Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:49-72

ז Zayini

49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
    kubanga gwe wampa essuubi.
50 (A)Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
    kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 (B)Ab’amalala banduulira obutamala,
    naye nze siva ku mateeka go.
52 (C)Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
    biwummuza omutima gwange.
53 (D)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
    abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
    buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 (E)Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
    ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
    nfunye emikisa gyo mingi.

ח Esi

57 (F)Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
    nasuubiza okukugonderanga.
58 (G)Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
    ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 (H)Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
    ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
    so seekunya.
61 (I)Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
    naye seerabirenga mateeka go.
62 (J)Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
    olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 (K)Ntambula n’abo abakutya,
    abo bonna abakwata amateeka go.
64 (L)Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
    onjigirize amateeka go.

ט Teesi

65 Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,
    ng’ekigambo kyo bwe kiri.
66 Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;
    kubanga nzikiririza mu mateeka go.
67 (M)Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,
    naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
68 (N)Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;
    onjigirize amateeka go.
69 (O)Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,
    naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
70 (P)Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;
    naye nze nsanyukira amateeka go.
71 Okubonerezebwa kwangasa,
    ndyoke njige amateeka go.
72 (Q)Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi
    okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.

Zabbuli 49

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

49 (A)Muwulire mmwe amawanga gonna,
    mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.
Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna;
    muwulirize ebigambo byange.
(B)Kubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi,
    ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.
(C)Nnaakozesanga ebikwata ku ngero,
    nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.

(D)Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu;
    newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde,
(E)abantu abeesiga obugagga bwabwe
    beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.
Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne,
    wadde okwegula okuva eri Katonda.
(F)Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo,
    tewali n’omu agusobola;
(G)alyoke awangaale ennaku zonna
    nga tatuuse magombe.
10 (H)Kubanga n’abantu abagezi bafa;
    abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
    obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
11 (I)Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna;
    nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo;
    baafuna ettaka mu mannya gaabwe.

12 Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya,
    alifa ng’ensolo bwe zifa.

13 (J)Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu,
    era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
14 (K)Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa;
    olumbe ne lubalya.
Bakka butereevu emagombe,
    obulungi bwabwe ne bubula,
    amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.
15 (L)Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe,
    ddala ddala alintwala gy’ali.
16 Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde,
    tomutyanga,
17 (M)kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
18 (N)Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa
    kubanga omugagga abantu bamugulumiza,
19 (O)kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe,
    n’ayingira mu kizikiza ekikutte.

20 (P)Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna,
    alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko.

Zabbuli 53

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

53 (A)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
    “Tewali Katonda.”
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;
    tewali n’omu akola kirungi.
(B)Katonda atunuulira abaana b’abantu
    ng’asinziira mu ggulu,
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera
    era abamunoonya.
(C)Bonna bamukubye amabega
    ne boonooneka;
tewali akola kirungi,
    tewali n’omu.

Aboonoonyi tebaliyiga?

Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Katonda.
(D)Balitya okutya okutagambika;
    kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.
Baliswazibwa
    kubanga Katonda yabanyooma.

Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,
    Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,
    Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.

Ekyamateeka Olwokubiri 13:1-11

13 (A)Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu n’akutegeeza eby’omu maaso nga yeeyambisa ebirooto, n’alangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, (B)era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe b’otomanyangako), (C)towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala n’omutima gwammwe gwonna n’emmeeme yammwe yonna. (D)Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga. (E)Kale nno nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo anattibwanga, kubanga anaabanga abasasamaza mujeemere Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, n’abanunula mu nnyumba ey’obuddu, nnabbi oyo ng’akusasamaza, ove mu kkubo ettuufu Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw’otyo ekibi ekiri mu mmwe, bw’onookimalangamu.

(F)Omuntu yenna, ne bw’abanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gw’oyagala ennyo ow’okulusegere, n’akusendasendanga mu kyama ng’agamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe b’otomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako, bakatonda ab’abantu ababeetoolodde, ab’oku muliraano, oba abeewala, okuva ensi gy’etandikira ne gy’ekoma, (G)tomuwulirizanga, so by’anaakugambanga tobikolanga. Tomusaasiranga era tomuzibiikirizanga wadde okumusonyiwanga. (H)Omuttiranga ddala. Gw’omusokangako ng’attibwa n’abantu bonna ne bassa okwo. 10 Onoomukubanga amayinja n’omutta, kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa akuggye ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu. 11 (I)Kale Isirayiri yonna banaakiwuliranga banaatyanga, era tewaabeerengawo mu mmwe n’omu anaddangayo okukola ekibi ng’ekyo.

2 Abakkolinso 7:2-16

Essanyu lya Pawulo

(A)Mutuggulirewo emitima gyammwe, kubanga tewali n’omu gwe twasobya. Tewali n’omu gwe twakyamya. Tewali n’omu gwe twali tulyazaamaanyizza. (B)Bino sibyogera ng’abasalira omusango, kubanga nabategeeza dda nti, Mulina ekifo mu mitima gyaffe, nga tubeera balamu ffenna era nga tufiira wamu nammwe. (C)Mbeesiga nnyo, era mbeenyumiririzamu nnyo; muŋŋumizza nnyo omwoyo ne mundeetera essanyu lingi wakati mu kubonaabona kwange.

(D)Bwe twatuuka mu Makedoniya tetwasobola kuwummulako, nga twetooloddwa ebibonoobono ebya buli ngeri, ebweru nga waliyo entalo ate munda mu ffe nga tutidde. (E)Naye Katonda agumya abo ababa batendewereddwa, n’atuzzaamu amaanyi olw’okutuuka kwa Tito. Okujja kwe si kwe kwokka okwatuleetera essanyu, naye n’amawulire agafa gye muli, ge yatuleetera n’engeri ennungi gye mwamwanirizaamu, ne bwe yantegeeza nga bwe mwali mwesunga okujja kwange, n’ennaku gye mwalina bwe mwategeera nga sikyazze, n’obunyiikivu bwammwe, ebyo ne binnyongera essanyu!

(F)Kuba bwe kiba nga ddala ebbaluwa gye nnabawandiikira yabanakuwaza, sikyejjusa; wabula ddala nkyejjusa, kubanga ebbaluwa eyo yabanakuwazaamu ekiseera kitono. Kaakano nnina essanyu, si lwa kubanga yabanakuwaza, naye lwa kubanga mwanakuwalira ekibi ne mwenenya, ne Katonda n’alaba okunakuwala kwammwe muleme okufiirwa ekigambo kyonna ku lwaffe. 10 (G)Kubanga okunakuwala okw’okwenenya eri Katonda kuleeta obulokozi, era tekuleeta kwejjusa; naye okunakuwala okw’ensi kuleeta kufa. 11 (H)Kubanga laba okunakuwala okwo Katonda kw’asiima kwabaleetera okwewala bino: okufuba ennyo, n’okwennyonnyolako, n’okusunguwala, n’okutya, n’okwegomba, n’okufuba ennyo okwenenya, n’okuwalana eggwanga. Mwakola kyonna kye musobola okulongoosa ekyasoba. 12 (I)Kale newaakubadde nga nabawandiikira ssawandiika ku lw’oyo eyakola ekibi, newaakubadde oyo gwe bakikola, wabula lwa kunyiikira kwammwe eri Katonda ku lwaffe. 13 (J)Noolwekyo ebyo byatuzzaamu endasi.

Bwe twaddamu endasi, tweyongera nnyo okusanyuka olw’essanyu lya Tito, kubanga omwoyo gwe gwawummuzibwa mmwe mwenna. 14 (K)Obanga nnenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe, temwanswaza, naye byonna nga bwe twabibategeeza bwe biri eby’amazima, era n’okwenyumiriza kwaffe ku Tito nakwo ne kuba kwa mazima. 15 (L)N’okwagala kw’alina kweyongera nnyo gye muli ng’ajjukira okugonda kwammwe mwenna, nga bwe mwamusembeza n’okutya n’okumussaamu ekitiibwa. 16 (M)Bino byonna bindeetera essanyu lingi, era mbesigira ddala.

Lukka 17:20-37

Okujja kw’Obwakabaka bwa Katonda

20 (A)Awo Abafalisaayo ne babuuza Yesu nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” Yesu n’abaddamu nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebulabika nga bujja, 21 (B)era abantu tebagenda kugamba nti, ‘Laba buubuno wano,’ oba nti, ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.”

22 (C)Oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku z’Omwana w’Omuntu, naye temulirulaba. 23 (D)Balibagamba nti lwe luno era nti lwe luli temugendanga era temubagobereranga. 24 (E)Kubanga ng’eggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olw’eggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olw’eggulu, bw’atyo bw’aliba Omwana w’Omuntu ku lunaku lwe, 25 (F)Naye okusooka kimugwanira okubonaabona mu bintu bingi, n’okugaanibwa, abantu ab’omulembe guno.

26 (G)“Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu. 27 Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.

28 (H)“Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba, 29 okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.

30 (I)“Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana w’Omuntu lw’alirabikirako. 31 (J)Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. N’abo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo. 32 (K)Mujjukire mukazi wa Lutti! 33 (L)Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya. 34 Mbagamba nti ku lunaku olwo abantu babiri baliba ku kitanda kimu, Omu alitwalibwa naye munne n’alekebwa. 35 (M)Abantu babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa. 36 Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.”

37 (N)Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?”

Yesu n’abaddamu nti, “Awaba ekifudde awo ensega[a] we zirikuŋŋaanira!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.