Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 101

Zabbuli ya Dawudi.

101 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;
    nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,
    naye olijja ddi gye ndi?

Nnaabeeranga mu nnyumba yange
    nga siriiko kya kunenyezebwa.
(B)Sijjanga kwereetereza kintu
    kyonna ekibi.

Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;
    sijjanga kubyeteekako.
(C)Sijjanga kuba mukuusa;
    ekibi nnaakyewaliranga ddala.

(D)Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,
    nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala
    sijja kubigumiikirizanga.

(E)Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,
    balyoke babeerenga nange;
akola eby’obutuukirivu
    y’anamperezanga.

Atayogera mazima
    taabeerenga mu nnyumba yange.
Omuntu alimba
    sirimuganya kwongera kubeera nange.

(F)Buli nkya nnaazikirizanga
    abakola ebibi bonna mu nsi,
bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala
    mu kibuga kya Mukama.

Zabbuli 109:1-30

Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

109 (A)Ayi Katonda wange gwe ntendereza,
    tonsiriikirira.
(B)Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba,
    banjogeddeko eby’obulimba.
(C)Banfukumulidde ebigambo eby’obukyayi,
    ne bannumbagana awatali nsonga.
(D)Bwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi;
    kyokka nze mbasabira.
(E)Bwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi;
    bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.

(F)Mumulabire omuntu omukozi w’ebibi amwolekere;
    wabeewo amuwawaabira.
(G)Bwe banaawoza, omusango gumusinge;
    n’okusaba kwe kufuuke kwonoona.
(H)Aleme kuwangaala;
    omuntu omulala amusikire.
(I)Abaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe,
    ne mukyala we afuuke nnamwandu.
10 Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza;
    bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11 (J)Amubanja ajje awambe ebibye byonna;
    n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.
12 (K)Waleme kubaawo amusaasira,
    wadde akolera abaana be ebyekisa.
13 (L)Ezzadde lye lizikirizibwe,
    n’amannya g’abazzukulu be gasangulwe mu ago ag’omu mulembe oguliddirira.
14 (M)Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be;
    n’ekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.
15 (N)Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo,
    n’ensi ebeerabirire ddala.

16 (O)Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa;
    naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga,
    n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.
17 (P)Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
18 (Q)Yeeteekako okukolima ng’ekyambalo,
    ne kumutobya ng’amazzi,
    ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.
19 Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde,
    era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
20 (R)Ebyo byonna y’eba ebeera empeera, Mukama gy’awa abo abandoopaloopa,
    era abanjogerako eby’akabi ebyereere.

21 (S)Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange,
    nnwanirira olw’erinnya lyo;
    era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo.
22 Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga,
    n’omutima gwange gunyolwa nnyo.
23 (T)Sikyaliwo, ndi ng’ekisiikirize eky’akawungeezi;
    mmansuddwa eri ng’enzige.
24 (U)Amaviivi gange ganafuye olw’okusiiba;
    omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
25 (V)Abandoopaloopa bansekerera;
    bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.

26 (W)Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange!
    Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.
27 (X)Baleke bategeere nti ggwe okikoze,
    n’omukono gwo Ayi Mukama.
28 (Y)Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa!
    Leka abannumbagana baswale,
    naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
29 (Z)Abandoopa baswazibwe,
    n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.

30 (AA)Nneebazanga Mukama n’akamwa kange;
    nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.

Zabbuli 119:121-144

ע Ayini

121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;
    tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
122 (A)Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,
    oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
123 (B)Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo
    n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
124 (C)Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;
    era onjigirize amateeka go.
125 (D)Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;
    ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
    kubanga amateeka go gamenyeddwa.
127 (E)Naye nze njagala amateeka go
    okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
128 (F)Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;
    nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.

פ Pe

129 Ebiragiro byo bya kitalo;
    kyenva mbigondera.
130 (G)Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
    n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
131 (H)Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja
    nga njaayaanira amateeka go.
132 (I)Nkyukira, onkwatirwe ekisa,
    nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.
133 (J)Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,
    era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
134 (K)Mponya okujooga kw’abantu,
    bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.
135 (L)Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,
    era onjigirizenga amateeka go.
136 (M)Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,
    olw’abo abatakwata mateeka go.

צ Tisade

137 (N)Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,
    era amateeka go matuufu.
138 (O)Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,
    era byesigibwa.
139 (P)Nnyiikadde nnyo munda yange,
    olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
140 (Q)Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,
    kyenva mbyagala.
141 (R)Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142 (S)Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,
    n’amateeka go ga mazima.
143 Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,
    amateeka go ge gansanyusa.
144 (T)Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;
    onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.

2 Samwiri 14:21-33

21 Awo kabaka n’agamba Yowaabu nti, “Kale, nzija kukikola. Genda okime omuvubuka Abusaalomu.”

22 (A)Awo Yowaabu n’agwa bugazi ku ttaka ne yeeyanza, n’asabira kabaka omukisa, n’ayogera nti, “Leero, omuddu wo ategedde ng’alabye ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka, kubanga kabaka azeemu okwegayirira okw’omuddu we.”

23 Yowaabu n’agenda e Gesuli n’akima Abusaalomu n’amukomyawo e Yerusaalemi. 24 Naye kabaka n’awa ekiragiro nti, “Ateekwa kugenda mu nnyumba eyiye ku bubwe, tateekwa kulaba maaso gange.” Awo Abusaalomu n’abeera mu nnyumba eyiye ku bubwe, n’atalaba maaso ga kabaka.

25 Mu Isirayiri yonna temwali n’omu eyatenderezebwa nga Abusaalomu olw’endabika ye ennungi, kubanga okuviira ddala ku mutwe okutuuka ku bigere teyaliiko kamogo. 26 (B)Buli lwe yasalanga enviiri ze, lwe zali ng’ennyingi ku mutwe gwe, obuzito bw’azo bw’ali nga kilo bbiri ne desimoolo ssatu ng’ebipimo bya kabaka bwe byali.

27 (C)Abusaalomu n’azaalirwa abaana basatu aboobulenzi n’owoobuwala omu. Omuwala ye yali Tamali nga mukyala mulungi nnyo ku maaso.

28 Abusaalomu n’abeera mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri nga talaba maaso ga kabaka. 29 Awo Abusaalomu n’atumya Yowaabu amutume eri kabaka, naye Yowaabu n’atagendayo. N’amutumya omulundi ogwokubiri, naye era n’agaana okugenda yo. 30 (D)Abusaalomu n’agamba abaddu be nti, “Ennimiro ya Yowaabu eriraanye eyange, era alinamu sayiri. Mugende mugikumeko omuliro.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagikumako omuliro ne bagyokya.

31 (E)Yowaabu n’agolokoka n’agenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye n’amubuuza nti, “Lwaki abaddu bo bookezza ennimiro yange?” 32 (F)Abusaalomu n’agamba Yowaabu nti, “Laba, nakutumya, nga ŋŋamba ojje wano nkutume eri kabaka okumubuuza nti, ‘Lwaki nava e Gesuli? Kyandisinze singa nasigala eyo.’ Kaakano njagala kugenda mu maaso ga kabaka, obanga nnina omusango, anzite.”

33 (G)Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka, n’amutegeeza ebigambo ebyo. Kabaka n’atumya Abusaalomu, n’ajja, n’avuunama amaaso ge wansi mu maaso ga kabaka. Kabaka n’amunywegera.

Ebikolwa by’Abatume 21:15-26

15 Bwe waayitawo ennaku ntono ne tusiba ebintu byaffe, ne tusitula okulaga mu Yerusaalemi. 16 (A)Abamu ku bayigirizwa ab’e Kayisaliya ne batuwerekerako, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni, edda eyabeeranga e Kupulo era nga yali omu ku bantu abaasooka okukkiriza. 17 (B)Bwe twatuuka mu Yerusaalemi abooluganda ne batwaniriza n’essanyu lingi nnyo.

Pawulo Akyalira Yakobo

18 (C)Awo enkeera ffenna ne tugenda ne Pawulo ng’agenda okulaba Yakobo, n’abakadde b’Ekkanisa y’omu Yerusaalemi bonna baaliwo. 19 (D)Okulamusaganya bwe kwaggwa, Pawulo n’abategeeza kinnakimu byonna Katonda bye yamukozesa ng’aweereza mu baamawanga.

20 (E)Bwe baabiwulira byonna ne batendereza Katonda, naye ne bagamba Pawulo nti, “Owooluganda, omanyi ng’Abayudaaya nkumi na nkumi bakkiriza, era nga bonna bakakatira ku kimu nti Abayudaaya bonna wadde abakkiriza basaana okugoberera amateeka, n’empisa, n’obulombolombo, eby’Ekiyudaaya. 21 (F)Baategeezebwa nti oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu Bamawanga okuleka amateeka ga Musa baleme okukomola abaana baabwe wadde okugoberera empisa z’Ekiyudaaya. 22 Kale kaakano kiki ekinaakolebwa? Kubanga awatali kubuusabuusa bajja kutegeera nti ozze. 23 (G)Kale waliwo wano abasajja bana abali ku kirayiro, abateekateeka okumwa emitwe gyabwe nga beerongoosa. 24 (H)Genda nabo mu Yeekaalu weerongooseze wamu nabo, era obasasulire ensimbi ez’okumwa emitwe gyabwe. Kale buli omu ajja kukiraba era abantu bonna bajja kutegeera nti okiriziganya n’okukuuma amateeka, n’ebyo bye bakwogerako tebiriimu nsa. 25 (I)Ku nsonga z’Abamawanga abakkiriza, twabawandikira nga tubagamba baleme kugoberera bulombolombo bwa Kiyudaaya n’akatono wabula ebyo bye twassa mu bbaluwa yaffe era bye bino; obutalya nnyama ya bisolo ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, n’obutalya ebitugiddwa oba okulya omusaayi, era n’okwewala obwenzi.”

26 (J)Ku lunaku olwaddirira Pawulo n’atwala abasajja okwerongoosa, naye ne yeerongoosa nabo. N’ayingira mu Yeekaalu okutegeera olunaku ekiseera ky’okwerongoosa eky’ennaku omusanvu we kiriggweerako, olwo buli omu alyoke atwaleyo ekiweebwayo kye.

Makko 10:17-31

17 (A)Awo Yesu bwe yali ng’atambula, omusajja n’ajja gy’ali ng’adduka, n’amufukaamirira n’amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, nsaanidde kukola ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”

18 Yesu n’amuddamu nti, “Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. 19 (B)Amateeka gano ogamanyi. ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ” 20 N’amuddamu nti, “Omuyigiriza, ebyo byonna simenyangako na kimu okuva mu buvubuka bwange.”

21 (C)Yesu n’amutunuulira enkaliriza, n’amwagala. N’amugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna by’olina, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

22 Bwe yawulira ebigambo ebyo n’anyiikaala, n’agenda ng’anakuwadde, kubanga yali mugagga nnyo.

23 (D)Yesu n’amutunuulira ng’agenda, n’alyoka akyukira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Nga kizibu nnyo abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”

24 (E)Kino ne kibeewuunyisa nnyo. Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Abaana abaagalwa, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25 (F)Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”

26 Ne beewuunya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Olwo kale ani ayinza okulokolebwa!”

27 (G)Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abaddamu nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”

28 (H)Awo Peetero n’agamba Yesu nti, “Tweresa byonna ne tukugoberera.”

29 Yesu n’amuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu n’omu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ng’amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka n’amayumba olw’okunjagala n’okubuulira Enjiri, 30 (I)ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo. 31 (J)Naye bangi aboolubereberye baliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma baliba aboolubereberye.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.