Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 137

137 (A)Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
    ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
Ne tuwanika ennanga zaffe
    ku miti egyali awo.
(B)Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
    abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
    nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”

Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
    mu nsi eteri yaffe?
Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
    omukono gwange ogwa ddyo gukale!
(C)Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
    singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
    okusinga ebintu ebirala byonna.

(D)Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
    ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
    kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
(E)Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
    yeesiimye oyo alikusasula ebyo
    nga naawe bye watukola.
(F)Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
    n’ababetentera[b] ku lwazi.

Zabbuli 144

Zabbuli ya Dawudi.

144 (A)Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,
    atendeka emikono gyange okulwana,
    era ateekerateekera engalo zange olutalo.
(B)Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
    ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.
Ye ngabo yange mwe neekweka.
    Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.

(C)Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,
    oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
(D)Omuntu ali nga mukka.
    Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.

(E)Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
    Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
(F)Myansa abalabe basaasaane,
    era lasa obusaale bwo obazikirize.
(G)Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,
    omponye,
onzigye mu mazzi amangi,
    era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
(H)ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
    abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.

(I)Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
    nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 (J)ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
    amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.

11 (K)Ndokola, omponye onzigye
    mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
    era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.

12 (L)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
    babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
    okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala
    ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
    enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14     Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
    Waleme kubaawo kukaaba
    n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 (M)Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
    Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.

Zabbuli 104

104 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
    ojjudde obukulu n’ekitiibwa.

(B)Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
    n’abamba eggulu ng’eweema,
    (C)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
    ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
(D)Afuula empewo ababaka be,
    n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.

(E)Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(F)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
    amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
(G)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
    bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
(H)gaakulukutira ku nsozi ennene,
    ne gakkirira wansi mu biwonvu
    mu bifo bye wagategekera.
Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
    na kuddayo kubuutikira nsi.

10 (I)Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;
    ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;
    n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12 (J)Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,
    ne biyimbira mu matabi.
13 (K)Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;
    ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14 (L)Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,
    n’ebirime abantu bye balima,
    balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15 (M)Ne wayini okusanyusa omutima gwe,
    n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,
    n’emmere okumuwa obulamu.
16 Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;
    gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17 (N)Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;
    ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18 (O)Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;
    n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.

19 (P)Wakola omwezi okutegeeza ebiro;
    n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20 (Q)Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
    olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21 (R)Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;
    nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22 (S)Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma
    ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23 (T)Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
    ne bakola okutuusa akawungeezi.

24 (U)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
    Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
    ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (V)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
    ejjudde ebitonde ebitabalika,
    ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (W)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
    ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.

27 (X)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
    okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (Y)Bw’ogibiwa,
    nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
    ne bikkusibwa.
29 (Z)Bw’okweka amaaso go
    ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
    nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
    ne bifuna obulamu obuggya;
    olwo ensi n’ogizza buggya.

31 (AA)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
    era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (AB)Atunuulira ensi, n’ekankana;
    bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.

33 (AC)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
    nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (AD)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
    kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 (AE)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
    aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.

Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.

Mumutenderezenga Mukama.

1 Samwiri 14:16-30

16 (A)Abakuumi ba Sawulo abaali e Gibea mu Benyamini ne balaba ng’ekibinja kisaasaana okuddukira mu njuyi zonna. 17 Awo Sawulo n’alagira abasajja abaali naye nti, “Mubale abasajja bonna, mulabe ataliiwo.” Bwe baabala, ne bazuula nga Yonasaani n’eyasitulanga ebyokulyanyisa bye tebaliiwo.

18 (B)Sawulo n’agamba Akiya nti, “Leeta essanduuko ya Katonda,” kubanga mu biro ebyo yali mu mikono gy’Abayisirayiri. 19 (C)Awo Sawulo bwe yali ng’akyayogera ne kabona, akeegugungo ne keeyongera mu nkambi y’Abafirisuuti, n’agamba kabona nti, “Zaayo omukono gwo, ogira olindako.” 20 (D)Awo Sawulo n’abasajja be ne beekuŋŋaanya ne bagenda mu lutalo, ne basanga ng’Abafirisuuti balwanagana bokka ne bokka, nga bafumitagana ebitala. 21 (E)Abaebbulaniya abaabeeranga n’Abafirisuuti, abaali bagenze nabo mu nkambi, ne beegatta ku Bayisirayiri abaali ne Sawulo ne Yonasaani. 22 (F)Awo Abayisirayiri bonna abaali beekwese mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu bwe baawulira ng’Abafirisuuti badduse, amangwago nabo ne beenyigira mu lutalo ne bannaabwe. 23 (G)Mukama n’alokola Isirayiri ku lunaku olwo, olutalo ne lutuukira ddala e Besaveni.

Yonasaani Alya Omubisi gw’Enjuki

24 (H)Ku lunaku olwo abasajja Abayisirayiri baali bajjudde ennaku nnyingi nnyo kubanga Sawulo yali abalayizza ng’agamba nti, “Akolimirwe oyo yenna anaalya akantu konna ng’obudde tebunnawungeera, nga sinnaba kwesasuza ku balabe bange.” Awo ne wataba n’omu ku baserikale akomba ku kantu.

25 Awo abantu bonna bwe baatuuka mu kibira ne balaba omubisi gw’enjuki ku ttaka. 26 Bwe beeyongerayo munda mu kibira ne basanga nga gutonnya, naye ne wataba n’omu agukombako kubanga baali batya ekirayiro kye baakola. 27 (I)Naye Yonasaani yali tawulidde nga kitaawe alayiza abantu, kyeyava addira omuggo gwe yalina n’annyika omusa gwagwo mu bisenge by’enjuki, n’agukombako, amaaso ge ne ganyirira n’addamu amaanyi. 28 Awo omu ku baserikale n’amugamba nti, “Kitaawo yatukuutidde n’atulayiza nti, ‘Omuntu yenna anaalya ku mmere leero akolimirwe.’ Era ekyo kye kireetedde abaserikale okuggwaamu amaanyi.” 29 (J)Yonasaani n’ayogera nti, “Kitange aleetedde ensi yaffe emitawaana. Laba amaaso gange bwe ganyirira n’amaanyi gange bwe gakomyewo bwe nkombyeko ku mubisi guno ogw’enjuki. 30 Tekyandisinze nnyo leero singa abasajja baalidde ku munyago gw’abalabe baabwe? Era tebandisse Abafirisuuti abasinga awo obungi?”

Ebikolwa by’Abatume 9:10-19

10 (A)Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”

N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”

11 (B)Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga 12 (C)mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”

13 (D)Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. 14 (E)Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”

15 (F)Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” 16 (G)Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.

17 (H)Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” 18 Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. 19 (I)N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.

Lukka 23:32-43

32 (A)Waaliwo n’abasajja abalala babiri, bombi nga bamenyi ba mateeka, abaatwalibwa ne Yesu okuttibwa. 33 Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono. 34 (B)Yesu n’agamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.

35 (C)Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we.”

36 (D)N’abaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu, 37 (E)nga bagamba nti, “Obanga ggwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole!”

38 (F)Waggulu w’omutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti,

Ono ye Kabaka w’Abayudaaya.

39 (G)Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, “Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole.” 40 Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, “N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? 41 (H)Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze.”

42 (I)N’alyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo.”

43 (J)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.