Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:1-24

א Alefu

119 (A)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
    abatambulira mu mateeka ga Mukama.
(B)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
    era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
(C)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
    n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
    nga nkuuma bye walagira.
Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
    ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
    nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
Nnaakwatanga amateeka go;
    Ayi Mukama, tonsuulira ddala.

ב Bessi

(D)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
    Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (E)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
    tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (F)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
    ndyoke nneme okwonoona.
12 (G)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
    onjigirize amateeka go.
13 (H)Njatula n’akamwa kange
    amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
    ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (I)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
    ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (J)Nnaasanyukiranga amateeka go,
    era siigeerabirenga.

ג Gimero

17 (K)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
    ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
    eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (L)Nze ndi muyise ku nsi;
    tonkisa bye walagira.
20 (M)Bulijjo emmeeme yange
    eyaayaanira amateeka go.
21 (N)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
    abaleka amateeka go.
22 (O)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
    kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
    naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
    era ge gannuŋŋamya.

Zabbuli 12-14

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

12 (A)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
    abantu abeesigwa bonna baweddewo.
(B)Buli muntu alimba munne;
    akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.

(C)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
    na buli lulimi olwenyumiriza;
nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
    kubanga ani alitukuba ku mukono.”

(D)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
    n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
    ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
(E)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
    Bigeraageranyizibwa n’effeeza
    erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.

(F)Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
    n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
(G)Ababi beeyisaayisa
    nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

13 (H)Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
    Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
(I)Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
    n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
    Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?

(J)Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;
    onzizeemu amaanyi nneme okufa.
(K)Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”
    abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.

(L)Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
    era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
(M)Nnaayimbiranga Mukama,
    kubanga ankoledde ebirungi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

14 (N)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
    “Tewali Katonda.”
Aboogera bwe batyo boonoonefu,
    bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.

(O)Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi
    ng’asinziira mu ggulu,
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,
    era abanoonya Katonda.
(P)Naye bonna bakyamye
    boonoonese;
teri akola kirungi,
    era teri n’omu.

(Q)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
    Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Mukama.
Balitya nnyo!
    Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
(R)Mulemesa entegeka z’omwavu,
    songa Mukama kye kiddukiro kye.

(S)Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!
    Mukama bw’alirokola abantu be,
    Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.

1 Bassekabaka 3:1-15

Sulemaani Asaba Amagezi

(A)Awo Sulemaani n’akola endagaano ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri era n’awasa muwala we. N’amuleeta mu kibuga kya Dawudi okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye n’ennyumba ya Mukama, era ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi. (B)Kyokka ennyumba ya Mukama yali tenazimbibwa, abantu nga baweerayo ssaddaaka mu bifo eby’enjawulo. (C)Sulemaani n’ayagala Mukama, ng’atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe, newaakubadde nga yaweerangayo ssaddaaka era ng’ayotereza n’obubaane ku bifo ebigulumivu.

(D)Awo kabaka n’agenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekikulu mu byonna, era Sulemaani n’aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi. (E)Mukama n’alabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda n’amugamba nti, “Saba ky’oyagala kyonna kye mba nkuwa.”

(F)Sulemaani n’addamu nti, “Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gy’oli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gy’oli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gy’ali n’omuwa omwana okutuula ku ntebe ye ey’obwakabaka leero. (G)Kaakano, Ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo okuba kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Naye ndi mwana muto era simanyi ngeri ya kuddukanyaamu mirimu gyange. (H)Omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga ekkulu, eritabalika. (I)Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi n’ekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?”

10 Mukama n’asanyuka kubanga Sulemaani yasaba ekyo. 11 (J)Katonda n’amugamba nti, “Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kw’abalabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango, 12 (K)n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana. 13 (L)Era ndikuwa, ne by’otosabye: obugagga n’ekitiibwa waleme kubeerawo kabaka akwenkana mu kiseera kyo. 14 (M)Era bw’onootambuliranga mu makubo gange, n’okukwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yakola, ndyongera ku nnaku zo.” 15 (N)Awo Sulemaani n’azuukuka n’amanya nga kibadde kirooto.

N’akomawo e Yerusaalemi, n’ayimirira mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, era n’agabula abaweereza be ekijjulo.

Ebikolwa by’Abatume 27:9-26

Okulabula kwa Pawulo Kulagajjalirwa

(A)Bwe waayitawo ebbanga ddene, n’obudde nga butandise okwonoonekera ddala, era nga kyakabi okwolekera olugendo, ate era nga n’ekisiibo kyayita dda, Pawulo n’abawa amagezi, 10 (B)ng’agamba nti, “Bassebo, ndaba nti olugendo lujja kubeeramu emitawaana n’okufiirwa kungi, si kwa bintu byokka n’ekyombo, naye n’obulamu bwaffe.” 11 Naye omukulu w’ekitongole n’awalirizibwa okugondera amagezi g’omugoba w’ekyombo ne nannyini kyo okusinga Pawulo bye yayogera. 12 Olw’okubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu mu kiseera ky’obutiti, abasinga obungi kyebaava basemba eky’okweyongerayo, nga basuubira nti obanga kisoboka tutuuke e Foyiniiki, we baba bamala ekiseera eky’obutiti ku mwalo gwa Kuleete ogwali gutunuulidde obukiikaddyo n’ebugwanjuba, n’obukiikakkono n’ebugwanjuba.

Omuyaga

13 Mu kiseera ekyo empewo n’efuluma mu bukiikaddyo nga nzikakkamu, ne balowooza nti kye baali bagenderera bakifunye ne basikayo ennanga ne bagendera kumpi n’olukalu lwa Kuleete. 14 (C)Naye waali tewannayita bbanga ddene, omuyaga ogw’amaanyi ennyo oguyitibwa Ewulakulo, ne gukunta n’amaanyi mangi nnyo. 15 Ne gufuuwa ekyombo ne kiva mu kkubo lyakyo, ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tuguleka ne gututwala nga bwe gwayagala. 16 Oluvannyuma ne tuyita ku mabbali g’akazinga akayitibwa Kawuda, mu kutegana, 17 (D)ne tukwata akaato akeeyambisibwa mu kabenje, ne bakasibira okwo n’emiguwa okwetooloola ekyombo, ne bakanyweza. Olw’okutya nti ekyombo kiyinza okuwagamira mu musenyu gwa Suluti, kyebaava bassa ettanga eddene ne baleka ekyombo ne kitwalibwa omuyaga. 18 (E)Olunaku olwaddirira omuyaga ne gweyongera amaanyi, abalunnyanja ne batandika okusuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo. 19 Ne ku lunaku olwokusatu ne bakwata ebintu ebikola ku kyombo ne babisuula mu nnyanja. 20 Ne tumala ennaku nnyingi nga tetulabye ku njuba wadde emunyeenye, gwo omuyaga nga gutuzunza n’amaanyi gaagwo gonna; olwo essuubi lyaffe lyonna ery’okuwona ne lituggweeramu ddala.

Obuvumu bwa Pawulo n’okukkiriza kwe

21 (F)Bwe baamala ebbanga nga n’okulya tebaagala kulya, Pawulo n’alyoka ayimirira wakati mu bo, n’abagamba nti, “Abasajja kyabagwanira okumpuliriza obutava Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu n’okulumizibwa! 22 (G)Naye kaakano mugume omwoyo! Kubanga tewali n’omu ajja kufa, wabula ekyombo kyokka kye kijja okuzikirira. 23 (H)Kubanga ekiro ekyayise, malayika wa Katonda wange gwe mpeereza, yayimiridde we ndi, 24 (I)n’aŋŋamba nti, ‘Totya, Pawulo, kubanga kikugwanira okuyimirira mu maaso ga Kayisaali owozesebwe, era laba, Katonda akuwadde obuvunaanyizibwa ku abo bonna b’oli nabo mu kyombo.’ 25 (J)Noolwekyo mugume omwoyo! Kubanga nzikiriza Katonda nga mu ngeri yonna kijja kuba nga bwe kyaŋŋambiddwa. 26 (K)Naye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga.”

Makko 14:1-11

Omukazi Asiiga Yesu Amafuta ag’Omuwendo

14 (A)Embaga ey’Okuyitako[a], kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte. Ne bagamba nti, “Si mu kiseera ky’embaga y’Okuyitako, kubanga abantu bayinza okuleetawo akeegugungo.”

(B)Mu kiseera ekyo Yesu ng’ali Besaniya mu nnyumba y’omusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ng’atudde, omukazi n’ayingira ng’alina eccupa, eyalimu amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi. N’ayasa eccupa n’asiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu. Abamu ku abo abaaliwo ne basunguwalira nnyo ekikolwa ekyo, nga beebuuza nti, “Amafuta ago gafudde ki? Wakiri singa gatundiddwa dinaali ezisukka mu bikumi ebisatu, ne ziweebwa abaavu!” Ne bamwemulugunyiza.

Naye Yesu n’abagamba nti, “Omukazi mumuleke. Lwaki mumuteganya? Ankoledde ekikolwa kirungi. (C)Abaavu muli nabo bulijjo, era muyinza okubakolera obulungi buli we mwagalidde, naye Nze sijja kubeera nammwe bulijjo. (D)Akoze ky’asobola, omubiri gwange agusiigiddewo amafuta ag’akaloosa nga bukyali, ng’aguteekateeka okuziikibwa. (E)Ddala ddala mbagamba nti buli kifo kyonna Enjiri gy’eneebuulirwanga mu nsi yonna, ekikolwa ky’omukazi ono kinajjukirwanga era kinaayongerwangako okumujjukiranga.”

Yuda Alya mu Yesu Olukwe

10 (F)Awo Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu ekkumi n’ababiri, n’agenda eri bakabona abakulu alabe bw’anaalyamu Yesu olukwe amubawe. 11 Bakabona abakulu bwe baakiwulira ne basanyuka nnyo, ne bamusuubiza okumuwa ensimbi. Bw’atyo Yuda n’atandika okunoonyereza engeri entuufu w’anaaweerayo Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.