Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
61 (A)Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
wulira okusaba kwange.
2 (B)Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
3 (C)Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.
Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.
4 (D)Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
5 (E)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.
6 (F)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
7 (G)alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.
8 (H)Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
62 (I)Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
oyo obulokozi bwange mwe buva.
2 (J)Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.
3 (K)Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi
ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
4 (L)Bateesa okumuggya
mu kifo kye ekinywevu,
basanyukira eby’obulimba.
Basaba omukisa n’emimwa gyabwe
so nga munda bakolima.
5 Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
6 Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
7 (M)Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
8 (N)Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.
9 (O)Abaana b’abantu mukka bukka,
abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
n’omukka gubasinga okuzitowa.
10 (P)Temwesigamanga ku bujoozi
wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
era temubumalirangako mwoyo gwammwe.
11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
12 (Q)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
ng’ebikolwa bye bwe biri.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.
68 (A)Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
n’abo abamukyawa bamudduke.
2 (B)Ng’empewo bw’efuumuula omukka,
naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
3 (C)Naye abatuukirivu basanyuke
bajagulize mu maaso ga Katonda,
nga bajjudde essanyu.
4 (D)Muyimbire Katonda,
muyimbe nga mutendereza erinnya lye;
mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.
Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
5 (E)Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;
ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
6 (F)Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,
aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;
naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.
7 (G)Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
n’obayisa mu ddungu,
8 (H)ensi yakankana,
eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
9 (I)Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;
ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 (J)abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,
abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
11 Mukama yalangirira;
ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:
12 (K)“Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe;
abantu ne bagabana omunyago.
13 (L)Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu!
Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa
ebiwaawaatiro byalyo.”
14 (M)Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka,
ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni.
15 Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani;
ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani!
16 (N)Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi?
Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako?
Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
17 (O)Mukama ava ku lusozi Sinaayi
nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi
n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
18 (P)Bwe walinnyalinnya olusozi,
ng’abanyage bakugoberera;
abantu ne bakuwa ebirabo
nga ne bakyewaggula mwebali;
bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.
19 (Q)Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,
eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 (R)Katonda waffe ye Katonda alokola;
era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
21 (S)Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be,
kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.
22 (T)Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani,
ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 (U)mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe,
n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”
24 (V)Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda,
balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
25 (W)abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega
ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
26 (X)Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene;
mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.
27 (Y)Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde,
ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda,
n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.
28 Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda,
otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
29 (Z)Bakabaka balikuleetera ebirabo
olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.
30 (AA)Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu,
eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga.
Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza.
Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
31 (AB)Ababaka baliva e Misiri,
ne Kuusi aligondera Katonda.
32 Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna.
Mutendereze Mukama.
33 (AC)Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda,
eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
34 (AD)Mulangirire obuyinza bwa Katonda,
ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri;
obuyinza bwe buli mu bire.
35 (AE)Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu.
Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi.
Katonda atenderezebwe.
Okweronderawo ku Bulamu n’Okufa
11 (A)Etteeka lye nkulagira leero terisaana kukukaluubirira, kubanga terikuli wala nnyo. 12 (B)Teriri mu ggulu, n’okugamba ne kikugambisa nti, “Ani anaatulinnyirayo mu ggulu n’atulireeterayo tulyoke tuliwulire tuligonderenga?” 13 So teriri mitala wa nnyanja, olyoke ogambe nti, “Ani anaatusomokera ennyanja, alituleetere tuwulire bye ligamba, tuligondere?” 14 Nedda, ekigambo kiri kumpi ddala ne w’oli, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo, olyoke okigondere. 15 (C)Kale laba, olwa leero ntadde mu maaso go obulamu n’okufa. 16 Kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, awamu n’okukwatanga amateeka ge n’okugobereranga ebiragiro bye byonna. Bw’onookolanga bw’otyo ojjanga kuba mulamu era oyale, ne Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’oyingira okugifuna.
17 Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n’otowulira, era bw’onoosendebwasendebwanga okusinzanga bakatonda abalala n’okubaweerezanga, 18 (D)mbalangirira leero nti, Mugenda kuzikirizibwa; era temuliwangaala mu nsi gy’ogenda okusomokera omugga Yoludaani okugiyingira okugifuna.
19 (E)Ku lunaku lwa leero nkoowoola eggulu n’ensi nga be bajulirwa bange, ku mmwe, abategedde nga ntadde mu maaso gammwe, obulamu n’okufa; n’emikisa n’ebikolimo. Kale nno londawo obulamu, olyoke obeerenga mulamu, ggwe n’ezzadde lyo: 20 (F)ng’oyagalanga Mukama Katonda wo, ng’owuliranga eddoboozi lye, era nga weekwatira ddala ku ye. Kubanga Mukama bwe bulamu bwo n’okuwangaala; alyoke akuwenga emyaka mingi mu nsi Mukama gye yalayirira okugiwa bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo.
Pawulo n’abatume ab’obulimba
11 (A)Mbasaba mungumiikirizeeko mu busirusiru bwange obutono, weewaawo mungumiikirize. 2 (B)Mbakwatirwa obuggya, obuggya bwa Katonda, kubanga naboogereza omusajja omu, nga muli mbeerera zennyini, ne mbawaayo eri Kristo; 3 (C)kyokka neeraliikirira nnyo nga ntya nti si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze n’obutukuvu obuli mu Kristo. 4 (D)Bwe wabaawo omuntu ajja n’ababuulira Yesu omulala gwe tutabuulira, oba ne mufuna omwoyo omulala, gwe mutafunanga, oba ne mubuulirwa Enjiri endala gye mutabuulirwanga, mubigumiikiriza. 5 Kubanga ndowooza ng’abatume abakulu ennyo tebalina kye bansinza. 6 (E)Kubanga newaakubadde nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye si mu kutegeera, wabula mu ngeri yonna twaboolesa ebintu byonna.
7 (F)Oba nasobya bwe netoowaza mulyoke mugulumizibwe, bwe nabuulira Enjiri ya Katonda ey’obwereere? 8 (G)Nanyaga ekkanisa endala, kubanga zampeerezanga ensimbi ne nzikozesa nga ndi nammwe ndyoke mbaweereze, 9 (H)era bwe nnali nammwe ne mbaako bye neetaaga, ssaazitoowerera muntu yenna kubanga abooluganda abaava e Makedoniya bampanga byonna bye nnali neetaaga, ne neekuuma nnyo obutabazitoowerera mu buli kintu, era nzija kwongera okwekuuma bwe ntyo. 10 (I)Ng’amazirna ga Kristo bwe gali mu nze, okwenyumiriza kuno tekujja kuziyizibwa mu nze mu bitundu bya Akaya. 11 (J)Lwaki? Olw’okubanga sibaagala? Katonda amanyi nga mbaagala. 12 Naye nzija kweyongera okukola nga bwe nkola ndyoke nziggyewo omukisa eri abo abaagala okukozesa omukisa ogwo abaagala okulabika nga ffe mu kwenyumiriza kwabwe. 13 (K)Abantu ng’abo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo. 14 Naye ekyo tekyewuunyisa, kubanga Setaani yeefuula nga malayika ow’omusana. 15 (L)Noolwekyo abamuweereza bwe beefuula ng’abaweereza b’obutuukirivu tekitwewuunyisa. Ku nkomerero bagenda kubonerezebwa ng’ebikolwa byabwe biri.
Okubonaabona kwa Pawulo
16 (M)Nziramu okubagamba nti omuntu yenna aleme kundowooza kuba musirusiru; kyokka ne bwe mundowooza okuba omusirusiru, munsembeze, nange neenyumirizeeko katono. 17 (N)Kaakano bye njogera Mukama si yandagidde okubyogera, wabula neeyisa ng’omusirusiru mu buvumu buno obw’okwenyumiriza. 18 (O)Naye obanga bano beenyumiriza mu by’omubiri nange ka nneenyumirize. 19 (P)Mmwe muli bagezi, kyemuva mugumiikiriza abasirusiru. 20 Omuntu yenna bw’abafuula abaddu, oba n’abanyaga, oba n’abalyazaamanya, oba ne yeegulumiza, oba n’abakuba empi, mukigumiikiriza. 21 (Q)Ekyo kinswaza okukyogera kubanga tubadde banafu mu ekyo. Naye omuntu yenna kye yeewaayo okukola, nga njogera mu busirusiru, nange neewaayo okukikola.
Zaakayo Omusolooza w’Omusolo
19 (A)Awo Yesu n’atuuka mu kibuga Yeriko, n’ayitamu. 2 Mu kibuga omwo mwalimu omusajja erinnya lye Zaakayo; yali mukulu wa bawooza, era yali mugagga nnyo. 3 N’afuba okulaba Yesu, naye n’atasobola ng’ali mu kibiina ky’abantu kubanga yali mumpi. 4 (B)Kyeyava adduka ne yeesooka ekibiina mu maaso, n’alinnya omuti omusukamooli asobole okulaba Yesu ng’ayitawo.
5 Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.” 6 Awo Zaakayo n’akka mangu okuva ku muti n’atwala Yesu mu nnyumba ye ng’ajjudde essanyu.
7 (C)Abantu bonna abaakiraba ne batandika okwemulugunya nga bagamba nti, “Agenze okukyalira omuntu alina ebibi.”
8 (D)Awo Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”
9 (E)Yesu n’amugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu. 10 (F)Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.