Add parallel Print Page Options

(A)Omuntu yenna omusajja oba omukazi abeera mu mmwe, mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by’akuwa, bw’anaakwatibwanga ng’akoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo, ng’amenye endagaano ya Mukama, (B)era ng’ajeemedde ekiragiro kyange n’asinza bakatonda abalala, ng’enjuba, oba omwezi, oba emmunyeenye ez’oku ggulu, bye siragiranga okubisinzanga, (C)ekikolwa ekyo ne kikutegeezebwangako; kale onookinoonyerezangako n’obwegendereza. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, ng’ekibi ekyo kikoleddwa mu Isirayiri, (D)onoofulumyanga omusajja oyo, oba omukazi oyo, akoze ekibi ekyo, wabweru wa wankaaki w’ekibuga n’omukuba amayinja, n’afa. (E)Omuntu anattibwanga nga wamaze kulabikawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, naye omuntu tattibwenga ku bujulizi bw’omuntu omu yekka. (F)Abajulizi be banaasookanga okukasuukirira omuntu oyo amayinja, n’abalala ne bagoberera. Kinaakusaaniranga okwemalangako ebibi ebinaabeeranga wakati mu mmwe.

Read full chapter

18 (A)Mukakasize ddala leero nga mu maka gammwe oba mu bika byammwe temulinaamu musajja oba mukazi n’omu akyamizza omutima gwe okuva ku Mukama Katonda waffe agende asinze bakatonda bali abalala abamawanga ago. Mukakasize ddala nga mu mmwe temuliimu kikolo okuyinza okukula obutwa obw’engeri eyo obukaawa ng’omususa.

Read full chapter