka nga yeewuunya.
Ku Luguudo lw’e Emawu
13 (B)Ku lunaku olwo lwennyini abasajja babiri, abamu ku abo abaagobereranga Yesu, baali batambula nga bagenda mu kabuga akayitibwa Emawu, akaali kilomita nga kkumi na bbiri okuva e Yerusaalemi. 14 Baali bagenda boogera ku kufa kwa Yesu. 15 (C)Amangwago Yesu yennyini n’abeegattako n’atambula nabo. 16 (D)Kyokka tebaamutegeera, kubanga ekyo Katonda yali akibakisizza.
17 Yesu n’abagamba nti, “Biki bye munyumyako nga bwe mutambula mu kkubo?”
Ne bayimirira ng’amaaso gaabwe gajjudde ennaku. 18 (E)Omu ku bo, erinnya lye Kulyoppa n’amuddamu nti, “Oli mugenyi mu Yerusaalemi atamanyi bya kitalo ebyaliwo mu wiiki eyise?”
19 (F)Yesu n’ababuuza nti, “Biki ebyo?” Ne baddamu nti, “Ebyagwa ku Yesu Omunnazaaleesi eyali omusajja Nnabbi ow’amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga eyakola ebyamagero ebyewuunyisa, era yali Muyigiriza wa kitalo, mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu bonna. 20 (G)Naye bakabona abakulu n’abakulembeze baffe baamukwata ne bamuwaayo n’asalirwa omusango ogw’okufa, ne bamukomerera ku musaalaba. 21 (H)Twali tusuubira nti, Ye Kristo anaalokola Isirayiri. 22 (I)Ebyo nga bikyali awo, nga wayiseewo ennaku ssatu bukyanga bino bibaawo abamu ku bakazi b’ewaffe baatwewuunyisizza. Olwa leero baakedde ku ntaana, 23 naye omulambo gwe tebaagusanzeemu. Bwe baakomyewo baatugambye nti bayolesebbwa ba bamalayika abaabagambye nti mulamu! 24 (J)Abamu ku bannaffe abasajja nabo ne bagendayo mangu, nabo ne basanga ng’omulambo gwa Yesu teguliimu mu ntaana, ng’abakazi bwe baagambye.”
25 Yesu n’abagamba nti, “Nga muli bantu basirusiru! Mmwe ab’emitima eminafu egirwawo okukkiriza bannabbi bye baategeeza! 26 (K)Tekyagwanira Kristo okubonaabona mu bintu byonna n’oluvannyuma alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” 27 (L)N’atandikira ku Musa n’ayitaayita mu bannabbi bonna ng’agenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.
28 Bwe baasemberera akabuga we baali bagenda, Yesu n’aba nga eyeeyongerayo, 29 naye ne bamuwaliriza asule ewaabwe kubanga n’obudde bwali buwungedde. N’akkiriza, asigale.
30 (M)Awo bwe yali ng’alya nabo n’addira omugaati, ne yeebaza n’agumenyamu, n’abawa. 31 (N)Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera! Ate n’ababulako mu kaseera ako! 32 (O)Ne batandika okwewuunaganya nga bagamba nti, “Emitima gyaffe tegyabuguumiridde bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”
33 Awo ne basituka mangu ne baddayo mu Yerusaalemi, ne basanga abayigirizwa ekkumi n’omu ne bannaabwe abalala nga bakuŋŋaanye, 34 (P)nga bagamba nti, “Ddala Mukama waffe azuukidde! Alabikidde Peetero!” 35 (Q)Ne bannyonnyola, nga Yesu bwe yabalabikira nga bali mu kkubo batambula, era nga bwe yategeerekeka gye bali ng’amaze okumenya omugaati.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.