Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 55

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

55 (A)Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda,
    togaya kwegayirira kwange.
    (B)Ompulire era onziremu,
kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.
    (C)Mpulira amaloboozi g’abalabe bange;
    ababi bankanulidde amaaso
ne banvuma nga bajjudde obusungu.

(D)Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange;
    entiisa y’okufa entuukiridde.
(E)Okutya n’okukankana binnumbye;
    entiisa empitiridde.
Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba,
    nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
“Nandiraze wala nnyo,
    ne mbeera eyo mu ddungu;
(F)nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu,
    eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”

(G)Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;
    kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
10 Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro,
    ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.
11 (H)Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo.
    Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.

12 Singa omulabe wange y’abadde anvuma,
    nandikigumiikirizza;
singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira,
    nandimwekwese.
13 (I)Naye ggwe munnange,
    bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
14 (J)Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda,
    nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.

15 (K)Okufa kubatuukirire,
    bakke emagombe nga bakyali balamu;
    kubanga bajjudde okukola ebibi.

16 Naye nze nkoowoola Mukama Katonda,
    n’andokola.
17 (L)Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu,
    ndaajana nga bwe nsinda;
    n’awulira eddoboozi lyange.
18 Amponyezza mu lutalo
    nga siriiko kintuseeko
    newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.
19 (M)Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna,
    aliwulira n’ababonereza
abo abatakyusa makubo gaabwe
    era abatatya Katonda.

20 (N)Agololera emikono gye ku mikwano gye;
    n’amenya endagaano ye.
21 (O)By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo,
    so nga mu mutima gwe alowooza lutalo;
ebigambo bye biweweera okusinga amafuta,
    so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.

22 (P)Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,
    ajja kukuwanirira;
    kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
23 (Q)Naye ggwe, Ayi Katonda,
    olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira;
era abatemu n’abalimba bonna
    tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe.

Naye nze, neesiga ggwe.

Zabbuli 138:1-139:23

Zabbuli Ya Dawudi.

138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
    ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
(B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
    ne ntendereza erinnya lyo
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
    n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
    n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.

(C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
    nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
    kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

(D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
    naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
(E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
    naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
    era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
(F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
    kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
    Tolekulira ebyo bye watonda.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

139 (G)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
    n’otegeera byonna ebiri munda yange.
(H)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
    era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
(I)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
    Omanyi amakubo gange gonna.
(J)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
    okimanya nga sinnaba na kukyogera.
(K)Ondi mu maaso n’emabega,
    era ontaddeko omukono gwo.
(L)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
    era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.

(M)Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
    Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
(N)Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
    bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
    ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 (O)era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
    omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
    n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 (P)Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
    ekiro kyakaayakana ng’emisana;
    kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.

13 (Q)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
    ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (R)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
    emirimu gyo gya kyewuunyo;
    era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (S)Wammanya nga ntondebwa,
    bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16     Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
    zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (T)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
    Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
    bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
    oba okyandowoozaako.

19 (U)Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
    abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 (V)Abantu abo bakwogerako bibi;
    bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 (W)Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
    abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22 Mbakyayira ddala nnyo,
    era mbayita balabe bange.
23 (X)Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
    Ngezesa omanye ebirowoozo byange.

Ekyamateeka Olwokubiri 29:2-15

(A)Awo Musa n’ayita Abayisirayiri bonna n’abagamba nti, Mwalaba n’amaaso gammwe ebyo byonna Mukama Katonda bye yakolera mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna. (B)Walaba n’amaaso go ebigezo ebinene, n’obubonero obw’ebyamagero, n’ebyewuunyisa ebikulu. (C)Naye n’okutuusa ku lunaku lwa leero Mukama tabawanga mutima ogutegeera, oba amaaso agalaba, oba amatu agawulira. (D)Bwe nabakulembera okumala emyaka amakumi ana mu ddungu engoye zammwe tezaakaddiwako, n’engatto y’omu kigere kyo teyakaddiwa. (E)Temwalya ku mugaati wadde okunywa ku nvinnyo, oba ku kyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza. Ekyo nakikola mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe.

(F)Bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w’e Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani, ne basituka okutulwanyisa, naye ne tubawangula. (G)Twatwala ensi yaabwe, ne tugigabira Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, okuba obutaka bwabwe obw’ensikirano.

(H)Noolwekyo mukwatenga ebigambo by’endagaano eno n’obwegendereza, mulyoke muwangulenga mu buli kimu kye munaakolanga. 10 Mukuŋŋaanye wano leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli n’abakulembeze b’ebika byammwe, n’abakulu bammwe abakulembeze, n’abafuzi bammwe, n’abasajja bonna aba Isirayiri, 11 (I)n’abaana bammwe abato, ne bakazi bammwe, ne munnaggwanga asula awamu naawe mu lusiisira lwo, okukutyabira enku, n’okukukimira amazzi. 12 Oli wano okukola endagaano ne Mukama Katonda wo, ng’ekirayiro gy’ali, Mukama Katonda wo gy’akola naawe leero; 13 (J)alyoke akukakase ng’akunyweza leero okubeeranga eggwanga lye, naye nga ye Katonda wo, nga bwe yakusuubiza, era nga bwe yalayirira bakadde bo: Ibulayimu ne Isaaka. 14 (K)Endagaano eno gye nkola, ng’eriko n’ekirayiro kyayo, 15 (L)sigikola nammwe abayimiridde wano naffe leero mwekka, wabula ngikola wamu n’oyo atali wano naffe leero.

2 Abakkolinso 9

Okuyamba Bakristaayo bannaabwe

(A)Mmanyi bulungi nga tekinneetaagisa kubawandiikira ku nsonga y’okuweereza abatukuvu; (B)kubanga mmanyi nga bwe mwagala ennyo okuyamba, ne mikwano gyaffe wano mu Makedoniya nabategeezaako nga nnenyumiriza ku lwammwe nti ab’omu Akaya babadde beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita, era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi. (C)Nabatumira abooluganda okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere mu nsonga eyo, mube beetegefu nga bwe nagamba. (D)Si kulwa ng’ab’e Makedoniya bajja nange ne babasanga nga temwetegese, ne tuswala, ne bwe tutaboogerako nti ye mmwe, mu kubeesiga mmwe. (E)Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okubagumya abooluganda, bano babasookeyo, bateeketeeke ekirabo kye mwasuubiza, ekirabo ekyo kitegekebwe kibeere omukisa so si ekintu eky’okuwalirizibwa.

(F)Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.” (G)Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu. (H)Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, (I)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Yasaasaanya, yagabira abaavu.
    Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.”

10 (J)Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu. 11 (K)Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.

12 (L)Kubanga omulimu gw’obuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda. 13 (M)Olw’obukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olw’okugonda okw’okwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, n’eri abantu bonna, 14 era n’okubasabira kwe babasabira kubanga babaagala nnyo olw’ekisa kya Katonda eky’ekitalo kye mulina; 15 (N)Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitayogerekeka.

Lukka 18:15-30

Yesu n’Abaana Abato

15 Lumu ne wabaawo abaaleetera Yesu abaana baabwe abato abakwateko abawe omukisa. Naye abayigirizwa bwe baakiraba ne bajunga abaabaleeta. 16 Naye Yesu abaana n’abayita, n’agamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be b’obwakabaka bwa Katonda. 17 (A)Ddala ddala mbagamba nti atayaniriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu n’akatono.”

Omukungu Omugagga

18 (B)Awo omu ku bakulembeze b’Abayudaaya n’abuuza Yesu nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” 19 Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ompita omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. 20 (C)Amateeka ogamanyi nti, ‘Toyendanga, tottanga, tobbanga, tolimbanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”

21 N’amuddamu nti, “Amateeka ago gonna ngagondedde ebbanga lyonna okuva mu buto bwange.”

22 (D)Yesu bwe yawulira ebyo, n’amugamba nti, “Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, olibeera n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

23 Naye bwe yawulira ebigambo ebyo n’agenda ng’anakuwadde nnyo, kubanga yali mugagga nnyo. 24 (E)Yesu bwe yamulaba ng’anakuwadde nnyo, n’ayogera nti, “Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25 Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”

26 Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”

27 (F)Yesu n’addamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”

28 (G)Peetero n’amugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!”

29 Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti teri muntu n’omu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olw’obwakabaka bwa Katonda, 30 (H)atalifuna mirundi mingi n’okusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.