Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.
75 (A)Tukwebaza, Ayi Katonda.
Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.
2 Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
era nsala omusango gwa bwenkanya.
3 (B)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
naye nze nywezezza empagi zaayo.”
4 (C)Nalabula ab’amalala bagaleke,
n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
5 Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
n’okwogera nga muduula.
6 Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
7 (D)wabula biva eri Katonda;
era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
8 (E)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.
9 (F)Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;
nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.
10 (G)Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,
naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.
76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
2 (H)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
era abeera mu Sayuuni.
3 (I)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.
4 Owa ekitangaala,
oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
5 (J)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
okuyimusa omukono gwe.
6 (K)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.
7 (L)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
8 (M)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
9 (N)bw’ogolokoka okusala omusango,
okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (O)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (P)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
ne bakabaka b’ensi bamutya.
Zabbuli ya Dawudi.
23 (A)Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
2 (B)Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
3 (C)Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
olw’erinnya lye.
4 (D)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
bye binsanyusa.
Zabbuli ya Dawudi.
27 (A)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
ani asobola okuntiisa?
2 (B)Abalabe bange n’abantu ababi bonna
bwe banannumba nga baagala okunzita,
baneesittala
ne bagwa.
3 (C)Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,
omutima gwange teguutyenga;
olutalo ne bwe lunansitukirangako,
nnaabanga mugumu.
4 (D)Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
5 (E)Kubanga mu biseera eby’obuzibu
anansuzanga mu nju ye;
anankwekanga mu weema ye,
n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.
6 (F)Olwo ononnyimusanga
waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.
Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;
nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.
7 (G)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
onkwatirwe ekisa onnyanukule!
8 Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
9 (H)Tonneekweka,
so tonyiigira muweereza wo,
kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
Mukama anandabiriranga.
11 (I)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
era onkulembere mu kkubo lyo,
kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (J)Tompaayo mu balabe bange,
kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
okunkambuwalira.
Okulabula Okusembayo
13 (A)Omulundi guno gwe nzija gye muli gwe gwokusatu. Buli kigambo kirikakasibwa abajulirwa babiri oba basatu nga boogedde. 2 (B)Nabalabula era mbalabula nga bwe nabalabula bwe nnali eyo omulundi ogwokubiri, era ne kaakano nga ssiriiyo, abo abaayonoona edda n’abalala bonna, nti bwe ndikomawo ssirisaasira, 3 (C)nga bwe munoonya okukakasa oba nga njogerera mu Kristo, atali munafu gye muli, wabula ow’amaanyi mu mmwe. 4 (D)Kubanga newaakubadde nga yakomererwa mu bunafu, kyokka mulamu mu maanyi ga Katonda. Naffe tuli banafu mu mibiri gyaffe nga tuli mu ye, naye tuliba balamu mu ye olw’amaanyi ga Katonda olw’omulimu gwe tukola mu mmwe.
5 (E)Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa. 6 Naye nsuubira nga mumanyi nti tetuli abataakakasibwa. 7 Kaakano tubasabira eri Katonda obutakola kibi na kimu, si lwa kwagala kulabika nga tusiimibwa, wabula mmwe mukole ebirungi, ffe ne bwe tunaasigala nga tetusiimibbwa. 8 Kubanga tetuyinza kuwakanya mazima, wabula tugawagira buwagizi. 9 (F)Ffe kitusanyusa bwe tuba abanafu, mmwe ne muba ab’amaanyi. Tubasabira mmwe okuzzibwa obuggya. 10 (G)Mbawandiikira kubanga siri nammwe, bwe ndijja nneme kubakambuwalira, okusinziira ku buyinza Mukama bwe yampa okubazimba, so si okubazikiriza.
Okusiibula n’omukisa
11 (H)Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.
12 (I)Mulamusagane n’okulamusa okutukuvu.
13 (J)Abatukuvu bonna babalamusizza.
14 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’okussekimu okwa Mwoyo Mutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.
Yesu Bamubuuza Obuyinza gy’Abuggya
20 (A)Awo Yesu bwe yali ng’ayigiriza era ng’abuulira Enjiri mu luggya lwa Yeekaalu, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali. 2 (B)Ne bamubuuza nti, “Tubuulire, buyinza ki obukukozesa bino? Era ani eyakuwa obuyinza obwo?”
3 Yesu n’addamu nti, “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kino. 4 (C)Okubatiza kwa Yokaana kwava eri Katonda nandiki kwava mu bantu?”
5 Ne basooka okwogeraganyaamu bokka ne bokka nga bagamba nti, “Bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ 6 (D)Naye ate bwe tunaddamu nti, ‘Kwava mu bantu,’ abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bamatizibwa nti Yokaana yali nnabbi.”
7 Kyebaava baddamu nti, “Tetumanyi gye kwava.”
8 Yesu n’abagamba nti, “Nange sijja kubabuulira gye nzigya obuyinza obunkozesa bino.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.